Bya MARTIN NDIJJO
MWANAMULENZI Ivan Ssemwanga abasinga kati gwe bayita omugagga omuto buli lukya aleeta bubadi bwa kulya bulamu n’okulaga ssente.
Abadde akyayogeza bannakampala obwama olw’okupangisa ennyonyi eyamuleese e Namboole ku mupiira gwa Cranes ne Zambia, ate ku Ssande n’addamu okulaga ‘esswaga’ bwe yapangisizza emmeeri n’alagira buli ayagala alinnye balye obulamu nga baseeyeeyeza ku nnyanja Nalubaale.
Agamba nti akabaga kano kaamumazeeko obukadde 35 anti ebyokulya n’okunywa ye yabadde asasula, era yacakazza abawala abasoba mu 100.
Ivan yatuuse ku Beach Gardens e Ggaba we baalinnyidde emmeeri ku ssaawa 10 ez’olweggulo era yasanze mikwano gye bamulindiridde.
Olwavudde mu Hummer ye n’alagira abaabaddewo bonna balinnye emmeeri bagende balye ku ssente ng’empewo bwe zibafuuwako.
Abadigize nga balinnya emmeeri e Gaba
Abantu okwabadde n’abayimbi baasimbye ennyiriri okulinnya eryato lya MV Amani okutuusa omugoba waalyo bwe yasabye balekere awo olw’abantu abaabadde bayitiridde obungi nga liyinza okubbira.
Baasimbudde ng’emiziki bwe gisindogoma olwo ebyana ne bitandika okutema ddansi.
Ivan (wakati) ne banne nga balya ekyennyanja.
Abaakoze ku ky’okugabula eby’okulya n’okunywa baabadde bagenda mu maaso n’okutambuza kuleeti za bbeeyi nga buli omu yeerondera ekika ky’omwenge n’omuwendo gw’eccupa ze yeetaaga.
Okuva ku Beach Gardens e Ggaba emmeeri yasoose Port Bell n’edda e Munyonyo olwo n’esibira ku Bear Gardens II esangibwa ku kyalo Busoke mu muluka gw’e Ntenjeru ng’eno Ssemwanga gye yagabulidde abantu omulundi ogw’okubiri.
E Busoke baatuuse ku ssaawa 3:00 ez’ekiro, olwo ne bongera okulya ekyennyanja ekisiike n’okunywa, ssaako okusala endongo okutuusa ku ssaawa 6:00 mu ttumbi.
Abamu ku bawala abaabadde ku mmeeri nga basala ddansi.
Emmeeri yakomyewo e Ggaba ku ssaawa 7:00 ez’ekiro olwo abayimbi ne batandika okubakubira emiziki.
Ivan era atadde obukadde butaano mu Mbuutu y’Embuutikizi eya Bukedde Fa Ma eneebeerawo ku Ssande nga October 28 mu kisaawe e Nakivubo. Ssente zino aziguzeemu tikiti ezinaayingiza abawagizi ba Bukedde mu Mbuutu.
Ekyana ku lyato. Ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo.
Ivan apangisizza emmeeri n’acakaza ebiwala 100