ABRAHAM Luzzi, bamuzaalidde sukaali, n’azina kuzaala kujaagana. Luzzi, yeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti obwa Kampala Central wabula n’agwa. Kati ye ne mukyala
we ‘Sarah is Tall’, baafunye ezzadde era Luzzi asabye abawagizi be bamulondere erinnya erimusaana wadde ye nga taata yamutuumye lya ‘This is’ ekimu ku bigambo bye byatera okukozesa ku mutimbagano. Ate maama w’omwana yalonze lya ‘Amara’. Luzzi agamba nti yazadde ‘kampeyini maneja’ anti ye taata munnabyabufuzi. Luzzi alinayo n’abaana abalala be yasooka okuzaala.