"Oyagala omuntu n'akukakasa nti alinayo ggwe wekka kumbe akuzannyira ku bwongo"

Mar 26, 2025

"Nnyumirwa nnyo okusanyuka n’okusanyusa ababeera baninnaanye era ndi muntu mukkakkamu gw’olinnyako n’ogenda."

NewVision Reporter
@NewVision

Ndowooza ye ggwe gwe mbadde nnoonya?
Nange nsuubira mbadde njogera naawe ku ssimu.

Nsanyuse okukulaba Vanessa...
Nange okukusanga

Oludde ng’onneepena..
Wabaddewo ebimpuuba naye ekirungi twesanze tutandikire awo ku kibadde kikunnoonyesa.

Nayebare Ng'anyumidde Mu Ka Kyenvu.

Nayebare Ng'anyumidde Mu Ka Kyenvu.

Tandika na kutubuulira mannya go mu bujjuvu?
Nze Vanessa Nayebare, nnina emyaka 27 nga mbeera Bunga, siri mufumbo, ndi muyimbi era omwo nkozesa lya Vanessa Perry. Okyayagala ebirala...

Ekyo kimala naye osuubira kufumbirwa ddi?
Nsuubira we naaweereza emyaka 30 nja kuba nakyo nkimaze.

Kusoomoozebwa ki kwe wali osanze mu by’omukwano?
Bulimba. Oyagala omuntu n’akukakasa nti alina ggwe wekka kumba akuzannyira ku bwongo ng’alinayo abalala.

Ng’oggyeeko okuyimba okola mirimu ki emirala?
Ndi mmodo n’okuzannya ffirimu lwakuba sinnabiwa budde.

Okuyimba okumazeemu bbanga ki?
Nakutandika mu 2020 nga n’akayimba ka Wambuna ne nzizaako Banana, Kakuuma Bulamu, Gulinzita, Nkuwaane, Weetaagamu essaala n’endala.

Kiki ekikufuula omukyala ow’enjawulo?
Nnyumirwa nnyo okusanyuka n’okusanyusa ababeera baninnaanye era ndi muntu mukkakkamu gw’olinnyako n’ogenda.

Mize ki bakyala banno gye bakola ng’olaba bakissusa?
Abawala simanyi gye baggya muze gwa kweyerusa bafaanane Abazungu. Nze nnyumirwa nnyo okubeera omukyala wa Afirika agumidde.

Bunafu ki bwe weemanyiiko?
Njagala nnyo okukola ekintu nga kituukiridde ne bwe kuba kukimalirako budde bungi, nkikola.

Bubaka ki bw’osiibuza bakyala banno?
Mbasaba babeere bakozi

Ate abawagizi bo...
Mbaagala nnyo era nsaba bongere okumpagira.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});