TOP

Yambala langi eggyayo ffiga yo

Added 11th August 2012

LANGI ekola kinene okuggyayo endabika y’omuntu era y’ensonga lwaki engoye zikolebwa mu langi ey’enjawulo okuyamba abeera alwambadde okunyuma.

Bya MUSASI WAFFE


Rebecca Wasswa ow’e Kasubi agamba nti langi ezaaka zimukolera naddala ng’azimaacinze bulungi. 

LANGI ekola kinene okuggyayo endabika y’omuntu era y’ensonga lwaki engoye zikolebwa mu langi ey’enjawulo okuyamba abeera alwambadde okunyuma.

Waliwo langi erabisa omuntu nga munene, ekozza, ereeta akabina n’amakudde, sso ng’endala bw’ogyambala ne bw’oba n’amakudde gabula!

Kino kitegeeza nti nga tonnalonda langi ya lugoye, wadde oluusi dizayini ebeera ekukubye oteekeddwa okusooka okumanya enkula yo kikuyamba okulonda langi ekugyamu.

Okusinziira ku katabo k’emisono aka Lady Zona ak’e Bungereza, langi  ya kacungwa y’emu ku zisinga okunyumira abantu abatono ddala ate nga bawanvu.

Bagamba nti singa omuwala oba omukazi ayambala langi eno ne bw’aba mutono ng’olumuli erina engeri ‘gy’emuteekako ennyama n’alabika ng’omunene ekimwongera okulabika obulungi.

Kino kitegeeza nti ate omunene ddala, langi eno tasaanye kugyesembereza, ejja kwongera okumulaga nga munene nnyo.

Omukyala alina ekifuba ekinene n’ebbeere eddene  okunyuma weekwate langi ya pinki naddala wansi.  Okugeza singa ayambala bbulawuzi enzirugavu, wansi n’ayambalirayo jjiini eya pinki oba sikaati ya pinki abamulaba amaaso bajja kusinga kugassa wansi awali langi eyaka, ebbeere tebajja kulifaako nnyo.

Ate bw’oba wa kabina kanene, kirungi n’oyambala waggulu langi eyaka nga kacungwa, enjeru, emmyuufu pinki n’endala.

Kino kireetera abakulaba amaaso okugassa ennyo waggulu awali langi eyaka, ne bagaggya wansi. Wabula bw’oba ng’ekigendererwa kyo kya kulaga kabina ko nti keemala, tekikugaana kukambaza langi eyaka, anti era ejja kwongera okulabisa nga kanene ddala.

Abakugu era bagamba nti ekirungi ky’okwambala langi ezaaka naddala waggulu, nti zirina engeri gye ziyambamu ffeesi yo n’olabika ng’asaze emyaka, ekitali ku langi enzikivu, kuba zongera
okukuzikiza naddala mu ffeesi.

Ku mukyala ataakenduka bulungi mu kiwato, singa weesiba omusipi naddala ogwa langi eyaka gujja kukunyunira gwongere okulaga ekiwato kyo we kikoma. Okugeza bw’oba oyambadde ekiteeteeyi ekiddugavu nga mulimu ebyeru, osobola okusibako omusipi omumyufu okwongera okuggyayo endabika y’ekiteeteeyi.

Obutalaga nnyo nti omusipi gwawukanye ku by’oyambadde osobola okukwatirako ensawo emmyuufu oba n’oyambalirako engatto emmyuufu, ojja kwaka.

Ng’oggyeeko engoye, ‘make -up’ gwe weesiiga naye singa omutobekamu langi ezaaka, ojja kwongera okunyuma. Langi nga kakobe, kipaapaali, bbulu, pinki n’e-ndala singa ozeesiiga bulungi zongera okukulabisa obulungi naddala nga zikwataganye ne bw’oyambadde.

Eby’oku matu, obukomo, ensiiga y’enjala, omukuufu ne kalonda yenna gwe weeteekako okwongera okunyuma akola bulungi ddala singa abeera mu langi ezaaka.

Yambala langi eggyayo ffiga yo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abooluganda nga bakutte ekifaananyi kya Ddamulira.

Bawunze bwe bakabatemye ku ...

ABOOLUGANDA ly'omusuubuzi wa Kisekka, John Ddamulira eyawambibwa emyezi etaano emabega baweddemu essuubi gavumenti...

Abazimyamoto nga bazikiriza omuliro.

Akasattiro! Essomero likutt...

Wabaddewo akasattiro e Namungoona ku ssomero lya Golden Junior School, ebisulo by'abayizi bwe bikutte omuliro ebintu...

RCC wa Kawempe,  Dauda Kato ng'akwasa omu ku baserikale ebbaluwa, abalala nabo baasiimiddwa.

Abaserikale ba Reserve Forc...

RCC wa Kawempe omuggya Dauda Kato akubirizza abaserikale b'eggye  ezzibizi okutwala mu maaso empisa  ennungi ze...

Achen nga yaakamala okulongoosebwa essasi mu kabina mu ddwaaliro e Mulago.

Omusuubuzi eyakubwa essasi ...

OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira  mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu. Harriet Achen 37 omusuubuzi...

Colin Asiimye Kitunzi wa Multichoice ng'annyonnyola

Aba Multi choice baddizza k...

ABAKUNGU ba kampuni ya "MultiChoice basaze emiwendo gy'empereza yaabwe n'ekigendererwa kyokuyamba  bakasitooma...