Zino ze zimu ku nsonga ezisiba obwenzi mu bafumbo:
Obutamatira mukwano naddala mu basajja y’emu ku nsonga enkulu esibye omuze gw’obwenzi mu bafumbo. Ate waliwo abasajja abaakyeteekamu nti tasobola kumatira mukwano ng’alina omukazi omu.
Oluusi okwenda kuva mu kunoonya kusanyusibwa okw’enjawulo. Ayinza okuba nga munne amuwa omukwano ogumumala wabula mu bwongo bwe n’asigala ng’alowooza nti alina ky’atafuna bulungi, olwo n’atandika okukinoonya mu bantu abalala.
Waliwo abenda nga bakikola kwesasuza. Kino kisinga kubeera ku bakazi. Bw’amanya nti bba abaliga, n’anoonya engeri y’okumwesasuzaamu nga naye afunayo omusajja omulala gwe yeegatta naye.
Okulemwa okugonjoola ensonga ezibakaayanya nga bukyali. Okugeza bwe mufuna obutakkaanya ne mutabwogerako, kyangu buli omu okutandika okulowooleza mu kufuna ekiwejjowejjo ew’omuntu omulala okukkakkana nga beesanyusa mu bya mukwano.
Waliwo abeenyigira mu bwenzi nga banoonya byanfuna. Kino tekyawula mukazi na musajja, wadde ng’abeesanga mu mbeera eno batera kuba bakazi. Omwami we ayinza okuba nga tamuwa ssente zimumala kukola ku byetaago bye, ekivaamu kufuna musajja mulala amwongerezaako ku ssente bba z’amuwa.
Obutabudaabuda munno naddala nga mukulanye nakyo kisindise bangi mu bwenzi. Bw’afunayo omupya n’amuwembejja mu ngeri ey’enjawulo kiba kizibu okumuvaako.
Obwavu nayo efuuse nsonga nkulu mu maka. Omusajja bw’anoonya ssente ne zimubula sso nga waliwo omukazi omwetegefu okuzimuwa singa amusanyusa mu buliri, batono abawalira.
Waliwo abagenda mu bwenzi okwongera okuvumbula mu by’omukwano.
Obutafuna kubuulirirwa ng’abaagalana batandika obufumbo nakyo kikulu kuba abamu tebamanyi nti obwenzi bubi.
lObutassa kitiibwa mu baagalwa baabwe. Kizibu omuntu gw’ossaamu ekitiibwa era ng’omwagala ate okumugattika.
Ensonga 10 ezisibye embaliga mu bufumbo