Ssenga

Engeri abakyala gye batadde obuyiiya okuggya ssente mu basajja

WALIWO ehhombo eyogerwa nti abasajja ennaku zino nti; Omusajja ali mu kkomera abeera n’emirembe mingi okusinga ku musajja asuubizza omukazi ssente

Abaagalana nga basanyufu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

WALIWO ehhombo eyogerwa nti abasajja ennaku zino nti; Omusajja ali mu kkomera abeera n’emirembe mingi okusinga ku musajja asuubizza omukazi ssente.

Lwaki? Mbu omukazi bw’omusuubiza ssente, buli ddakiika aba akujjukiza otere otuukirize kye wamusuubizza era emirembe gikuggwaako, okutuusa ng’ozimuwadde era abamu wano we bagambira nti omusajja okusuubiza omukazi ssente, agenze mu kkomera asinga kuba abeera n’emirembe okusinga omusajja ali ebweru w’ekkomera.
Buno butiitiizi oba abakazi be bakisussizza nga bateeka abasajja ku puleesa babawe bye baba basuubizza?
Kojja Rayan Kitonsa, abuulirira abafumbo agamba nti abasajja si batiitizi wabula embeera oluusi ekalubamu ssente ne zibula naye abakazi abamu tebagimaya ne bateeka abasajja ku puleesa wamma ne babatamya n’omukwano. Kojja Kitonsa ayongerako nti n’ekigambo kkomera kinene era si kirungi kukigeraageranya ku mukazi akusaba ssente kuba singa oba oli mu kkomera, obeera tosobola kunoonya ssente ezo naye ate omusajja ali ebweru w’ekkomera y’asobola okuzinoonya.
Kitonsa agamba nti abakazi abamu bateeka nnyo abasajja ku bunkenke, omusajja atuuka n’okwewola olw’okuba omukazi amusabye ssente ate abasajja abamu batandika obukumpanya nga tayagala kunyiiza mukazi abeera amusabye. Ekyo, abasajja abamu bakiraba nga kuggweebwako mirembe ate abakazi ne bakitaputa nti abasajja bafuuse batiitiizi abatayagala kuviibwako kasente kaabwe.
Guno bwe gubadde bwe gutyo, n’abakazi ne bakyusa enkuba y’oluseke ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri, batere bafune ku ssente okuva mu basajja oboolyawo ekirowoozesezza abasajja nti bali mu buwambe okusinga omusajja alin mu kkomera.
N’abasajja babyogera nti abakazi ssente zino ze basaba, oluusi tebalina ky’amaanyi kye bazikolamu mbu abamu bazicakalamu ne bassa ebifaananyi ku mutimbagano okulaga bannaabwe nti bali ba kaasi. Okwongera okukamula abasajja, abakazi bataddemu obuyiiya bafune ssente mu basajja. Bakikoze batya?
1. Abawala abamu bamanyi okulimba nti bali mbuto ne baggya ssente mu basajja be baganza. Okumanya kino baakitadde ku ddaala ddala, waliwo n’embuto enkolerere ze bambala abamu ku basajja ze batamanya nti bicupuli olwo ne bawa abakazi ssente z’okunywa eddagala. Gye biggweera, ng’omukazi akubye omusajja obulango nti olubuto
lwavuddemu ate era n’awo, omusajja n’ayongera okusola ez’obujjanjabi.

2. Abakyala abamu bwe balaba ng’abaami baabwe balemeddwa okubawa ssente mu bulungi, waakiri beerwaza ne batuuka ne mu ddwaaliro ne babassaako kanula mwe bayisa eddagala nga teri mu musuwa, ne basaba abasajja z’okubajjanjaba. Kuno
bagattako n’okulwaza abaana baabwe kyokka nga balamu.
Eriyo n’abakazi, abalwaza abazadde baabwe, ne basaba abasajja ssente ez’okubajjanjaba.
3. Bwe kuba kuzza baana mu masomero, abakazi abamu bakamula abasajja ssente okuli
okwongeza mu fiizi ne baleega n’ebyataago ebisabibwa ku ssomero, oluusi n’olukwe baluyisa mu basomesa ne bongera okukamula abasajja ssente.
4. Bwe basaba ssente za saaluuni bazikubisaamu bafisse ate nga n’akaviiri bakasabye.
5. Abamu ku bakazi bafiisa ab’ehhanda zaabwe, omwami we n’asala entotto butya bw’afuna ssente ez’amabugo n’okutwala
omukazi okuziika.  6. Mu kugula ebintu by’awaka, bafissizaawo ssente kuba abakyala
abamu bamanyi gye batunda ebya layisi.
7. Abakazi abalina mmotoka, nazo bazikozesa okwongera okukamula abaami baabwe okuli okubasaba ez’amafuta oluusi ne bazituusa ne mu galagi okuzikanika ate nga nnamu.
8. Eriyo abakazi abalimba nti babanjibwa, era ono bw’ati ateesa ne banne ne bakubira bba essimu nti mukazi we abanjibwa. Ate omukazi afunira ddala mukwano gwe, ne bba gw’amanyi y’amukubira okuluka olukweSsenga Aisha Nantongo, abuulirira abaagalana okuva e Wakiso agamba nti mu butonde, omukazi yatondebwa kuweebwa era buli lw’atafuna kuva ew’omuntu gw’asuubira okumuwa, kimuyisa bubi nga y’emu ku nsonga eviiriddeko abakazi abamu okusala amagezi engeri y’okufuna ssente okuva mu basajja kyokka nga bye bakola bikyamu. Nantongo agamba nti omusajja bw’obaomwagala nga naye akwagala, mukwate bulungi asobole okukuwa. Agamba nti.
l Obwetoowaze kintu kikulu nnyo era omukazi abulina, aweebwa. Agamba nti abamu ku
bakazi ayinza okusaba omusajja ssente nga tamulinze na kukkakkana ate n’amulaga nti azaagalirawo.
Kino oluusi abasajja bakitaputa bulala era abamu kye bava bagamba nti okusuubiza omukazi ssente, obeera weetadde mu kkomeraObugumiikiriza. Abakazi abamu si bagumiikiriza, asaba omusajja ssente n’amugamba agumiikirizeemu wabula ate
ye n’ayomba buyombi nti ensonga gy’aliko ya mangu era wano abamu kye bava abika n’abehhanda ate nga balamu. l Omukazi nga tonnasaba musajja olina okumuwaana asumulule waleti, nga ddala w’agenda okuziteeka alabawo. Nantongo agamba nti abakazi abamu tebalina kawoowo mu kamwa nga basaba ssente nga balinga be bazikola. l Okukwata obulungi omusajja era omuwe ekitiibwa: Nantongo akomekkereza
agamba nti omukazi ng’oyagala okuweebwa, olina kukola ebyo ebisanyusa omusajja naye akugabirire kuba ate oyinza okubissaamu obulimba n’atakuwa kuba naawe tomuwa kitiibwa.