OBUFUMBO luba lugendo wakati w’omusajja n’omukazi era buli omu, ateekwa okuba
ne ky’agattako okubuwangaaza.
Emabega w’olugendo lw’obufumbo olunyuvu, wabaayo ebintu ebikolebwa wadde ebimu bidibiziddwa oba ebitwalibwa ng’ebitali bya mugaso kyokka nga by’ebigumya obufumbo.
Abamu kati essira balissa kukya kuteeka mmere ku mmeeza n’okusasula bbiiru ne basuuliriraoba okudibya ebintu ebikulu ebigumya n’okuwangaaza obufumbo.
Deo Ssemaganda, abuulirira abafumbo ng’asinziira Nakawa, yalaze obukulu bw’okubeera omwerufu n’okuwang’ana ebitiibwa nga abafumbo. Yannyonnyodde nti
abaagalana beetaaga okutondawo obudde buli omu bw’awa munne, okwogera ku bibasoomooza era ne bamalawo obutakkaanya.
Ssemaganda ayongerako nti ddala waliwo ebintu, abafumbo abamu bye badibya ate nga bye bye biwangaaza obufumbo era abinnyonnyodde bw’ati ku ludda lw’omukazi.
1. Okufukamira: Okufukamira naddala wano mu Buganda ne mu bitundu ebimu, kya muwendoera kizimba ekitiibwa. Nazzikuno, omusajja, gwe mutwe gw’amaka era
omukazi okumufukaamirira, kya muwendo nga n’abasajja abamu bakirindirira
n’essanyu wadde abakazi b’ennaku zino abamu, baakidibya. Si kuba nti buli kadde, omwami wo olina okukimukolera, naye w’ofukaamirira, yeesiima nti ddala
yafuna omukazi amuwa ekitiibwa.
2. Okufumbira omusajja ekyenkya: Omusajja atuukiriza obuvunaanyizibwa we awaka, alina okutegekerwa ekyenkya nga tannava waka okuviira ddala mu kisenge n’eky’eddiiro. Abakyala abamu ensangi zino, eno tebagitwala nga nsonga era osanga omwami we ng’avudde awaka nga muyala, olwo ekyenkya n’akinoonya gy’alaga3. Okuwa omusajja ekitiibwa: Omulembe gwe tulimu, bakyala bangi ba bitiibwa mu ngeri ez’enjawulo. Kyokka ng’omusajja bw’ali omutwe gw’amaka, ekitiibwa kye kisigalawo era omukazi ne bw’aba n’ebitiibwa eby’oku mulimu gy’akola,ebitabo bye yasoma oba ssente z’alina, awaka aba alina okuwa omwami we ekitiibwa. Kino abamu ku bakazi bakisuulirira, n’amaka ne gayuuga ng’ate obufumbo buzimbirwa ku kitiibwa.
4. Okufumbira ab’omu maka go emmere mu nnaku enkulu: Omulembe tuli mu gwa Dot.Com era bingi ebigunjiddwaawo.
N’abakyala abamu, bye bagoberera ne bibalemesa n’okubeerako ne ffamire zaabwe mu nnaku enkulu ate nga ze zandibadde zibagatta. Ekijjulo ky’ennaku enkulu kya ssanyu era kye mulina okuubeerako awamu n’abantu bo okujaguza.
Abakyala abamu beebalama okutegeka ebijjulo bino ne basalawo okugenda mu bifo ebibafumbira emmere olwo omwami n’alemwa n’okulya ku nkokonkulu eweebwa Ssemaka.
5. Abakyala abamu balemwa okuyonja engoye zaabwe ez’ensonyi ne bazikwasa abakozi
ababayambako awaka okuzibayonjeza. Kuno tekuba kuzimba maka agaggumidde kuba n’omwana gw’ozaala, oba omusigamu bucaafu bw’aba tasobola kweyonjeza ngoye ze za munda.
6. Omukazi okukkiriza, omusajja okumusookanga okudda awaka entakera:
Ensi ekyuse nti omukazi n’omusajja bonna bava awaka okugenda okukola, naye ate tekinyuma, musajja kusooka mukazi kudda waka.
Eriyo abakazi abakisussa, nga ye buli lunaku, omwami y’amuggulira nga ne mu bannaabwe, bakyewaaniramu nti bba y’amuggulira. Mu nkola entuufu, omukazi yandifubye, n’asooka awaka era n’abaako by’ategekera omwami we, wakati mu kumala olunaku olulamba nga tamulabyeko.
7. Okuyonja awaka:
Abakyala abamu, tebakyefaayo kuyonja waka wadde nga buvunaanyizibwa
bwabwe. Bino babirekera bakozi ababayambako.
8. Ennaku zino abalyowi b’emyoyo n’abasumba abamu, balina eddoboozi ddene ku bakazi abafumbo era n’abakyala abo babawuliriramu nnyo, okusinga abaami baabwe.
Kino kittattanye obufumbo obumu ne butuuka okusaanawo nga mu buli kimu, omukazi ajuliza musumba we.
9. Okuteekateeka engoye z’omwami we: Abakazi abamu kino tebakyakikola olwo abaami baabwe ne beekwatiramu olwo omukazi n’atamanya ngeri mwami we gy’ayambadde n’abwafaanye, ng’ava awaka.
10. Okubuuziganya: Kino kigwa ku njuuyi zombi olw’omukazi n’omusajja nga teri afaayo kubuuza ku munne bwe yasuze oba bwe yasiibye. Beeraba bwerabi olwo ekigambo wasuze otya oba osiibye otya, ne bakoma kukiwulira mu balala ate nga kyandisookedde mu bo, ne kizimba empuliziganya.
11. Okusiima n’okwebaza: Mu maka agamu, batunuulira bitagenze bulungi byokka ne beerabira okusiima amaanyi abalala ge bateekamu, okukola ebirungi. Omukazi asobola okufumba emmere, n’alongoosa awaka, n’alabirira abaana n’obuvunaanyizibwa bwa
famire obulala naye n’atafuna ku kigambo weebale okuva eri omwami we. Ne ku musajja asobola okukola obudde bwonna okubeezaawo ffamire, naye omukazi n’alemwa okumusiimako.
Okusiima tekitegeeza birabo bya bbeeyi. Okugamba nti weebale’, kizzaamu nnyo munno amaanyi. 12. Okutambulako awamu nga abaagalana: Ekintu ekigatta ennyo abaagalana, kwe kutambulako bonna mu budde bwabwe obw’eddembe nga tebali mu leebuleebu wa mirimu. Era abatambulako bombi, banyumya emboozi ezitali zimu ezizimba obufumbo bwabwe n’ensobi ze bakola era bagenda okudda awaka nga biteredde. Ennaku zino, abafumbo abamu buli omu acakala bibye. Ssemanda agamba nti omusajja omutuufu yooyo akola ekituufu n’omukazi omutuufu y’akola ekituufu.