TOP

Ffeesi nginaaba emirundi ena olunaku

Added 8th November 2014

AISHAH Nalubega y’omu ku bawala abasinga okukyusa ensingo z’abasajja b’e Kabalagala gy’abeera.

AISHAH Nalubega y’omu ku bawala abasinga okukyusa ensingo z’abasajja b’e Kabalagala gy’abeera. Abasajja bamuwaana nga bw’alina olususu olunyirira era amanyi okwambala ebimunyumira. RONNIE MARK KIYINGI yamutuukiridde n’amunnyonnyola engeri gy’akikola okubeera n’olususu olulinga olwa bbebi.

“Abantu abamu bwe bansanga mu kkubo bampaana nti nnina olususu olulungi, kyokka abasinga bakitwala nti bwentyo bwe nnazaalibwa ate abalala nti kirabika omusaayi gwange gwa maanyi.

Wabula ekyama ky’olususu olulungi buba buyonjo. Buli luvannyuma lwa nnaku nnya nkyusa akagoye ka ppiro y’obuliri ssaako okwebaka mu masuuka amayonjo.

Ekintu ekiddugala bwe kigenda ku lususu nfuba okulaba nti nkinaabako amangu ddala kubanga nnakizuula nti obuwuka obubeera mu bicaafu bwonoona olususu. Okukakasa ng’olususu naddala olwa ffeesi yange nti terulina buzibu nnaabamu emirundi ena olunaku. Kino kye kimu ku binnyamba obutafuna mbalabe.

ENGOYE:

Nnettanira obuteeteeyi kuba bulaga ekitiibwa ky’omuwala ow’omulembe. Ekirala bw’oyambala ekiteeteeyi kizibu okukaluubirizibwa okufunirako engatto ezigenderako nga bwe kiba ku byambalo ebirala naddala empale ne sikaati.

ENVIIRI:

Njagala enviiri ezigwa ku mugongo era toyinza kunsanga na nviiri nnyimpi. Enviiri empanvu zindeetera okwekkiririzaamu era buli lwe nzinyeenya mpulira nga nze ndiwo. Ky’ova olaba ntera okusibiramu akaviiri n’ekigendererwa eky’okuzirabisa nga mpanvu.

AMAASO:

Gano nfuba okugalongoosa gasobole okulabika obulungi. Omusana bwe guba mungi nnyambala gaalubindi z’omusana kubanga singa ntambula mu kibuga okumala essaawa emu nga ssigabisse gakoowa ne ndabika bulala.

Nnazuula nti amaaso gakola kinene okuggyayo endabika y’omuntu. Buli lw’otunula ng’akooye olabika ng’oli mukadde okusinga ku myaka gy’olina. 

                    Nalubega ng’alaga omusono ogumunyumira

Omusana omungi gwonoona olususu

SHAKIRA Rashid Mugerwa owa Beatex Parlour e Makindye agamba nti ebintu ebyonoona olususu bingi. Naye ate omusana gwagenda wala kubanga bwe gubeera mungi gunafuya olususu ekivaamu nga lufukuuka. 

“Bw’oba ogenda kutambula mu musana oba okuyimiriramu okumala akaseera, kyandibadde kirungi ne weesiiga ebizigo ebiyingira mu lususu ate nga birina obusobozi okusaanuuka amangu. Waliwo ebizigo ebikwatira ku lususu oluusi ekireetera n’olususu okukalambala kyokka tebiyingira mu lususu munda. Bino bya bulabe nnyo ku lususu kubanga bikuuma ebbugumu n’ekivaamu kutuuyana,” bw’agamba. 

                                          Mugerwa nga alaga ebimu kubizigo ebiyoyoota olususu.

Ayongerako nti ebizigo by’olususu birimu ebika ebikulu bibiri. Waliwo ebikolebwa ne butto oba petulooli omungi, ate ebirala bikolebwa n’amazzi amangi. Kati bw’oba olina olususu olukalu, osaanye wettanire ebyo ebirimu butto oba petulooli omungi kubanga bisaanuuka ng’akasana kayase ku lususu.

Gwe atalina lususu lukalu oba oluliko oluzigozigo olungi,  osaanye wettanire ebizigo ebirimu amazzi amangi kubanga ebya butto bireetera obutuli bw’olususu lwo okuzibikra era ekivaamu kufuna mbalabe mu ffeesi, kubanga olususu luba terusobola kussa bulungi. 

Mugerwa era alabula nti amaduuka agamu ne saluuni batunda ebizigo ebyayitako. Kisaanidde osooke weetegereze oba nga bikyali mu mbeera ekozesebwa. 

Abantu abafuna okusiiyibwa mu ffeesi nabo balina okukebera ebizigo bye beesiiga kubanga ebizigo ebyayitako nabyo bikireeta n’omusana oguyitiridde nagwo gulina engeri gye gukosa olususu.

 

Ffeesi nginaaba emirundi ena olunaku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...