TOP

Enniimu enkola ffiga

Added 23rd November 2013

BETTY Musisi Nankya abeera Mutundwe, wabula ng’azaalibwa Ntebe ku Bayita Ababiri. Y’omu ku bawala abasinga obubalagavu mu kitundu gy’abeera era abafuba okwekuumira ku mulembe. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku ndabika ye n’ebintu eby’enjawulo ebimuyamba okulabika obulungi.



BETTY Musisi Nankya abeera Mutundwe, wabula ng’azaalibwa  Ntebe ku Bayita Ababiri.  Y’omu ku bawala abasinga obubalagavu mu kitundu gy’abeera era abafuba okwekuumira ku mulembe. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku ndabika ye n’ebintu eby’enjawulo ebimuyamba okulabika obulungi.

Omulembe oguliwo gwa kwefaako kuba omukyala yenna ne bw’aba mulungi naye nga tafayo kwerabirira kynagu okufeedinga.

Obulamu bwange saagala kusigalira mabega wadde okwefeebya. Amaaso gange ebiseera ebisinga tegava mu maduuka kuba buli akapya akalabika obulungi nga kali ku mulembe mbeera njagala okulaba nga nkeetuusaako nsobole okulabika obulungi.

Okugeza kibeera kinneetaagisa okukola okunoonyereza okuzuula emisono gy’engoye, enviiri, engatto, ensawo ne kalonda omulala okumanya ebinnyumira. 

Betty mu biseera bye eby'eddembe

FFIGA:

Eno ensanyusa nnyo kuba tenkaluubiriza nga bwe kiri ku bakyala abamu. Enyumira engoye ezisinga obungi, ate ng’ekuba abasajja. Ekisooka hayiti yange yeemalirira ate ne hipusi zisikiriza abalabi. Ffiga yange ngikuuma butiribiri kuba ssaagala kweyongerako kuba omugejjo teguliimu kalungi. Kino okukituukako nneewala okulya ennyo ekisusse naddala eby’amasavu. Nnettanira okunywa enniimu. Eno ngikamula ne ngattamu amazzi agabuguma ne nnywa.

Eno nginywa emirundi ebiri ku makya n’akawungeezi. Eno ennyamba okusala ku masavu n’okukendeeza obuzito.  Kuno kwe ngatta okukola dduyiro asala amasavu.

OLUSUSU:

Luno lunneeyagaza kuba si lwa kupangirira ng’abakyala abamu. Engeri gye luli lwa cokuleeti kinnyamba kuba teruboola ngoye. Ekirala luweweevu ate lunyirira. Okulukuuma nga lulabika bulungi nkozesa ekika kimu eky’ebizigo okwewala okufuukuuka.

Ate ffeesi yange ngirabirira buli kadde kuba gy’ekoma okulabika obulungi gy’ekoma n’okusikiriza. Okugikuuma ng’eyaka nkozesa pawuda, lipusitiiki, ekkalaamu ne kalonda omulala anyiriza ffeesi.

Betty ng’alaga ezimu ku nsawo ze.

ENGOYE:

Zino nzambala okusinziira ku kifo n’omukolo gwe ng’endako.Okugeza bwe mba ng’enda kucakalako oba mu bifo eby’amasanyu ntera kwambala mmini kubanga zimpa emirembe. 

Ate engeri gye nnakula obulungi sirina kye nkweka kuba entumbwe yange emalirawo.

Engoye empanvu nazo zinnyumira wabula nsinga kuzambala nga ng’enda mu bifo eby’obuvunanyizibwa ne ku mikolo. Kuno kwe ngatta ebyambalo ebitali bimu omuli leegingi, amasuuti, empale n’ebirala.

Okutwaliza awamu sirina nnyo kifo kya nkalakkalira gye nzigula kasita nsanga olubeera lunsanyusizza omuli empya n’ezemivumba. Ngula okuva ku 40,000/- okudda waggulu.

ENGATTO:

 Okufaananako n’engoye, engatto nnyambala emivumba n’empya kasita zibeera nga za mulembe. Ngula okuva ku 30,000/- okudda waggulu. Engatto za kakondo nzettanira naddala nga ng’enda mu bifo eby’obuvunaanyizibwa n’emikolo. Fulaati okuzinga nzambala mu biseera byange eby’eddembe. 

Wano nga yeekolako.

ENVIIRI:

Okusinga njagala nnyo okubeera n’enviiri ku mutwe nga nnyingi kuba zigyayo bulungi endabika yange. Nakizuula ng’enviiri bwe ziba ennyingi ku mutwe zinnyumira ate teguswala. 

Zino zimmalako ekitono ennyo 60,000/- okusinziira ku musono n’ekifo. Enviiri okuzikuuma nga zirabika bulungi nkozesa nnyo sipule n’okusiigamu ebizigo ebituufu mu kiseera ekituufu. Bino biyamba enviiri zange okuziriikiriza n’okuzikuuma nga zinyirira.

ENSAWO:

Zino nzikwata okusinziira ku mukolo, ekifo ne langi y’olugoye lwe nnyambadde. 

Okugeza ensawo ennene nzikwata nga ng’enda mu bifo eby’obuvunaanyizibwa. Obusawo obutono okusinga mbukwata mu biseera byange eby’eddembe. Nzigula okuva ku 30,000/-.

 

Enniimu enkola ffiga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...