TOP

Langi ezaaka zirimu ekyama

Added 14th June 2014

NAIRA Ali y’omu ku bayimbi abapya abaleese amaanyi. Oluyimba lwe Tulo tulo, nkusaba tontwala….. lukutteyo nnyo ng’enjogera y’ennaku zino. Ku kyalo e Masanafu gy’abeera bamutijjisa kubanga endabika ye ekuba bangi.



NAIRA Ali  y’omu ku bayimbi abapya abaleese amaanyi. Oluyimba lwe Tulo tulo, nkusaba tontwala….. lukutteyo nnyo ng’enjogera y’ennaku zino. Ku kyalo e Masanafu gy’abeera bamutijjisa kubanga endabika ye ekuba bangi. 

Yannyonnyodde RONNIE MARK KIYINGI ebimukuumira ku mulembe;

FFIGA:

Bw’oba onsuubira okuzannyira mu kigambo ffiga, awo weerimbye, kuba kintu kikulu ekinkuumidde ku mmaapu.

Ffiga erina amaanyi agasika amaaso okukutunuulira n’okuleeta obwagazi. 

Ekyama kya ffiga kiri mu kiwato, kati gwe atayagala kulaga nsalosalo za kiwato kyo oli mu buzibu kubanga ffiga obeera togiwadde mwagaanya. Okugikuuma nkola dduyiro okukuuma omubiri nga guli wamu.

ENGOYE:

Eno ensonga nkimanyi nti eyogera era kyenva ngiteekamu amaanyi. Buli mwezi engoye zimmalako 100, 000/-. Ekirala njagala nnyo okukwatagana bye nnyambadde ne nvaayo bulungi.

Naila Ali ng’alaga emisono gye.

OBUKOMO:

Omukyala ow’omulembe tekyandibadde kirungi kuleka emikono gyo nga myereere. Nnyambala obukomo mu langi ez’enjawulo. Waliwo n’ebimuli ebyambalwa ku mikono, bino nabyo mbyettanira.

EBY’OMU BULAGO:

Nnyambala emikuufu egitemagana mu langi ezikwatagana n’olugoye. Ekirala, oluusi mu bulago nsibamu  akatambaala akalimu langi ezaaka ne kakola ng’ettaayi.

Nneeyoteza okukuuma olususu

Buli lunaku olusooka mu wiiki nfuna bbaketi enfunda ne njiwamu amazzi agookya. Mpunzikamu omutwe oba ffeesi nga nneebisseeko tawulo. Omukka ogwo gulina engeri gye guyingira mu lususu ne guzibukula obutuli bwonna. 

Olususu olunyirira. Ku ddyo, ng’alaga omusono gw’enviiri.

Bw’oba olina olususu olukalu osobola okufuna lotion oba ebizigo by’olususu n’osooka obyesiiga nga tonneeyoteza. Wabula kino sikikola mirundi mingi mu wiiki kubanga ate kiyinza okulukaza ennyo ne lwonooneka.

Omusono gwa ‘braids’ gunkolera

Enviiri zange zoogeza bangi obwama olwa dizayizi gye nnateekamu. Ezisinga nzisalako olwo ne ndekako wakati wokka we nnasiba emiguwa gya ‘braids’ gye nkolamu sitayiro etuukira ku musono gwe nnyambadde.

 

Langi ezaaka zirimu ekyama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.