Otegeeza otya mukyala wo nga olinayo abaana ebbali ?

ERIYO abasajja abatuuka okufa, nga teboogedde baana be bazadde bbali era abakungubazi ne babalabira awo, nga babaleese mu lumbe ate mwattu ng’abamu tebaliiko kabuuza nga bafaanana omugenzi. Ng’oggyeeko abo abatuuka okufa nga teboogedde baana be balina ebbali, eriyo abasalawo okukyatula ne babalaga omukyala ow’omu maka.

Abaagalana n’ezzadde lyabwe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ERIYO abasajja abatuuka okufa, nga teboogedde baana be bazadde bbali era abakungubazi ne babalabira awo, nga babaleese mu lumbe ate mwattu ng’abamu tebaliiko kabuuza nga bafaanana omugenzi. Ng’oggyeeko abo abatuuka okufa nga teboogedde baana be balina ebbali, eriyo abasalawo okukyatula ne babalaga omukyala ow’omu maka.
Kino bangi bandikyagadde kyokka kibakaluubiriza. Deo Ssemaganda okuva mu kitongole kya Semuka Hope Initiative Ltd., ekibudaabuda abafumbo, agamba nti abasajja bangi abali mu mbeera bw’eti. Ayongerako nti wadde si kyangu omusajja okwanjula omwana gw’azadde ebweru w’obufumbo bwe, naye ate kibi  okukweka abaana abo.
Ssemaganda annyonnyola nti abaana ababeera bazaaliddwa ebbali si musango gwabwe era bw’okola ensobi n’obaleka ebweru nga tobanjudde mu bannaabwe, ggwe kennyini obeera obabodde. N’olwekyo wadde kizibu okukyogera naye mu mbeera y’obuntubulamu, kirungi nnannyini kabazaala nga ye omusajja n’abaleeta mu maka n’abanjula ng’akyali mulamu. Lwaki kirungi okwanjula abaana bo b’ozadde ebbali ng’okyali mulamu?
1. Bafuna omugabo gwabwe ng’ofudde.
2. Okugatta abaana ne bannaabwe era okendeeza ku ntalo mu bo nga bakuze. 3. Ofuna emirembe ng’omusajja mu mitima.
4. Omukyala naye kimuyamba okumanya baganda b’abaana be oboolyawo naye n’abagatta mu baana be.
OBITANDIKA OTYA?
Ssemaganda agamba nti okwanjula omwana gw’ozadde ebbali mu maka go, wayinza
okubaawo okusoomoozebwa naye kirungi okubwahhahha mu kifo ky’okubudduka kuba omusajja ekikufuula omusajja kwe kuba nti osobola okugonjoola buli kusoomoozebwa kw’osanga.
BY’OKOLA NG’ONOOYANJULA ABAANA B’EBBALI AWAKA;
l Omukyala muteeketeeke: Sooka okyogerako mu mbeera y’okugereesa era nga bw’omubuuza nti singa embeera bw’etyo etuukawo, kiki ky’ayinza okukola. Genda mu maaso ng’ensonga ogibikkula mpola mpola nga naye bw’omwetegereza engeri gy’akiwuliramu.
l Obubaka osobola okubuyisa mu baana bo, b’obeera nabo awaka. Olumu abasajja bagenda okutuusa abaana awaka nga baana bannaabwe bo baakimanya dda. Osobola okubatwala awantu okubacakazaamu nga n’omwana gwe wazaala ebbali kwali, n’okibategeeza nti oyo muganda waabwe. Era abaana bano, osobola n’okubabuulira omuwendo gwabwe nga bwe guli, ng’ogasseeko ne baganda baabwe abalala. Abaana abo, ate be bayinza okusooka okutegeeza nnyaabwe. Omukyala bw’akikubuuzaako era nga naawe owulira olina obuvumu obumala, awo wennyini w’omugambira. Embeera eyinza okubaawo ey’okunyiiga, okukukazakkaza n’ebirala naye gwe byonna kikukakatako okubigumira kubanga oba okimanyi nti otuusa bubaka. l Okuyita mu mikolo gy’ekika.
Abakyala abamu tebaagala kusigala waka nga bawulidde nti abaami baabwe balinayo enkuh− haana ewaabwe kuba bakimanyi nti ku mikolo gino abasajja kwe batera okwanjulira abaana be baazaala ebbali ne babalaga ekika kyabwe. Kati n’omusajja bw’omanya nti wazaala ebbali, ggwe alina okusinga okusanyukira emikolo gy’okumanyagana ogikozese okwanjula abaana bo.
l Osobola okukikola okuyita mu bakulembeze: Basobola okubeera ab’oku kyalo ng’owabakyala, bannadiini n’abalala. Omukyala bw’aba Mukrisitaayo, ng’ali ne
 mu kibiina ky’abakyala abafumbo, osobola okutuukirira akulira abafumbo mu Kkanisa mw’asabira, n’omutegeeze ku nsobi gye wakola era omutegeeze nga bw’oyagala okubanjula awaka.Ono ajja kukuyamba okuteekateeka mukazi wo amulage nti bba si y’asoose okukikola.
Asobola n’okubatuuza nga muli wamu n’oyanja ensonga omugugu ogwetikkule. l Yitira mu bazadde bo oba abooluganda lw’omukaziwo b’asinga  okukolagana nabo: Osobola okusaba maama wo, n’ayogerako ne mu mukyala wo ku nsonga eno era n’amutegeeza nti bazzukulu be bonna abaagala kyenkanyi. l Bw’oba oli muvumu, omukazi wo tuula naye okimugambe butereevu; Newankubadde abakyala abamu bwe bakimanya ate bakyuka ekitiisa abasajja okwogera. Naye nga mu butuufu bwakyo kyandibadde nti omusajja ayogera amazima omukazi n’akimanyi kuba amazima tegeekweka.
OKYANJULA DDI?
Ssemaganda agamba nti buli lw’oyanjula abaana ng’okyali mulamu okuboolebwa kuba kutono, ggwe kennyini nnannyini mwana oba otikkudde omukyala gwe wazaalamu abaana omugugu.
Ate naawe ng’omusajja ofuna omwagaanya okulabirira abaana bo nga tokwekwa n’okuyamba abaana bo okukwatagana. Kyokka wakati mu birungi ebikirimu ate teweerabira nti tekiba kya kupapira kuba kisobola n’okuviirako amaka okusasika y’ensonga lwaki abasajja abamu bakitya n’okukyogera. Ekisinga mu byonna, kikulu okumanya ekiseera w’okyanjulira era ebimu ku biseera by’osobola okukikoleramu bye bino wammanga;
1. Ebiseera ng’olaba weesobola mu nsimbi. Ng’okyali mu bwavu, omukazi w’awaka ayinza okulowooza nti ssente z’ofuna bulijjo ozimalira mu b’ebbali. 2. Nga muli mu
biseera by’essanyu awaka: Si kirungi kwanjula nsonga bw’eti nga munyiigaganye era nga muli mu mbeera ya lusirika. 3. Abaana b’oyanjula
 awaka kirungi babe nga bakuzeemu kuba bw’oba n’enteekateeka y’okubaleeta awaka,
si kirungi kuwa mukazi mirimu ku mwana omuto 

 

Omusajja beera mukkakkamu ng’otegeeza mukyala wo  

Kansala Fatuma Muguluma, amyuka mmeeya wa Lubaga agamba nti; Teri mukazi asanyuka ng'omwami we amugambye nti alina abaana ebbali wadde abamu beeyisaako ne bagamba nti baagala nnyo omusajja n’abeera mulambulukufu gy’ali. Kati omusajja bwe weesanga mu mbeera eno, beera mukkakkamu nnyo kuba suubira nti bw’omala okubugamba omukazi, ajja kutabuka naye buba buvunaanyizibwa
bwo okumulaga nti wadde olina abaana b’olina ebbali, agenda kusigala afuna obuweereza bwe mu bujjuvu.