ENSANGI zino, abamu ku bavubuka abatuuse mu myaka gy’okufumbirwa n’okuwasa, si bye baliko! Ate gwongedde okujabagira, olw’emikutu gya yintanenti egimu, obufumbo gye bulagibwa nga ekintu eky’entiisa.
Abamu ku abo abagezaako okuyingira mu bufumbo oluvannyuma ne basanga ebizibu, nabo bye boogera byongera kumalamu balala maanyi ne bava mu kkubo ly’obufumbo. Abali mu mukwano bangi basalawo bubeere bwa ‘lejjalejja’. Kino kireetawo ekibuuzo nti: Lwaki kiri bwe kityo?
Pasita Isaac Rwomushana, owa Kkanisa ya God Is Good Outreach Ministries e Sseguku Katale era oyinza okumuyita omubuulizi w’enjiri eya ‘dot.com’, agamba nti; “Ensi ekyuse okuva ku y’edda.
Bajjajja baffe batugamba baafumbirirwanga ku myaka nga 15 kuba obulamu bwali bwa njawulo nnyo ku bwa leero. Ensangi zino, abavubuka beetoolooddwa amawulire mangi; bye balaba bingi ne bye bawulira bingi okuva ne mu mawanga amalala, ebibaleetera okubeera n’endowooza ez’enjawulo ze beesalirawo ku bufumbo.
Rwomushana, y’omu ku bagenda okubeera mu mwoleso gwa Bride & Groom ogutegekeddwa okuva nga June 26 okutuuka 28 ku UMA Multipurpose Hall e Lugogo, agamba nti abavubuka abamu, bakoppa obuwangwa bw’Abazungu ekibaviirako okuyingira obufumbo ekikeerezi. Ate abamu kati balowooza nti abakazi basobola okwefuga n’okufuna ensimbi zaabwe nga tebeesigamye ku basajja. Endowooza eno evuddeko abawala abamu, obutayingira mu bufumbo olw’obwetaavu bw’ensimbi wabula olw’okwagala n’okusalawo okwabwe.
Mu ngeri y’emu, abavubuka abamu tebategeera makulu na kigendererwa ky’obufumbo era beetaaga okuluhhamizibwa abantu abakulu era abafumbo abalina obumanyirivu abasobola okubannyonnyola omugaso n’amakulu g’obufumbo. Agamba nti omuwala
omuto, bw’alaba ng’alina emmotoka ye, diguli, era afuna ensimbi ze, talaba mugaso gwa bufumbo. Mu ngeri y’emu, abalenzi nabo bwe bafuna ebyuma ebyoza engoye, bw’ayagala emmere agitumya ku mutimbagano, n’ebinaamubesabeesa awaka nga ‘Tik tok weebiri, aba talaba bukulu bwa bufumbo.