"Bawala bannange mukole nnyo, abasajja ennaku zino baagala bawala balina kye babagattako, si mibiri gyammwe!
Apr 07, 2025
"Essaawa eno nsinga kutunuulira kubeera mukyala eyeetongodde era njagala nnyo okubeera omukazi omuwanguzi mu bulamu"

NewVision Reporter
@NewVision
Oba gye ng'enda naawe gy’odda?
Nze ng'enda Nakulabye.
Mazima tofaanana kubeera Nakulabye!
Nga lwaki?
Bwe mba njogera bubi ononsonyiwa naye oli musuffu...
Weeyogeza wabula!!
E Nakulabye okolerayo ki?
Ebibuuzo ng’obimbuuliza kumu kumu?
Nusura Bw'afaanana.
Kituufu era okimanyi nti, wabbye dda n’omutima gw’omuntu!
Ha ha ha... nze tonzisa nseko mukwano.
Era ng'enda kukuloopa ewa taata ne maama mbagambe nti, onkuba.....
Naye ndowooza ka ng'ende kirabika eby’okwogera bikuweddeko.
Kale sooka ombuulire ky’okola e Nakulabye?
Nnina bizinensi etunda eby’okwenyiriza by’abakyala.
Obwedda nkulaba ng’omwana omuto atannatuuka kukola bizinensi!
Nze ndi mukazi mukulu ekimala, nnina emyaka 23.
Ekituufu lwa kwetooloola…………..
Yogera ky’oyagala
Oli mufumbo oba ng'ende mu maaso n’enteekateeka zange?
Siri mufumbo era sirinaayo mwana.
Ggwe omuwala omulungi obeerawo otya mu mbeera y’obw’omuokuggyako oyagala kutusuula mu mbi?
Essaawa eno nsinga kutunuulira kubeera mukyala eyeetongodde era njagala nnyo okubeera omukazi omuwanguzi mu bulamu.
Mpulira erinnya njagala kukuwa lya ‘Miss independent’
Totandika kumpita mannya ago. Nze Nusura Kassimu Namayanja.
Okimanyi nti, tonzira!
Otyo, kati ekyo kitegeerekese ne bwe tukivaako.
Ebintu byo mbirabye obiyisa mu bwangu...
Oluusi ensi bwe yeetaaga.
Mbuuliraako gy’otera okuwummulirako bw’oba toli ku mirimu?
Njagala nnyo okulambula ebifo ebipya era ‘tuliipu’ ezo nzettanira.
Kintu ki ng’omuntu bw’akikukola kikumalako emirembe?
Omuntu okunnimba kinnuma nnyo. Njagala nnyo okumbuulira amazima newankubadde oluusi gayinza okusooka okunnuma.
Nange wamma nakoowa abantu abalimba. Kati abawala abali mu myaka gyo, obawa bubaka ki?
Bawala bannange mukole nnyo, abasajja ennaku zino baagala bawala balina kye babagattako, si mibiri gyammwe!
Kati abawala abaagala okunyirirako nga ggwe obawa magezi ki?
Bantuukirire njakubakolako banyirire bakireko ekinya ekigudde mu mata.
Ndowooza nange bwe najja ojja kunkolako?
Tewali buzibu kasita kiba nga kikwata ku kya kukunyiriza, ebyo ebintu mbimalanga.
No Comment