Omusajja omufumbo mmotoka ya gavumenti................

Ntya omusajja omufumbo!!

Omusajja omufumbo mmotoka ya gavumenti................
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision

Mukama yeebazibwe owooluganda?
Yiiyi! Amangu ago, otegedde otya nti ndi waaluganda?

Anti onfaananidde omuntu gwe nnali ndabyeko
Nze sikulabangako mpozzi sooka onnyinyonnyola gye wandaba.

Waliwo omukolo gw’Omusumba omu gwe nnaliko e Luweero ne ndaba akawala akalungi akaali kanyumidde mu kiteeteeyi ekiddugavu naye lwakuba nalemwa okukusembera okufuna ennamba yo ey’essimu...

K’oyogedde nti wandaba ku mukolo ate n’oyogera ku langi enzirugavu kituufu olabika wandaba kubanga bye ntera okukoleramu ebyo.


Okola mulimu ki?

Nnina ekibiina ky’abawala n’abalenzi abaweereza ku mikolo.

Wamma nakulaba nga weetala, mbu olwo muba mukola...?
Tuba tulabirira abagenyi ababa bazze ku mikolo, okuyambako okulaba nga buli kimu kiri bulungi ku mukolo.

Okwo kwe mmugatta n’okwetega?
Ebyo sibimanyi.

Mpozzi nga baakutwala dda?
Tebannampasa naye tekitegeeza nti mba nnina okwetega kuba nninayo gwe ndaba.

Kaakati oyo gw’olaba, wamufuna otya?
Mpozzi eno yintaviyu ya mulimu oba?

Nze ndi munnamawulire era bye tunyumya abantu bagenda kubiwoomerwa nga bakusomako.
Mbadde mmanyi obuuza kumanya, ggwe ng’omuntu.

Era nange ne bwe mmanya tekuli buzibu
Ngwa mu kiti ky’atalina naye nga mmalirawo essaawa eno.

Oyagala kutusuula mu ‘mbi’?
Kye nkugambye kyekyo.

Ye wafuna otya ekirowoozo ky’okukola ku mikolo?
Nalina ekibiina nga bankozesa, mwe nava okukola ekyange.

Emikolo gisinga kubeerayo wiikendi ate zino ennaku endala obeera okola ki?
Ndi muzannyi wa Binnayuganda mu Pearl Screen Pictures Uganda ne Banno Films.

Wategeera ssente!!
Ku Uganda ya leero, omuntu tateekeddwa kutunuulira mulimu gumu kuba ebyetaago by’obulamu bingi ate nga biri ku buseere.
Ofunayo ddi obudde bw’okuwummulamu?

Ku wiikendi ntera okubufuna.
Yiiyi? Ate ezo ze ziba ennaku z’emikolo.

Si buli wiikendi nti tufuna we tukolera.
Bifo ki by’otera okwettanira mu budde bwo obw’eddembe?

Nnyumirwa nnyo ebifo ebikkakkamu nga tewali bireekaana ne bwe wabaayo myuziki nga wa mpolampola oba nga waliwo layivu bandi.
Ebintu oyagala nnyo bya mpola mpola?

Bwe kiri. Naye okimanyi nti abawala b’ennaku zino, tebakyatya basajja bafumbo era bagenda mu maaso ne babaganza!
Nze sikisobola.

Omusajja omufumbo mmotoka ya gavumenti.
Bw’etuuka maama?

Bakuwa kuvugamu naye nga si yiyo.
Naye era oba ovuzeemu ate ne woosuze olumu olubala.

Nedda mukwano, ebyo ewange tebikola. Njagala ekyapa mu mannya gange.

Olabika kati ongoba...
Amazima geego

Ndagiriraako gy’obeera nja kuyitirayo twongere okunyumya
Mbeera Kasana - Luweero gwe kasita otuuka ng’okubira ku ssimu yange. Kangikuwandiikire wano.

Nteekeko linnya ki?
Nze Roshan Nassiwa