Ssenga

Obuvunanyizibwa bw'omuzadde eri omwana avubuse

STELLA Maris Nakaddu ow’emyaka 27, ajjukira nti yalina emyaka 9 n’atandika okuwulira enkyukakyuka ku mubiri gwe, n’atandika okumera amabeere, banne bwebaali basoma n’okuzannya, ge bataalina. Yatandika okwekomomma ate n’abantu abamu be yayitangako ne bamusongamu engalo n’afuna okwennyika mu mutima.

Dr. Sabrina
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

STELLA Maris Nakaddu ow’emyaka 27, ajjukira nti yalina emyaka 9 n’atandika okuwulira enkyukakyuka ku mubiri gwe, n’atandika okumera amabeere, banne bwebaali basoma n’okuzannya, ge bataalina. Yatandika okwekomomma ate n’abantu abamu be yayitangako ne bamusongamu engalo n’afuna okwennyika mu mutima.
Nakaddu, yeefaananyirizaako abaana abamu ab’omulembe guno, abakeera okuyingira mu myaka gya kaabuvubuka ku myaka 9, 10, ne 11 okwawukana ku bannaabwe, abatera okugiyingiriramu ku myaka 12.

Omwana bw’ayingira kaabuvuka, omubiri gwe gukyuka, amera amabeere, okugenda mu nsonga, okugejja akabina, okumera enviiri mu bitundu by’ekyama, okuvaamu akasu,
okumera embalabe n’ebirala.
Abalenzi oluusi bagejja eddoboozi, beerooterera, abamu batandika okwegomba abawalaDr. Sabrina Kitaka, omusawo w’abaana n’abavubuka era nga musomesa e Mulago agamba nti abaana b’ennaku zino naddala abawala, kaabuvubuka abakeera olw’ensonga ezitali zimu. Annyonnyola nti abaana abawala okugenda mu nsonga ku myaka emito nga ku myaka 9, kiyinza okwekuusa ku mwana okubeera n’omugejjo, endiisa embi, situleesi n’ebirala.
Omwana okugenda mu nsonga nga wa myaka 8, 9, oba 10 mwembi omuzadde n’omwana mutya naye ate omuzadde bw’oguma, omwana oba omuwadde eky’okukola era naye aguma. Dr. Sabrina agamba nti omuzadde tolaga mwana nti weekanze oba otandike okubuguutana kuba abaana basoma bazadde baabwe era buli kimu aba akwekenneenya
bulungi

OKUYAMBA OMWANA OMUWALA AKEDDE OKUGENDA MU NSONGA
l Omwana mulage nti tewali kikyamu kimutuuseeeko. Osobola okumuwa ekyokulabirako ky’akabaga nti okukeera kaabuvubuka, kiringa kukeera ku kabaga k’amazaalibwa nga n’abalala nabo baba baakujja oluvannyuma ku kabaga ke kamu ako.
Mulage nti embeera eno esobola okusooka okumuleetera obuteewulira bulungi kuba akedde naye oluvannyuma embeera eba ejja kutereera.
l Omwana bw’aba agenze mu nsonga, musookeze ku bintu ebijja okumwanguyira okukozesa nga paadi, empale eza langi ezitaamumenye kwoza. Ebikozesebwa ebirala
nga ‘tampoon’ sooka obireke.
Omwana tomulagirira bulagirizi kya kukola wabula mulagire ddala paadi we bazigula, mulage bwe bazikozesa, okumala bbanga ki era oluvannyuma omulage gye zisuulwa ng’omaze okuzikozesa kuba ky’omuyigiriza ky’agenda nakyo ate olw’okuba omwana aba muto, olina okutambula naye okukakasa nti kye wamulaze akigoberedde. Muyigirize okuterekangayo paadi n’akawale eby’okwekuumisa singa embeera emugwako bugwi nga tategedde ng’ali ku ssomero.
l Mutegeeze nti embeera eno wagimusookamu nga kikulu nnyo okumanya nti omwana bw’avubuka bingi ebikyuka mu ye. Bw’aba mu nsonga oluusi aba munyiivu nnyo oba taba mu mmuudu oluusi abeera mucamufu naye mutegeeze nti bino byonna
tebitegeeza ki kyali kuba biba bya kaseera.
l Olw’okuba omwana ono aba alaba bipya, muwe akadde akubuuze buli ky’ayagala okubuuza kuba oluusi biyinza okumusobera ng’ate gwe muntu omutuufu ow’okubuuza. Naawe bw’oba omuddamu, muddemu ebyangu by’asobola okutegeera ku myaka gye. Tomugamba saayansi muzito gw’atajja kutegeera l Londoola ennaku omwana z’agenda mu nsonga kuba olw’okuba omwana aba akedde kaabuvubuka, asobola okubuuka emyezi egimu nga tagenzeemu era bw’olondoola kikulu nnyo, olwo bw’ogenda mu ddwaaliro n’obitegeeza omusawo.
Ssenga Irene Namuddu okuva e Buloba agamba omwana okukeera okuvubuka kikanga naye omuzadde asobola okuyamba omwana akasu k’akaabuvubuka ne kakendeera, embalabe ziba za kaseera olwo mubuulire nti ziba zijja kugenda.
Eyogedde ku birala bw’ati;
1. Nga omuzadde, olina okubeera mukwano gw’omwana, omusembeze era omubuulirire. Omwana ono aba muto naye ng’obusimu bwe obw’omubiri bukuze mangu.
Bw’omukambuwalira atya era tajja kukweyabiza naawe by’omugamba kyangu obutabikwata
2. Omwana muyigirize obuyonjo: Oluusi abaana ensonga zibasukkako ne baddugaza engoye. Tomulangira eratomuvuma. Tokoowa kumusomesa buyonjo n’okwerabirira okutuusa
lw’alibikwata.
3. Olina okumubuulira amazima nti kati afuuse omukyala era asobola okufuna olubuto singa teyeefaako bulungi era wadde muto mu myaka naye kasita agenda mu nsonga aba akuze nga talina kuzannya na kitonde kisajja .
3. Ekyolusu, ensu ziva mu bifo 2 , enkwawa ne mu bitundu by’ebisambi (embalakaso) nga oluusi ekitera okuleeta ensu kwe kumera enviiri mu bitundu ebyo.
Era aba alina okweyonja obulungi.
4. Omwana omugulire akamweno era omuyigirize okukakozesa.

Kikulu okulaba n’omusawo

Dr Sabrina agamba kikulu okulaba omusawo w’abaana, omwana wo bw’akeera kaabuvubuka. Wadde ng’okukeera kaabuvubuka kweyongedde, naye omwana okugenda mu nsonga nga tannaweza myaka 9 oba okusuna amabeere nga tannaweza myaka 8 si kyabulijjo nga kikulu okulaba omusawo w’abaana okukakasa nga tewali buzibu buliwo.

Tags: