ENNAKU zino, abavubuka n’abasajja bettanira okukozesa ebiragalalagala nga babisiiga ku busajja oba okubimira nga bagenda mu kaboozi basobole okukalakata abaagalwa baabwe ebbanga eddene.
Ebimu ku bye bakozesa kuliko empeke ze bamira, bye banywa ne bye beesiiga ku mutaka. Abamu mu kubimira, baba baagala okuwangaala mu kisaawe ebbanga eppanvu waakiri essaawa nga emu n’okusukkawo mbu abakazi balyoke babakakase okubeera abasajja enjasabiggu.
Kyokka okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa abakugu abasajja abasinga abali wansi w’emyaka 40, ababeerako n’ebintu ye bakozesa tebabyetaaga. Mbu bano mu kubikozesa, bawubisibwa emboozi ze bawulira bannaabwe banyumya kyokka nga tebazirinaako bukakafu.
Nti ate gujabagira, olw’abo abalaba obutambi obuzannyibwa mu kusamba akapiira ababuzannya ne bamala ebbanga ppanvu nga bali mu kikolwa olwo oyo abeera abulaba bw’aba amalamu eddakiika ntono n’alowooza nti ye luyongoyongo.
Dokita Mbaaga Kigongo okuva ku UroCare Hospital, agamba nti abaakola okunoonyereza baakizuula ng’akaboozi akatuufu, abakazannya bandikamazeemu wakati w’eddakiika 5 ne 10 ng’okusukkawo kubeera kufuuse kulumya munno. Dokita Mbaaga ayongerako nti abavubuka abato bangi bakozesa ebintu ebijjanjaba obuzibu bwe batalina. Yannyonnyodde nti ebintu abavubuka bye bakozesa okubayambako mu kisaawe, byakolebwa okukola ku basajja abatalina mbavu n’abo abatasobola kuwangaala
kiseera kigere nga bayimiridde.
Wabula ate abatalina buzibu babikozesa olw’obutamanya. Agamba nti abasajja abali wansi w’emyaka 40, abettanira okukozesa ebintu bino abasinga bakola bulungi ng’ebizibu bye balina biva ku bwongo obuba bwetaaga okuwummula obuwummuzi so si kufunira ddagala.
Yannyonnyodde nti omuntu bwe yettanira okukozesa ebintu ebimuyambako okuwangaala mu kisaawe ate nga talina buzibu bimukosa. Abamu babikozesa n’amala eddakiika 40 mu kisaawe ate n’ayonoona bw’onoonyi. Abavubuka okwettanira okukozesa eddagala eribongera embavu mu kisenge, oluusi kiva ku kuwuliriza mboozi z’okwegatta n’ekiseera abalala kye bamalamu olwo bo ne beeraba nga abatamalaako kwe kufuna ebibongerako.Abaategedde ku kunoonyereza kw’abakugu, abamu bakkaanyizza nakwo ate abalala ne bakuwakanya. Ku mutimbagano gwa Facebook ogwa Bukedde, abamu baataddewo okunoonyereza kwabwe nga bwe bategeeza nti kuli, kwabaddemu kyekubiira.
“ Omuntu bw’aba akakkanye ebirowoozo era nga ne gw’agenda okunyumya naye akaboozi amwagala nnyo, eddakiika 10, zisukkawo. Nze nnali mmaze ebbanga ppanvu nga siribagana na munnange era lwe namusisinkana, twazannya luutu eziwera n’eddakiika ezisukka mu 10...,” Omu ku baabadde ku Facebook ya Bukedde bwe yategeezezza.
Abamu ku bawala abaayanukudde ku nsonga eno, beemulugunyizza nti bo mu ddakiika
10, baba batandika butandisi. “Eddakiika 10, ziba ntono kuba mu budde obwo, nze mba naakatandika okunyumirwa ate ng’ogamba nti akazannyo tukamale,” Namujju eyabadde ku mukutu bwe yategeezezza.
‘MUSOOKE MWENOONYE’
Ssenga Ritah Nabukenya, abuulirira abaagalana ng’asinziira Busega Kibumbiro agamba
nti abakyala abamu, batabika obudde obw’okubateekateeka n’obw’akazannyo kennyini.
Nabukenya agamba nti omusajja, alina okusooka okuteekateeka omuwala n’amussa mu mmuudu olwo akazannyo kagenda okutandika ng’ayidde. “Eddakiika 5 ku 10 ze mumala mu kikolwa, guba muzannyo gwennyini ogubatuusa ku ntikko. Eddakiika ezisooka, tezibalibwa kuba ze mukukozesa okutegeka ebirowoozo byammwe n’okweteekateeka ku kye mugendako era mutuuka ku lubimbi lwennyini, nga ddala lunyuma olwo omukazi ne kitamutwalira ddakiika mbale okumutuusa mu ‘ggulu’,” Ssenga Nabukenya bwe yagambye.
BAATEMYETEMYE EDDAKIIKA
Kojja Jonh Bamulenzeeki, abudaabuda abaagalana e Bulenga agamba nti bwe kibeera ng’eddakiika 5 ku 10 za kazannyo kennyini, ng’ezisooka ez’okwetegeka ezimanyiddwa nga forplay’ tezibaliddwa, abantu balina okukkaanya n’abaanoonyereza nti batuufu. Ono, ateemyeteemye eddakiika ezikolebwamu ebintu eby’enjawulo ng’abaagalana bali
mu kitandika. Agamba nti; l Eddakiika 5 ezisooka, ziba za kukkaanya na munno ku kazannyo ke mugenda okuzannya n’okwenoonya mpolampola. l Eddakiika 5 eziddako ziba za kwetema sipeeya era mu kimpoowooze nga si bya kupakuka. Oyinza okusalawo,
munno omwambule kimu ku kimu nga bw’oyisaawo eddakiika. Oyinza okutandikira ku bbulawuzi, n’osiriikirizaamu, n’ozzaako okumwambula sikaati era n’osiriikirizaamu. l Ogenda okutuuka ku kawale ak’omunda, nga ddakiika 5 ziyiseewo nga munno bw’omuteekateeka mpolampola ebitali bya kupakuka. l Oluvannyuma lw’okwetema sipeeya, mutwalayo eddakiika endala 10, nga mwenoonya, 5 eziddako zaakukozesa bitundu bya mubiri gwammwe okukakasa nti ddala emmere eboobedde.
l Awo akaboozi kennyini ak’oku nnyama ku nnyama ne katandika ne kamala eddakiika wakati wa 5 ne 10.