
OMUBISI gw’enjuki gulina emigaso ntoko era ddagala ku bintu ebitali bimu. Singa ofuna ogutali gwa bicupuli gukola ku bintu bingi omuli n’okunyiriza enviiri ne zitaba nkalu.
Guno osobola okugusiiga mu nviiri gwokka, oba okugugatta n’omubisi gw’enniimu.
Funa omubisi oguteeke mu kikebe. Oluvannyuma gattamu omubisi gw’okamudde mu nniimu, osiige mu nviiri ng’omaze okuzinaabamu bulungi.
Gulekeemu okumala eddakiika 20, oluvannyuma onaabemu, osiigemu ebizigo.
Omubisi gw’enjuki gulimu ebirungo ebikola ku mirandira gy’enviiri ne zimera bulungi, era we zifulumira nga zirabika bulungi.
Omubisi guno era gutta obuwuka obuyinza okulumba enviiri ne buziremesa okulabika obulungi.
Omubisi gw’enjuki gunyiriza enviiri