TOP

Cutekisi ayaka anyiriza enjala

Added 13th June 2015

JOVIAH Bayiga muyimbi mupya eyayimba ‘Love kyambalo’, ne ‘Tebiba Clear ‘lwe yakoze ne Eighton. Y’omu ku bawala abaaka.

JOVIAH Bayiga muyimbi mupya  eyayimba ‘Love kyambalo’, ne ‘Tebiba Clear ‘lwe yakoze ne Eighton. Y’omu ku bawala abaaka.

Okukuuma omutindo nga yeetuusaako ebiri ku mulembe kye kimu ku bimufudde ow’ettutumu naddala e Kanyanya gy’abeera. Yabuulidde RONNIE MARK KIYINGI engeri gy’akikola okwekuumira ku mutindo. 

Okwetunuulira enkaliriza  nga weekenneenya enkula y’omubiri gwo ssaako okumanya buli kitundu ekikuliko kikuyamba okumanya amaanyi n’obunafu bwo mu ndabika. 

Oyinza obutaba mulungi nnyo gamba nga mu ffeesi naye ate osobola okubaako ekintu ekirala ekirungi ky’olina naye bw’otofaayo  kukinoonyerezaako osigala weekubagiza. Amabeere, enjala, amannyo, n’entumbwe, bye bimu ku ebyo abawala bye batera okubuusa amaaso kyokka nga bisobola okubeeyimirira. 

Mu kifaananyi, Bayiga ng'ayambadde akateeteeyi aka mmini.

AMAASO:

Ebiseera biri eby’edda amaaso gange gaali galabika bubi nga buli kiseera gabeera ng’amalwadde. 

Nnakizuula nti obutafuna tulo tumala kye kimu ku byali byonoona endabika yaago kubanga gaatandika okuzimba wansi ne gaba ng’agaliko obummonde. Kati nfuna obudde obumala okugazibiriza gasobole okuwummulako ekiro, ky’ova olaba nti gakuba abalogo.

ENGOYE:

Nakoowa engoye ezimbikka ennyo kumpi kufaananako ng’agenda mu muzikiti. Engoye nazo ziriko emyaka ky’ova olaba nze sigenda kwambala ngoye ezambalwa abakyala abakulu mu myaka ate nga nkyali kibbebi era kyenva ndaga ku mubiri. 

Wabula bw’oba oyagala okulaga ku mubiri nga nze osaanidde osooke okakase nti langi y’olugoye ekwatagana n’omubiri gwo.

FFIGA:

Ekyama kya ffiga kiri mu kiwato. Fuba okulaba nti oyawula ekiwato kyo era tokkiriza kwambala kintu 

kyonna kikweka nsalosalo za kiwato kyo. Waakiri funa omusipi ogusibe mu kiwato olwo oyawule ffiga eveeyo. Ekirala yambala engatto z’osobola okutambuza obulungi kubanga nakyo kiyamba okuggyayo ffiga.

ENJALA:

Zino enjala zange zireeta n’abalambuzi kubanga  ziwamba amaaso g’abantu ne zibba ‘sho’. Enjala zange nzisiiga langi ezaaka zokka kubanga ziggyayo engalo zange. Kizibu kya kukweka njala naddala ng’oli mu bantu. Kati ky’olina okukola kuzisiiga langi ezirabisa obulungi. 

Ekirungi ekiri ku langi eyaka nti enjala zirabika mangu abakulaba ne bwebaba walako ne bamanya nti ofaayo okwerabirira.

Ng’alaga cutekisi wa langi eyaka.

Cutekisi mmukyusa buli wiiki kuba ssaagala kubeera na cutekisi ng’atandise okusiimuuka.

Langi eya kiragala, bbulu, kyenvu n’endala ezaaka ze nsinga okwettanira.

Cutekisi ayaka anyiriza enjala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....