Ssenga

Omukyala omufumbo kiki ekikugaana okuzaala?

MUWALA, ogaana otya okuzaala ate ng’oli mufumbo? Omwami yakugamba nti tayagala baana? Omwami yakusomesa n’akulinda omale emisono ne mukola n’embaga makunale nga tumanyi ekiddako kuba kuzaala naye okyeremye! Ffe bazadde bo otuswaza era tulowooza nti wandibaako n’ekikyamu ku mutwe oba ng’olina omusajja omulala gw’oyagala ng’ono toyagala kumuzaalira.

sSENGA WA BUKEDDE
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUWALA, ogaana otya okuzaala ate ng’oli mufumbo? Omwami yakugamba nti tayagala baana? Omwami yakusomesa n’akulinda omale emisono ne mukola n’embaga makunale nga tumanyi ekiddako kuba kuzaala naye okyeremye! Ffe bazadde bo otuswaza era tulowooza nti wandibaako n’ekikyamu ku mutwe oba ng’olina omusajja omulala gw’oyagala ng’ono toyagala kumuzaalira.
Ssente z’omusajja zigenze nnyingi ku ggwe kati weeyogeza ku butazaala. Wandibadde tokkiriza musajja kukuweerera kuba kitaawo yalina ssente ezikusomesa naye musajjawattu olw’omukwano n’asalawo akole buli kimu, ofuuke mukyala we. Bwe nawulidde ensonga zino ne nneefumiitiriza n’obulumi omwami waffe bw’alina ne ntya nnyo.Jjukira weeyagalira omwami ono era n’omutulaga. Ebintu bino byali wakati wo n’omwami wo kati ate otugamba otya okuzaala. Ffe tetuli buzungu. Eno e Buganda, amaka kitegeeza kuzaala era kasita embaga eggwa, ffe tuba tubasabira kuzaala.

Ennaku zino abawala kye mwagala sikimanyi. Mwana wange essanyu ly’amaka kuzaala. Oba omwami tomwagala tubuulire oleme kutta muntu. Omwami wo yazaalibwa
bwomu era ndowooza ekirooto kye, kuzaala naye afune ekika ekikye.  Kati ate ggwe ekirooto oyagala kukirinnyamu ate nga munno akoze kyonna ekisoboka okukufuula mukyala we n’akulaga n’omukwano.
Lwaki mutta emitima gy’abantu? Omwami waffe agenda kulwala era asobola n’okufa
olw’embeera eno. Mubeere n’emitima egy’obusaasizi. Kino tekikoleka mwana wa munno. Bw’oba toyagala kuzaala, omwami waffe muviire afune omukyala omulala. Naye alina by’ayagala okukola mu bulamu bwe ng’omuntu. Eky’okuzaala tekiriiko kuteesa okuggyako nga mwembi kye mwagala. Zaala oba fuluma obufumbo

Tags: