MISITA ne muwalajjana bwe beesogga ekisenge nange ne nnyingira mu ky’abaana kyokka otulo otwali tutandise okunsala ku maaso wabula. Nga ntudde ku buliri, ebirowoozo byanneesomba ne nneebuuza oba ddala ndi mu kirooto?
Okukujjukiza, tukyali ku munywanyi wange eyeesuulamu jjulume bwe yanoba n’adda mu bazadde be n’abaana kyokka olwawulidde nti omusajja ayingizzaawo ‘Stock
empya’ ate kwe kuvaayo ng’apaala ataase obufumbo bwe. Munywanyi yalunteereddeko
bwati: ‘Nneebuuza oba ddala mu maka gange nzize ng’omugenyi? Nazzaayo akatambi ne ndaba ng’omuwala ono awadde misita haaga nnyini amuwamba omutima.
Nga nnennyise mu birowoozo, nakubamu akafaananyi nga bali mu kumeggana ne nzijukira ebisuubizo bya baze nga twakalabagana obutagabanga ‘mutaka’ we eri omukazi omulala yenna. Nnawulira nga nsaanawo ne nnyunguka amaziga! Nafumiitiriza ku bikolwa bya mwanamuwala ‘stock empya’ naddala ku ngeri gy’akwatamu omusajja,
ne nneebuuza ne gye baamukuliza. Nneegeraageranya ku ‘stock empya’ ne ndaba nga bwe giba misinde, awenyuka ate nze nkongojja. Nalaba engeri omuwala ono gy’abudaabudamu Misita nga yamusika omutima n’amuwamba n’ebirowoozo era nga ddala okunzirira mpozzi ng’alowoozezza ku baana naye mu bya laavu mwanamuwala
ankubya kaga.
Omuwala ono, ayogeza kiraavulaavu era kizibu okuteebereza oba ddala baali banyiizeeko. Nze sijjukira nti oba nnali nnyambudde baze wadde sitookisi. Naye ono yamwambudde ekkooti, era ndowooza abantu bwe batabaawo, amwambula n’ebirala!
Ebya haaga, nkoma ku kulaba abantu abazeewa naye nze simanyi bw’ewooma kuba Misita nnakoma okugimuwa nga twakatandika omukwano. Kyokka namulabye nga bagimuwadde nga yenna anyumiddwa n’azibiriza n’amaaso!
Ebintu by’okwemoola omuwala ono by’akola misita omuli okumunywesa juyisi ate n’okumubuuza simanyi kawooma, ebyo sibimanyi era ndowooza sibisobola. N’okukamula juyisi nze mmanyi wa butunda nga ntaddemu emicungwa oba mangada. Kyokka ono gwe yagabudde baze yanfaananidde ono gwe bagabula mu wooteeri ez’ebbeeyi.
Bwe bayita abatezi b’akamasu ssupa, ono ‘stock empya’ mukugu atavuganyizika kuba ka ‘night’ k yasuulamu ke natuuma ‘jangu nkulage’ tekayinza kuganya musajja
kwebaka nga talidde kyakiro. Nze nneesiibiranga mu biteeteeyi nneekapise! Amazima omuwala yampa essomo nga tansasuzza wadde omunwe gwa ffiizi.
Nga nkyali mu birowoozo, nagenda okuwulira amaloboozi agafaanana ag’abantu abali mu nsiitaano. Abaagalana bano baali bambalaganye ng’amazima amaloboozi ge bakola, gakusaanuula ne ,gakucankalanya. Ng’enswagiro ensusseeko, okusiiyiriza n’okusikondoka, nava mu kisenge ky’abaana kye nali nneesozze nga sikiggadde, ne ng’enda ku luggi lw’ekisenge nga ndaba kinsusseeko okukakasa amatu gange ntikye gawulira kyekyo. Bakira ‘stock empya’ ‘ebisoko’ abifuuwa mu Lungereza nga bw’atenda baze okumanya okwesa empiki z’omukwano! Misita amaanyi gaabadde gamuwala ng’atabuse kuba obwedda mpulira amaloboozi agava mu mirimu gy’akakkalabya ne mpulira obuggya. Yamukalakase okumala kumpi essaawa nnamba naye nze bulijjo kibadde kitwala eddakiika 5 ku 10 ng’agwa eri.
Ekirala ekyankutudde y’enger mwanamuwala gye yabadde assammula!. Wiiki ejja linda ebyaddirira