TOP

Buli lwe nnyambala wiigi nzira bupya

Added 9th May 2015

Cathy Akankwasa muyimbi muto abasinga gwe bamanyi nga C5. Ye yayimba ‘Diamond wange’ kw’azzizza ‘Ntwala’. Ekimu ku bimuyambye okwetunda mu bantu kwe kuba nti amanyi okukuuma omutindo mu ndabika.

Cathy Akankwasa muyimbi muto abasinga gwe bamanyi nga C5. Ye yayimba ‘Diamond wange’ kw’azzizza ‘Ntwala’. Ekimu ku bimuyambye okwetunda mu bantu kwe kuba nti amanyi okukuuma omutindo mu ndabika.

Abeera Kawempe era eno Ronnie Mark Kiyingi gye yamusanze n’amunnyonnyola engeri gye yeekuumira ku mulembe.

Obuwangaazi bw’ekintu kye kimu ku bye nzisaako essira bwe mbaako kye ngula. Olugoye ne bwe luba lulungi naye nga ndaba si luwangaazi nduleka.

Waliwo abakyala abamu abagamba nti kasita ogula engatto ekutuka amangu kikuwaliriza okugula endala. Naye nze mmanyi nti ekiwangaala kikuyamba okukekkereza ssente.

Wano ng’alaga langi ez’enjawulo z’ayambadde

OLUSUSU:
Olususu bw’oluleka omusana ne gulwakako nga tekuli wadde ebizigo kiruleetera okukala ne lufuukuuka. Nze buli bwemba ng’enda okutambula naddala mu biseera eby’omusana, nfuba okulaba nga nneesiiga ebizigo kubanga buli lwe bisaanuuka kireetera olususu okuweweera.

Bw’oba okozesa meekaapu fuba okulaba ng’oteekako alimu ekirungo ekisaanuuka okukola entuuyo kubanga oyo atasaanuuka oluusi aleetera olususu okukalambala.

FFIGA:
Omuntu ne bw’aba mutono naye ng’alina olubuto olunene alabika bulala. Ffiga ekolebwa ebitundu by’omubiri okuli; akabina, amagulu, amabeere, n’ebirala. Naye ate olubuto lusalawo kinene ku ndabika y’omubiri gwo. Buli lw’olukuuma nga lutono olabika bulungi buli akulaba ajja kukuwaana olw’okuba ne ffiga ennungi.

Nze okugoba olubuto, buli ku makya nneebaka wansi ne nsitula ekitundu kya waggulu (sit ups). Kino kiyamba okusala olubuto ne nnyongera okulabika obulungi.

Nettanira nnyo engoye ezirimu dizayini ez’enjawulo nga ziri ku mulembe. Ate bwe mba nguze olugoye olwa langi emu, nfuba okulaba nga ndugattako ekirala ekinaayongera okuluggyayo.
Ekirala, guno omulembe gwa kwambala langi esukka mwemu. Era bwe mba nnonda ebyokwambala kino nkifaako nnyo. Kizibu okunsanga nga nnyambadde langi emu okuva waggulu okutuuka wansi, kuba ogwo omulembe gwadibizibwa.

Cathy ng’alaga emisono egimunyumira

WIIGI:
Mpulira nnyo abantu nga boogerera bubi wiigi naye nze sibafaako kubanga zinkolera kye njagala. Nnagula wiigi eziwerako ate nga za njawulo mu ndabika. Kino kinnyamba okuzikyusa nga nsinziira ku bye nnyambadde.
Oluusi bayinza okukukubira essimu ng’olina gy’ogenda okuyimbira naye nga tolina budde bugenda mu saluuni. Awo nteekako wiigi yange ne njaka. Ekirala kye nnazuula ku wiigi zino bwe nzambala nnyongera okulabika obulungi era nzira buto.

Wiigi zirokola obudde - Nantongo
JULIE Nantongo owa Julie Beauty Salon mu Kampala agamba nti abakyala naddala abawala abato bettanidde nnyo wiigi kubanga zanguwa naddala ng’oliko gy’olaga.

Ziyambako mu kukekkereza ssente naddala abatasobola kusasula bisale bya saluuni buli wiiki.

Zigula okuva ku 15,000/- okutuukira ddala ku 1,000,000/- okusinziira ku kika.

Wiigi ebeera nga akaviiri wabula nga kakoleddwa mu ngeri ya nkoofiira, era oyambala nnyambale ng’enkoofiira. Kino kye

kimu ku bisinga okusikiriza abakyala okuzigula ate ekirala zimala ebbanga ddene nga tezinnayonooneka.
lNantongo ayongerako nti omuntu ayagala okwambala wiigi alina ebintu byateekeddwa okumanya nga tannagigula kubanga ekyayinza obutamukolera ky’ayagala.

Okugeza, wiigi enyumira nnyo ku mutwe nga guliko enviiri waakiri entonotono kubanga bw’etuula ku mutwe okutali nviiri esobola okukumalako emirembe ate era tenyuma kuba ekutuulako nnyo ekitalabika bulungi.

Bw’oba waakugyambala, enviiri eziri ku mutwe sooka osibemu ebiswayiri oba obututtwa olyoke oyambalireko wiigi.
 Londa wiigi ng’osinziira ku langi y’olususu lwo. Okugeza omuddugavu weewale langi ya kakobe kubanga eyongera okukuddugaza. Omuddugavu oyinza okulonda erimu ka ‘gold’ n’ebiddugavu oba enzirugavu.

Nantongo ng’alaga wiigi y’amayengo.

Ate omweru langi ya ‘gold’ togyesibaako nnyo kuba ekwongerako n’opeeruuka. Gula kitaka oba enzirugavu ojja kulabika bulungi.

Wiigi y’amayengo okugikuuma olina okugisiigamu ebizigo bya ‘Olive oil’ naye tofuuyiramu sipule kuba eggyamu amayengo.

Wiigi ya Afro osobola okugisiigamu ebizigo oba okufuuyiramu sipule.
lWiigi ya ‘human’, ne ‘situleyiti’ olina okuzisiigamu ebizigo ne sipule zisobole okulabika obulungi, era gikuume nga nnyonjo.

Ggiini tojiteekamu dizayini oba sitayilo gyoyagala kubanga terina kukyuusibwa okuva kweeyo kwebajikolera era buli wojikaka obeera ogyonoona.

Ekiro nga ogenda okwebaka ogyambulako n’ofuna wojitereka nga wayonjo ate nga empewo etuukawo. Kino kijiyamba obutakunyuuka wade okugyako olwooya olususumala. Era nebwoba ogenda kuwuga kirungi n’osooka ogyambulako.

Wiigi ya situleyiti osobola okijikomola okutuusa ku bipimo byoyagala. Gamba nga okujikomola wano mu maaso oba mu kyeenyi.

Olina okujooza buli luvanyuma lwa kiseera ekigere. Kubanga entuuyo n’enfuufu bireetera wiigi okuwunya obubi.
 

Buli lwe nnyambala wiigi nzira bupya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...