Ssenga

GOLONTULA;Ekyama ekiri mu kibala kino buli mukyala ky’ateekwa okumanya

GOLONTULA;Ekyama ekiri mu kibala kino buli mukyala ky’ateekwa okumanya

Golontula
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKIBALA golontula okimanyi?
Ekigambo golontula (ku mitimbagano kiwandiikibwa gorontula) kiri mu lulimi Lunigeria naye mu lungereza, kiyitibwa ‘Snot Apple’. Ekibala kino bwe kiba kito, kibeera kya kiragala ow’amazzi wabula bwe kyengera kitandika okugubiiririramu ne kifuuka kya kyenvu ayagala okufaanana langi ya kitaka. Wano kikungulwa era ne kikazibwa. Bwe kikala kifuuka kitaka era ekyo, ky’osanga mu katale nga kitundibwa.

Kiba kitonotono nga ettugunda era munda waakyo mulimu obuwayi butaano nga buli kawayi kalimu ensigo ng’era ettugunda bwe liba. Golontula osobola okukirya obuli oba okukikubamu juyisi.
Ebikulu ebiriibwa ku kibala kino nga bya mugaso kuliko; l Ekibala kyenyini

l Ebikoola

l Emirandira
l n’omuti gwennyini. Okusinziira ku mukutu gwa https://www. semanticscholar. org/, abamu ku baakola okunoonyereza ku kibala kino, ne bazuula ebirungo eby’enjawulo eby’omugas  eri omubiri. Ebirungo eby’emmere ebyakizuulwamu kuliko;

1. Carbohydrates: Mukibala kyennyini, mulimu ekika ky’emmere eya Carbohydrates ewa omubiri amaanyi.
2. Protein (emmere ezimba omubiri), ali mu kibala kino era mavaamu ne
amino acids 3. Fiber; kirimu ebiwuziwuzi ebiyamba mu kugonza emmere mu lubuto.
4. Vitamin C ewa omubiri amaanyi okulwanyisa endwadde.
5. Vitamin A ayambaako ku maaso okulaba obulungi n’okuwa amaanyi omubiri okulwanyisa endwadde
6. Vitamin E: Atereeza ‘cells’ z’omu mubiri ezandifuuse enkyamu ne zibivaako.
7. Potassium ayamba emisuwa n’ebinywa okukola obulungi.

8. Magnesium ayambako omubiri okumenyaamenya ebirungoby’emmere ebiba biriiriddwa.
9. Iron ayamba mu ntambuza y’omusaayi
10. Zinc
11. Phenols
12. Flavonoids Ssenga Barbra Nangendo, abuulirira abaagalana ng’asinziira Mukono agamba nti golontula bamuyita ‘kyama kya bakyala’ kuba ebirungi ebumuvaamu, biyamba omukyala okuggumira mu kisenge era ne bimufuula ow’enjawulo mu maaso
g’omwagalwa we.
l Abaakola okunoonyereza ku kibala kino bannyonnyola nti kirimu amazzi era bwe kituuka mu mubiri, kireeta obutobu obuyamba omubiri gw’omukyala okutonda ensulo era bannabukalu, ekizibu kino obeera okigobye.
l Ekibala kino kirimu ebirungo ebikola nga flavonoids, polyphenols, ne saponins ebiyamba okukendeeza ku situleesi n’okutebenkeza obusimo ebiyamba okwongera obwagazi bw’okwegatta mu bakyala.
l Kitera okukozesebwa ng’eddagala ery’obutonde okulongoosa omubiri era n’ekitundu
ky’obukyala nga tekibutalizza ne kibuggyamu akasu akatali kalungi n’okubukuuma nga muyonjo mu mbeera nnungi. N’ebbugumu, ne libaamu ery’omugaso ennyo mu nsonga z’ekisenge.Golontula era alimu ekirungo ekitereeza embeera y’omubiri okugusobozesa okwanguwa okufuna olubuto.
MU BASAJJA KYA MUGASO
Daniel Kamara, omukugu mu by’endya okuva mu ddwaaliro ya Bwindi Community
Hospital agamba nti golontula ne ku basajja alina emigaso ntoko omuli;
l Alimu ebirungo ebiyamba okukuuma omutima n’okuyamba omusaayi okutambula obulungi mu mubiri ekiyamba abasajja okufuna obwagazi n’okukuba saluti.
l Alimu ebirungo ebiggya obutwa mu mubiri nga kino kiyamba
okukkakkanya situleesi era n’omusajja bw’atuuka mu kisenge, emirimu n’agikola bulungi.
l Alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekiyamba okuwa omusajja amaanyi ge yeetaaga mu kisenge.
l Ayambako okukuuma enkwaso okusigala nga nnungi. Tekizimba nkwaso mpya wabula
kikuuma z’olina okusigala nga nnungi.
EBIRALA
l Okuyamba omubiri okutambuza obulungi emmere.
l Okukuuma amagumba n’amannyo nga malamu olw’ekirungo kya ‘calcium’ ekirimu.
l Golontula alimu ‘potassium’ ayamba okukuuma ebinywa ebiramu.
l Nti era ayamba n’okukendeeza ku bulumi, eri ababufuna nga bagenze mu nsonga.
ENKOZESA YA GOLONTULA
Golontula osobola okumulya ng’ekibala ky’amatuggunda oba okumukubamu juyisi. Safina Nakato, atunda ebibala mu katale e Nakasero agamba nti bw’oba onoomukubamu
omubisi, goberera bino;
1. Osooka kukyozaako.
2. Funa amazzi amafumbe omusseemu asulemu nga bw’olaba bwe bannyika okra n’asula mu mazzi ne golontula bw’otyo bw’oba omukola.

3. Enkeera waalwo, mumerengule aveeko ensigo. Abeera aseerera nga
okra.
4. Funa entende oziggyemu ensigo oziteeke mu bulenda ogattemu amazzi ga golontula otonnyezeemu omubisi gw’enjuki ogw’ekigero obikubire wamu okakase nti entende nazo zigonze era ne zikola omubisi.
5. Awo ekirungo kyo kiba kiwedde ng’otandika kunywa. Atalina firiigi, nywerewo kiggwewo, agirina osobola okuterekekako n’onywako mpolampola.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

]

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

2

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Tags: