KIGAMBO kukwana kikaluba ate bwe kituuka ku muwala nga y’ayagala okusonseka omulenzi gw’asiimye obugambo, gujabagira!
N’omuyimbi Mariam Ndagire yakikubamu akayimba nti; “Mwabitandika bubi abaatusooka, nandikimugambye…” ng’alaga obuzito omukyala bwe yeetikka, okwatula engeri gy’awuliramu eri omusajja gwe yeegombye.
Omukyala okwekwanira omusajja gwe yeeyagaliza ku mutima kiwaawaaza amatu naddala mu buwangwa bw’Ekifirika.
Wabula mulimu abakyala abeevaamu ne beetandikira abasajja ne babeesabira obufumbo. Omukugu mu nsonga z’amaka n’okubuulirira abafumbo, Edith Mukisa agamba nti tekirinaamu kabi konna kuba kizze kikolebwa okuva edda lwakuba nti okwawukanako n’omusajja, omukyala talina kukikola butereevu. “Abaana abawala baagendanga e mugga, naye nga bapima obudde bwe bamanyi nti n’abalenzi bwe banaagenderamu okukima amazzi, era nga bambalam engoye eziggyayo obubina n’ennywanto z’amabeere gaabwe,” Mukisa bwe yategeezezza ng’akkaatiriza ensonga y’abawala okwetega nga bwe yava edda.
ENGERI OMUKYALA GY’OTUUSA OBUBAKA ERI OMUSAJJA GWE WEEGOMBYE
Mukisa agamba nti waliwo engeri ezitawaawaaza, omukyala z’ayisaamu obubakam okutuuka ku musajja gwe yeegomba, okuli;
1. Okumukolako omukwano: Omusajja gwe weegwanyiza oyinza obutamunyega naye n’omukolako omukwano okufuna ekyanya ekimusembereranga n’okubeerako w’ali okulinnyisa emikisa egy’okukugambako.
2. Ennyambala: Omukyala osobola okwetega n’okusendasenda omusajja gwe yeegwanyiza ng’oyitira mu kwambala obugoye obw’omulembe obuggyayo obulungi ffiga yo naddala akulya obwongo bwe mubeera mukolera mu kifo kye kimu, ekikuwa ekyenya okumweyisaako omusiikuule, abeereko ky’akugamba.
3. Enjogera n’entunula: Omukyala osobola okweyambisa eriiso oba okuzannyisa eddoboozi lyo okutengula omutima gw’omusajja gwe weegwanyiza.
4. Okugendako ‘out’ n’omusajja gwe weegwanyiza: Omukazi osobola okufuna essimu n’okubira mukwano gwo oyo gwe weegomba bw’aba si mufumbo n’omusaba n’abeereko akafo ke mugendamu mwenna mweweemu naye nga ggwe olina n’ekiruubirirwa kyo ekikusike eky’okumwetega.5. Okunoonyereza ku gwe weegwanyiza: Kino kikuwa omukisa okumanya ebimusanyusa n’entambula ze naawe n’osobola okugenda mu bufo bw’agenzeemu n’omwetega.
6. Omukyala ng’alina omulenzi gwe yeegwanyiza, taggwa ppatte ze bategeka era mu kweyanjula alaga nti anoonya, ate afuba okubeera ne mu ‘group’ za WhatsApp n’emikutu emigattabantu emirala gye baliko
‘TOLEMERAKO KUFUUKA KISEKERERWA
Wabula Mukisa awabula nti omukyala bwe weetega mu ngeri yonna gy’osobodde, naye ng’omusajja gw’osika tammuka, mute okwewala okutyobooka. Mu ngeri y’emu ne bw’omwetega n’akkiriza mangu, olina okusooka ne weefumiitiriza nga bwe weebuuza, lwaki akkiriza mangu, bulijjo abadde takulaba era lwaki abadde takukwana? Noolwekyo, olina okwekaliriza ebikolwa bye olabe oba anaasigala ng’akola bye bimu n’amaanyi n’obwagazi bwe bumu okumala ebbanga eryegasa
EBIREETEDDE ABAKYALA ABEEKWANIRA ABASAJJA OKWEYONGERA
Abawala okulwawo okufumbirwa: Abakaziabamu mu myaka gyabwe egy’ekivubuka, abasajja bwe babakwana bagoba bagobe, wabula akaseera bwe kayitawo ne balaba nga
bakuliridde ne bapakuka okunoonya abasajja ekivaamu nga batandika n’okubeekwanira.