Abagenda okunyumya akaboozi balina okuketegekera ate nga mwembi mwagala nga tewali awaliriza munne kubanga okunyumya akaboozi kiba kya kyeyagalire.
Wabula waliwo ebintu ebiwerako ebiyinza okumalako munno obwagazi ng’ebimu ku bino bye bino. Olugoye: Si kirungi okugenda okusisinkana munno n’olugoye olujama oba nga luwunya, kubanga singa atandika okukunoonya n’alulaba oba n’awulira ekiwunya, olabirawo ng’abadde ajjude obuswandi akuviira.
Akaleega: Abakazi abamu balwawo okwoza akaleega bwe kaba akeeru ne katuuka n’okufuuka aka kyenvu naddala mu nkwawa. Singa munno akwambula n’alaba langi eyo, amaanyi g’abadde asonze gesala omulundi gumu.
Akawale: Singa kabaamu ekituli munno n’akiraba mu kiseera ky’okukwambula, kisobola okumumalamu amaanyi ne webuuza ky’abadde nga tokitegeera.
Ebizigo: Newakubadde kiba kirungi okwenyiriza ng’ogenda okusisinkana omwagalwa wo, naye ate sikirungi kumala geemetta buli kizigo wenna n’ameremeenya olwo akwambula nga buli lw’akukwatako oseererabuseerezi nga nsonzi.
Akawoowo: Kirungi okwekuba ku kawoowo n’owunya bulungi, naye ate kayinza okuviirako munno abadde atandise okukwambula okuggwamu amaanyi nga kasusse.
Enviiri: Jjukira nti muno bw’aba akwambula akukwatakwata buli wamu n’olwekyo enviiri eziwunya obubi ziyinza okumumalako obwagazi.
Ebyenkwawa ne eby’omu mbugo: Mu kiseera kino munno wa ddembe okukunywegera buli wamu n’olw’ekyo singa anaatuuka mu bifo ebyekusifu nga tobimwa, kiba kibi nnyo. Akamwa: Akamwa akawunya kabulabe nnyo mu kutta obwagazi. Olina okulaba nga tovaamu kasu konna n’olw’ekyo akamwa wandibadde okayonja bulungi.Â
Ebimalako obwagazi ng’oyambula munno