TOP

‘Tombuulira mukazi ataakyalira nsiko’

Added 24th May 2010

Naye bwe mba sikwetaaga, sitawaana naawe nkuleka ne nkwesonyiwa ne nnoonya ssenga gwe yabuulirira obulungi.

OKUVA edda ng’omwana omuwala bw’asuumuukamu, bassenga be baateranga okumutuuza ne bamubuulirira ku nsonga z’amaka, ez’omu kisenge n’ebimu ku bintu ebisany

Naye bwe mba sikwetaaga, sitawaana naawe nkuleka ne nkwesonyiwa ne nnoonya ssenga gwe yabuulirira obulungi.

OKUVA edda ng’omwana omuwala bw’asuumuukamu, bassenga be baateranga okumutuuza ne bamubuulirira ku nsonga z’amaka, ez’omu kisenge n’ebimu ku bintu ebisanyusa omusajja era nga muno mwe mwali n’okukyalira ensiko.

Wabula ennaku zino, bassenga beesuuliddeyo gwa naggamba ku nsonga zino ezimu ne ziviirako n’abaana baabwe abamu okufiirwa obufumbo.

Bukedde yatuukiridde abasajja abenjawulo n’ababuuza kye boogera ku bakyala abaakyalira ensiko, oba ddala bakyakitwala ng’ensonga era ne boogera bwe bati:

Musa Sebunya:
Bagamba nti ensowera ekwagala y’ekugwa ku bbwa, n'olwekyo, nnyabo bwe nkugamba nti kino kye njagala mba sikoze nsobi kuba mba nkwagala era bw'olaba sifuddeeyo, olwo mba nnoonya eyatyaba enku n'alwayo.

Sperito Kitezi: Sifaayo oba kikuyisa bubi naye nkwatulira n'osala amagezi. Naye bwe mba sikwagala nnyo nkwesalako mpola ne nnoonyaayo eyakula ne ssenga we era n'amulaga ebisanyusa omusajja.

Fred Musoke :
Sisobola kubeera na muntu ataakyalira nsiko. Muyambako ne mmutwala ewa ssenga gwe nneesiga n'amukolako emikolo olwo nange ne nfuna ku ssanyu. Wabula kye ntya kiri nti oyinza okumala okumutuusa ku kirungi bwe kityo, ate n'akulekawo n'agenda asanyusa abalala.

Isma Seguya:
Nnoonya eddagala erya buli kika ne mmwekolerako nze kennyini okutuusa lw'afuna ekigero kye njagala. Sisobola kugumiikiriza butafuna ssanyu lya kika ekyo.

Erias Pedo:
Ebintu by'omu kisenge biba bisaanamu amazima. Siyinza kugumira kinnuma ng'ekyo era kye nkola mmwatulira ate ne mmuyambako okulaba ng'akivvuunuka. Omukwano gwonna gunyuma buli omu abuulira munne amazima.

Ismail Mabanja:
Seetaagira ddala mukazi ataakyalira nsiko era siyinza butakubuulira nga nkwagala kuba kye kimu ku bintu ebisanyusa omutima gwange ku mukazi n'olwekyo bw’otaba nakyo mba mpulira bubi.

Ali Yawe.
Essanyu ly'abasajja abasinga mu ngeri y'okutandika okuteekateeka munno, n'okulyalira ensiko ebaamu nnyo, n'olwekyo bw'omusanga nga teri kantu obula okufa era n'amaanyi gayinza okukubula. Naye kye nkola mmubuulira nga Ssenga bwe yamutimawa era ne tusalira wamu amagezi asobole okutereeza ensonga eyo.

Livingstone Mugambwa.

Sitawaana n'oyo. Mmuleka nga ssengaawe bwe yamukotoggera ne nnoonya eyagenda mu kibira kuba omuntu ow'ekika ekyo oyinza okumwatulira ate n'alufuula lutalo ng'osanga ye tabyetaaga.

‘Tombuulira mukazi ataakyalira nsiko’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...