Ssenga

Ebibuuzo 10 by’otolina kubuuza mwagalwa wo

NGA waakagwa mu mukwano ne munno, wabaawo ebibuuzo  bye mwebuuza. Kyokka nga tonnafulumya kibuuzo kyo, sooka weefumiitirize  oba tekikosa gw’ogenda kukibuuza kuba wandikomekkereza ozimbuludde mu kifo ky’okuzimba. Ssenga Edith Mukisa, abuulirira abaagalana agamba nti kirungi okwewala ebibuuzo naawe by’omanyi nti bwe babikubuuza, onyiiga. Ayongerako nti sooka weefumiitirize, wesse mu bigereby’omuntu oyo gw’obuuza omanye  nti ddala bisaanidde okubuuzibwa.

Abaagalana nga basobeddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NGA waakagwa mu mukwano ne munno, wabaawo ebibuuzo  bye mwebuuza. Kyokka nga tonnafulumya kibuuzo kyo, sooka weefumiitirize  oba tekikosa gw’ogenda kukibuuza kuba wandikomekkereza ozimbuludde mu kifo ky’okuzimba. Ssenga Edith Mukisa, abuulirira abaagalana agamba nti kirungi okwewala ebibuuzo naawe by’omanyi nti bwe babikubuuza, onyiiga. Ayongerako nti sooka weefumiitirize, wesse mu bigere
by’omuntu oyo gw’obuuza omanye  nti ddala bisaanidde okubuuzibwa. Ssenga Mukisa agamba nti mu mukwano, mulimu okukwata munno ng’ekyatika bw’oba nga ddala omutima gwo gumwagala kuba oba toyagala kumunyiiza. Ssenga Mukisa, akoonye ku bimu ku bibuuzo, omuntu by’alina okwewala okubuuza munne bwe bali mu mukwano kuba byandimunyiiza ne bimuggya ku mulamwa gwe muliko ogw’okwagalana. 1. Okubuuza omwagalwa wo ku muntu gwe yakyawa: Tononooza  byayita. Abamu babuuza n’ensonga eyakukyayisa omuntu oyo. Bw’oba mu mukwano omupya, gw’ozimba totunuulira bya mabega.

2. Omuwendo gw’abantu be yaakeegatta nabo: Waliwo abayitawo n’abuuza munne omuwendo gw’abantu be yaakanyumya nabo akaboozi mu bulamu bwe.  Ggwe abuuza omuwendo oba ogwagazaaki? Oba oyagala kumanya ssematalo gwe yaakalwana?
Bw’anaagukubuulira nga munene, teguukumaleeko obwagazi? 3. Okugamba munno akugeraageranye n’omuntu gwe yayawukana naye, akubuulire asinga. Oli bwe baba baayawukana, kiki ky’oba okyamwagaza? Olwo bw’awaana oli okukira ku ggwe okola ki?  4. Oba yali azaddeko: Abatera okubuuza abaagalwa baabwe abaana be balina
n’ekyamwawukanya n’abantu be yabazaalamu, tekiba kirungi. Ssenga Mukisa agamba nti tuli mu nsi, ng’abantu abazadde mu bantu be batafumbiddwa bangi era kyangu kya kusisinkana munno ng’alinayo ezzadde. Tomussa nnyo ku nninga, kukubuulira byaliwo.
5. Okubuuza munno ssente zaakola olunaku oba zaasasulwa omwezi: Abakyala abamu batunuulira nnyo ebyenfuna era abamu, omukwano bagufuula bizinensi nga babaza ssente munne z’agenda okumuwa. Abakisussa, aba ayagala amanye ssente munne z’afunira ddala. Kino oyinza okukikola mu mutima mulungi sinnakindi ng’oyagala kuyambako munno ku ntemaatema yaazo mutuuke ne ku nkulaakulana naye kimanye nti
bw’aba tasazeewo kukwegambira, ate kiyinza okumunyiiza.
6. Ebikwata ku ffamire eby’ebuziba: Kirungi mu mukwano okumanya ebikwata ku
ffamire y’omuntu gw’oli naye mu mukwano. Naye manya w’olina okukoma. Bw’otandika okubuuza eby’ebuziba, wandikomekkereza  nga tokwasizza anti muyinza okubaamu ebitanyuma kyokka nga bya wala nnyo ate ne bikusiikuula  emmeeme.
7. Omala bbanga ki mu kisaawe.
Abawala abamu babuuza abasajja, ekibuuzo kino ate n’abasajja ne babuuza abawala ebirungo bye baanoga. Oba oyagala munno akuddemu  ki? Bw’anaakugamba ebbanga
eppanvu ate n’akutiisa! Oba ggwe bw’anaakubuulira ebirungo by’alina  ate n’omusanga nga tabirina. 8. Okubuuza munno oba mukwano gwe asikiriza. Sinnakindi oyinza  n’okumubuuza ku muganda we. 9. Okubuuza munno ku sayizi n’ekikula ky’omubiri  gwo. Si kirungi kubuuza munno ku sayizi ya bbeere lyo oba limukolera oba akabina
keeko k’ayagala. Mulimu n’abasajja ababuuza abakazi oba sayizi y’omusekuzo, yeeyo gy’ayagala.  10. Okubuuza munno ky’asinga okwejjusa mu nsi. Kirungi okwogera ku bibasanyusa so si kudda mu bya nnaku.

Tags: