TOP

Braids' nsiba za miguwa eminene

Added 20th June 2015

Annie Birungi y’omu ku bawala abanyirira abayimbira mu Kream Production. Eddoboozi lye liwoomerera era bw’alinnya ku siteegi abamu tebaagala aveeko. Abawagizi be baamukazaako lya ‘Kaweddemu’ anti lwe luyimba olwamutunda.

Annie Birungi y’omu ku bawala abanyirira abayimbira mu Kream Production. Eddoboozi lye liwoomerera era bw’alinnya ku siteegi abamu tebaagala aveeko. Abawagizi be baamukazaako lya ‘Kaweddemu’ anti lwe luyimba olwamutunda.

Okumanya emisono egiri ku mulembe kye kimu ku bimuyambye okusigala ng’akuba abasajja. RONNIE MARK KIYINGI yamutuukiridde n’amunnyonnyola engeri gy’akikolamu.

Okwepima n’omanya sayizi entuufu gy’oyambala kya mugaso nnyo naddala eri abo abakuuma ffiga.
Waliwo omuntu gw’otuukirira n’omubuuza sayizi y’empale gy’ayambala nga tagimanyi; ekyo kiswaza. Sayizi y’omuntu ekyuka buli luvannyuma lw’ebbanga eggere era kikukakatako okumanya ebipimo by’ekiwato kyo, sayizi y’akaleega, engatto,omusipi, obukomo ne kalonda omulala gw’okozesa.

OLUSUSU:
Oyinza obutaba na mbalabe mu ffeesi naye ng’olususu lwo terunyirira. Obucaafu, okukala, n’omusana omungi bye bimu ku bireetera olususu obutanyirira newankubadde nga temuli mbalabe. Nga tonnanaaba ffeesi sooka onaabe engalo zo zitukule awo olyoke oziyise ku lususu lwa ffeesi okwewala obuwuka obulumba olususu ne bulumalako akanyiriro.

FFIGA:
Ekitundu ku mubiri gwange kye nsinga okuwa ekitiibwa ke kabina kange kubanga nnakizuula nti mu mawanga ga Africa ekikula ky’omukazi kitunda nnyo n’okusinga ffeesi. Ennaku zino abawala abalinawo kye balaga ku nsonga z’akabina babayita ‘German juice’ nga bategeeza nti mubisi mwereere. Olw’okuba nneekakasa mu kikula kyange nfuba okwambala engoye eziggyayo ffiga wamma ne nnyuma. Ffiga okugikuuma n’eteraluka nneewala okulya emmere egezza ennyo.

ENVIIRI:
Buli wiiki nkyusa enviiri naye nfaayo okumanya ebika ebiri ku mulembe. Waliwo oluusi lwe nsiba enviiri naye nga ngezesa bugezesa oba kiyite okuvumbula kyokka ate olumu ne kikwatayo. Ekika kya ‘braids’ kinkolera naye mba njagala okwawunako n’abawala abalala abazettanira. Ky’ova olaba ntera kusiba emiguwa eminene ddala ate nga miwanvu. Omusono guno gunnyamba okukola sitayiro ez’enjawulo olwo ne mba mupya obudde bwonna.

Emiguwa eminene tegyetaaga kulwisaayo

SYLVIA Nalweyiso owa God’s Care Salon ku Mubarak e Lukuli agamba nti omusono gwa ‘braids’ gusibibwa mu ngeri nnyingi, naye ennaku zino emiguwa eminene gyettaniddwa.

Agamba nti emiguwa eminene girabisa bulungi omutwe ate ekirala tomala budde bungi mu saluuni nga bwe kiba ku misono emirala.

Ekiviiri ekika kya ‘Abuja’ kye kisinga okunyumisa ‘braid’ ow’emiguwa eminene kuba aba anyirira ate nga muwanvu ekimala.

Emiguwa eminene gitwala ebiviiri bingi era omutwe ogumu guyinza okumalawo ebiviiri bitaano(5) n’okusingawo.

Omusibi asasulwa okuva ku 30,000/- okudda waggulu ate ebiviiri bigula 2,500/- buli kamu. Emiguwa eminene ginyuma miwanvu ekimala naddala eri abo abagireka ne giyiika ku mutwe ne ku bibegaabega. 

Bw’oba toyagala gireebeete nnyo olina kugikwatira enkoto.

Osobola okukolamu sitayiro ez’enjawulo ng’osinziira ku kikula ky’omutwe gwo oba by’oyambadde. 

Emiguwa eminene gimalayo ebbanga ttono bw’ogeraageranya n’emiguwa emitono. Ekinene ennyo wiiki bbiri obeera osumulula emiguwa eminene kyokka ng’eyasiba emitono aba akyazikuumiddeyo ate nga zikyalabika bulungi.

Ekirala omusono guno gwetaaga agusiba ng’agutegeera. Bw’osibisa omuyiga emiguwa gijja kumulema okunyweza ekigireetera okuvaayo amangu ennyo.

Nalweyiso ng’akola ku kasitoma

Ekirala bw’oba waakusiba musono guno weewale okutabika langi ez’enjawulo kubanga emiguwa eminene ginyuma osibye langi ekika kimu. Langi ennyingi zirabisa omutwe ng’ebitaala bya tulafiki.

Ekirala abakyala abasussizza emyaka 45 omusono guno togwesibaako. Emiguwa gino eminene nga muwanvu gisinga kunyumira bawala bato.

 

Braids’ nsiba za miguwa eminene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...