Ssenga

Ab’e Lubaga bafunye SACCO

SSENTEBE wa NRM e Lubaga era omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga za Baganda, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, agguddewo SACCO eri Bannalubaga ne Bannayuganda okutwalira awamu.

Ssentebe wa NRM e Lubaga, Ivan Majambere (akutte akazindaalo) mu kuggulawo SACCO ya Step Foward e Lubaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSENTEBE wa NRM e Lubaga era omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga za Baganda, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, agguddewo SACCO eri Bannalubaga ne Bannayuganda okutwalira awamu.
Majambere yagguddewo ofiisi za SACCO eno ku Kabuusu okuliraana Monalisa era y’omu ku bayima baayo. Yagambye nti, wadde yagigguliddewo Lubaga, naye ya Bannayuganda bonna ng’ekigendererwa kya kisitula ebyenfuna bya Bannayuganda, beggye mu bwavu. Mu nteekateeka eno, mulimu okutereka n’okwewola ku magoba amatono ennyo.
Ekibiina yakitaddemu obukadde 200 n’agamba nti yaziwaddeyo okwebaza Bannalubaga, Bannakampala ne Bannayuganda bonna olw’obuwagizi bwe baawa Pulezidenti Museveni n’awangulira waggulu mu kalulu akaakaggwa.
N’agamba nti, yalabye ng’okukola akabaga abasalire ente balye n’okunywa tekijja kubaganyula, kwe kubateerawo ekibiina kino ekituumiddwa “Step Forward,” mwe bagenda okufuna ssente beekulaakulanye.
Yasuubizza okwongera okubasakira ssente z’okwekulaakulanya zijje mu kibiina.