OMUKYALA k‘obeere nga ggwe asinga omugga ‘Kiyira’ okuyiwa amaadi agataalaba ab’e Busoga, omusajja ntegeeza balo eyakuggya ewammwe n’akuwasa, asobola okukuzira.
Okukuzira mba ntegeeza n’ataddamu kunyumya naawe kaboozi ka kikulu nga musula mu nnyumba y’emu sinnakindi ku kitanda kimu. Kojja Ryan Kitonsa, abuulirira abaagalana agamba nti obufumbo luba lugendo olutambulwa abantu ababiri.
Mubaamu essanyu n’ebibasoomooza omuva okunyiigang’ana, olusirika ate ekisinga obubi mu byonna, kye ky’omusajja okuzira mukazi we n’agaanira ddala okuddamu okuzannya naye akapiira.
Kojja Kitonsa agamba nti abafumbo abamu, abasoowaganye, tebaawula kunyiiga, lusirika na kuzira.
Ayongerako nti abaagalana abanyiize, basobola okunyumya akaboozi bwe bakamala ne baddayo mu lusirika naye ate omusajja azize omukazi, taddamu kunyumya naye kaboozi ka kikulu. Basigala bombi mu maka kyokka ng’eby’omu kisenge, teri awuuna munne.
Kojja Kitonsa ayongerako nti abakyala balina ebintu byebakola ebibaggya ku mulamwa baami baabwe ne batandika okuboogerako nti, ‘Maama gundi oyo sikyamutegeera era ebintu bye tebikyankolera mmaze emyaka nga simukwatako...” Kojja Kitonsa agamba nti mu basajja abamu, kino alaba tekimumalidde, atandika n’okulwayo gy’akolera atere adde awaka ng’obudde bugenze, atwale tulo.
Ayongerako nti ate mwattu abamu basalawo kusula ku mirimu gye bakolera ng’oyinza okusanga owa boda boda eyeekapise ebijaketi mu matumbibudde ng’ali ku piki ye ku siteegi, n’olowooza nti akikola lwa kunoonya ssente mwattu nga yeewogomye awo, aleme kudda waka kusanga mukazi gwe yazira. Kiva ku ki, omusajja okuzira mukazi we okutuuka ku ssa lino?
Kojja Kitonsa akoonye ku bimu ku biviirako abasajja okuzira bakazi baabwe;
1. Obwenzi: Abayimbi, bazze bakuba obuyimba ku bwenzi mu bakazi era waliwo eyakuba aka; ‘Kayanda oliira otya mu ssowaani yange’, nga yeevuma omusajja eyali ayesezza empiki ne mukazi we. Omusajja kimuyisa bubi okuwulira nti mukazi we, azannya akapiira n’omusajja omulala.
Abamu ku basajja kino bwe bakimanya, bazira bakyala baabwe obutaddamu kubakwatako.
2. Obusungu: Omukazi buli Iw’afunya ffeesi, n’obukyala bwefunya ate ng’omusajja yeetaaga ssanyu mu maka.
Kino omukazi bw’akigattako okuyomba, kisindiikiriza omusajja obutaddamu kumukwatako. Abakyala abamu tebalina njogera nga basaba abasajja ebyetaago, ebyetamisa abasajja ne bataddamu kusaba kubajjulira kya kiro.
3. Obucaafu: Abakazi abamu tebaawula buyonjo na kunyirira. Omukazi bwe yeekubam meekaapu n’asiiga ekisige n’okwambala akagoye akalungi n’ayambala n’ak’omunda akali ku mulembe alowooza nti muyonjo.
Ebyo birungi era bikola ne bisikiriza omusajja kyokka obuyonjo bw’aba yeetaaga oba tobugasseeko. Obuyonjo abasajja bwe beetaaga mulimu okutegeka amaka gammwe, n’otegekera omwami wo, okumuwa ebyokulya biyonjo n’okukuuma eby’awaka byonna nga biteeketeeke bulungi, abamu bino bw’abibulwa, ayinza okuzira mukazi we.
4. Abakyala abatakulaakulanya; Okucakala si kubi naye omukazi abeera
nga buli k’awulidde agenda, byandyetamisaomusajja.
Bw’okendeeza ku bintu ebyo, oyamba omusajja okukekkereza ne musobola okwezimba. Omukyala atakulaakulanya munne, anyiwa era abasajja abamu bakomekkerereza babazize lwa nsonga eyo.
5. Okubamma akaboozi: Buli Iw’olemesa omusajja okulya ekyekiro, yandigenda ebbali
n’asiima ebyayo ggwe n’atakuddira. Omusajja bw’omulumya ennyo, bimutama era abamu batuuka ku ssa ly’okuzira bakazi baabwe olw’ekyo.
6. Okubulwa eddiini; Okutya Katonda mwe muva obwetoowaze, ekisa n’okusonyiwa era atalina ddiini, bino ayinza obutaba nabyo.
Eriyo abasajja, abekkaanya ennyo mukyala weby’akola era bwe biba si bya muntu alina eddiini, ayinza okumwesonyiwa. 7. Okulwana: Abakyala abamu beemanyi amaanyi, beepima mu baami baabwe okulwana nabo.
Omusajja yatondebwa nga ye mutwe gw’amaka era buli lw’alaba omuntu ayagala okumussa eddaala, amukyawa bw’aba mukyala we, ayinza okumuzira. Kojja Kitonsa agamba nti omusajja okuzira omukazi, kiba kinene nnyo era omukazi aba alina okwekubamu ttooci amanye kwe kyava, asale amagezi ag’okukimalawo baddemu batambuze obufumbo bulungi.