TOP

Nneewala ebizigo ebyonoona olususu

Added 24th May 2014

OLIVIA Nakimuli abeera Gayaaza era gy’azaalibwa. Y’omu ku bawala abalabika obulungi mu kitundu gy’abeera. Ayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku bintu eby’enjawulo ebimuyamba okwekuumira ku mulembe ng’alabika bulungi.



OLIVIA Nakimuli abeera Gayaaza era gy’azaalibwa. Y’omu ku bawala abalabika obulungi mu kitundu gy’abeera. Ayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku bintu eby’enjawulo ebimuyamba okwekuumira ku mulembe ng’alabika bulungi.

OKUTAMBULA n’omulembe kitegeeza okubeera nga omuntu okyuka okusinziira ku mbeera ebeerawo mu kiseera ekyo. Eno ngitwala nga nsonga nkulu nnyo kuba ssaagala kusigalira mabega. 

Okugeza bwe wabaawo engoye empya ezizze ku katale nfuba okulaba nga nzetuusaako. Emisono gy’enviiri emipya nagyo ngijjumbira nsobole okulabika obulungi.

 Amaanyi gange okusinga gali mu ndabika yange kuba hayiti yange yeemala, simayiro nnungi kuno kwe ngatta ffiga y’ekimerika abangi gye bayaayaanira.

Nakimuli mu biseera bye eby’eddembe

Ebintu bingi ebinnyamba okwekumira ku mulembe. 

OLUSUSU:

Okubeera n’olususu olwa langi eya cokoleeti kinsanyusa nnyo era nkyenyumirizaamu kuba lulabika bulungi. Ng’oggyeeko langi, olususu lwange lunyirira, lugonvu ate luweweevu.

Okukuuma olususu nga lulabika bulungi ate nga lunyirira ng’enda mu sawuna okweyoteza. Kino nkikola omulundi gumu buli wiiki. 

Okweyoteza kunnyamba okukkakkanya ebinywa, okufulumya obucaafu n’okutambuza obulungi omusaayi mu mubiri.

Okulya ebibala nayo nsonga nkulu nnyo mu kukuuma olususu lwange. Nnalifuula tteeka okulya ebibala kuba birimu ebiriisa ebinnyamba okulwanyisa endwadde. 

Ebibala byendya mulimu emiyembe, ffene, amapaapaali, n’ebirala.

Enkozesa y’ebizigo nayo ngitwala nga nsonga nkulu.Simala gakozesa bizigo bye nsanze. Nkozesa ekika ky’ebizigo kimu.

FFIGA:

Eno ensanyusa kuba yeemalirira ate teboola ngoye. Nnyambala empale empanvu, ekiteeteeyi, sikaati n’ebirala.

Ebyokulya nsooka kubyekenneenya simala galya buli kye nsanze. Okusinga nneemalira ku kulya bumbwankimpwanki mpozzi n’okunywa amata okusobola okugukuuma obulungi.

Nakimuli ng’alaga ezimu ku ngoye ze.

Kuno kwengatta okukola dduyiro omulundi gumu buli wiiki. Dduyiro annyamba okubeera ffiiti n’okusala ku buzito.

ENGOYE:

Zino okusinga nnyambala nnyimpi kuba zinnyumira ate ziggyayo bulungi endabika yange naddala amagulu gange kubanga gaakula bulungi. Eby’etteeka erifuga ennyambala ya mmini terinkwatako kuba nnyambala kye ndaba nti kinsanyusa.

Langi ezaaka ze zimu ku zisinga okunnyumira okugeza; ppinki, emmyuufu, kyenvu n’endala.

Engoye nnasalawo kwambala mpya kuba emivumba teginkolera kye njagala. Nzigula okuva ku 50,000/- okudda waggulu. Sirina nnyo kifo kya nkalakalira gye nzigula kasita nsanga olugoye oluba lunsanyusizza.

ENVIIRI:

Zino ze zimu ku bintu bye nsinga okulowoozaako era zintwalira obudde bungi okuyiiya omusono ogusobola onzigyayo n’okunyumira. Olw’okuba nti enviiri kye kitiibwa ky’omukyala, nfuba okulaba nga nzikolako mu ngeri ematiza nsobole okulabika obulungi kuba omuntu ne bw’oyambala engoye ezigula obuwanana ng’enviiri tezikoleddwaako obeera omaze biseera.

Nnettanira nnyo okusiba enviiri eza langi ezisukka mwemu kuba zinnyumira ate ze ziri ku mulembe wadde ng’abakyala abamu bazitya.

Wiivu zinkolera kuba kuba zimpa emirembe. Enviiri nzikyusa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ne nkola omusono omulala oguba ku mulembe.

Enviiri zimmalako okuva ku 80,000/- okudda waggulu okusinziira ku musono.

Okusinga nzikolera ku kizimbe kya Gazaland mu Kampala. 

ENGATTO:

Njagala nnyo okwambala engatto eza fulaati kuba tezinkalubiriza. Ate engeri gyendi muwanvu tekinyuma nnyo kwambala ngatto mpanvu anti mpitirira obuwanvu. 

Emu ku nsawo ze.

Bwe mba ng’enda ku mukolo, nnyambala engatto ennyimpi wabula nga zibikka ebigere. 

Okufaananako n’engoye, engatto nazo nnyambala mpya kubanga zindabisa bulungi ate nga ziri ku mulembe. Nzigula okuva ku 25,000/- okudda waggulu.

ENSAWO:

Zino nzikwata okusinziira ku lugoye lwe nnyambadde n’omukolo gwe ng’endako. Ensawo nkwata empya n’enkwadde  era nzigula okuva ku 50,000/- okweyongerayo.

ENJALA:

Okufaananako n’ebintu ebirala, enjala nzifaako nnyo kuba zikola kinene ku ndabika yange. Zino nzikolako mu ngeri ey’enjawulo nsobole okulabika obulungi n’okwaka. Okuzikuuma nga zirabika bulungi nzisiiga langi ey’enjawulo okusinziira ku lugoye lwe ng’enda okwambala n’omukolo.

Nzigula wakati wa 30,000/- ne 50,000/-.

Nneewala ebizigo ebyonoona olususu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...