TOP

Woyiro w'abaana y'akuuma olususu lwange

Added 27th June 2015

WINFRED Nabaweesi abeera Bulenga, azaalibwa Kiwangala Masaka. Y’omu ku bayimbi abato abali mu uto mu Golden Band. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku bintu eby’enjawulo by’akola okulabika obulungi.

WINFRED Nabaweesi abeera Bulenga, azaalibwa Kiwangala Masaka. Y’omu ku bayimbi abato abali mu uto mu Golden Band. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku bintu eby’enjawulo by’akola okulabika obulungi.

Olususu:
Luno ndwagala nnyo era nfuba okulufaako. Okulukuuma nga lulabika bulungi ekyama nnakizuula mu kwesiiga woyiro naddala akolebwa nga wa nsusu za babbebi. Woyiro ono agonza n’okunyiriza olususu ne lufaanana olwa bbebi.
Naye nga sinnamwesiiga, nsooka kukakasa nti olususu ndunaabye ne lutukula bulungi.
Ndunaaba n’amazzi agabuguma ne nzigyako obucaafu bwonna. Ekirala nneewala ebinneeraliikiriza kuba nakyo kyonoona olususu. Ng’oggyeeko okwesiiga woyiro, buli lwe mba nfuluma nga ndiko gyendaga, sigwa kwesiiga pawuda, lipusitiiki ne kalonda omulala andabisa nga ndi wa mulembe.

Ffiga:
Sayizi yange tetiisa kuba buli ekigiriko kyemala okufaananako nga ba mmodo. Okugeza akabina kange ka kigero, amabeere kyekyo, entumbwe y’emnala ne byonna ebindiko.
Okugikuuma nneewala okulya butto n’ebyamasavu kuba bireetera omugejjo.

Engoye:
Zino nfuba okulaba nga nnyambala eziriko nsobole okutambula n’omulembe. Oluusi ngula matiiriyo ne ntungisa omusono gwe njagala. Engoye nnyambala okuva ku 70,000/- okudda waggulu.
Nsinga kwambala biteeteeyi bimpi nga binkwata omubiri kuba bwe mbyambala biggyayo ffiga yange ate nga zimpa emirembe.

Engatto:
Zino nzambala okusinziira ku lugoye n’ekifo. Okusinga nnyambala za kakondo kubanga engeri gyendi mumpi bwe nzambala zinnyongera ku hayiti.
Engatto nnyambala emppya n’enkadde kasita ziba nga zinnyumira. Nzigula okuva ku 50,000/- okudda waggulu.

Enviiri:
Kino kye kimu ku bintu ebisinga okukwata omubabiro era kye nsinga okulowozaako.Nzikola okusinziira ku lugoye lwe ng’enda okwambala, omukolo n’ebirala.
Engeri gye nnina ekyenyi ekiwanvu, nkozesa nnyo wiivu kuba nsobola okugyeyambisa okukola buli musono gwe njagadde omuli n’okukendeeza ekyenyi kyange ng’oggyeeko okunnyumira.
Akaviiri ka ‘human’ ne ‘brazillian’ gye gimu ku misono egisinga okunyumira.

Oil
Woyiro kye kimu ku bintu ebisinga okozesebwa abakyala mu ngeri y’okukuuma olusussu lwaabwe nga lunyirira ate nga lulabika bulungi ng’ogyeeko ebizigo.

Fiona Namawejje eyakazibwaako erya Aunt Lususu akola ku by’olusussu ku kizimbe kya Nakasero Complex ekisangibwa mu Kikuubo Kampala,agamba nti woyiiro wa alimu ebika eby’enjawulo era alina amateeka agamufuga agalina okugobererwa.

Waliwo woyiro akolebwa ng’akola kubagala okweyerusa.Ow’engeri eno akolebwa mu birungo ebitali bimu naddala ebibala omuli ekya Carroti,Ova kado,amapapaali n’ebilala.Ono bwomwesiiga ku mubiri akuletera okubuguma ku lusussu kobeere ng’abadde omwesiiga mu ngalo owulira nga zibuguma.

Ekika kya woyoro ekimu kikolebwa nga tekyerusa naye nga kiyamba okukuuma olusussu nga lugonvu ate nga luto okufananako nga bwolaba olw’omwana omuto.Ono akolebwa nga taliimu birungo bingi okwawukana ku bika ebilala.Okusinga aberamu Q kamba,ekigagi n’ebilala

.Bwomwesiiga abeera tabugumba olw’ensonga nti akusinga akozesebwa ku baana bato.Ono bangi bamwetanira olw’okubeera nti ayamba okukuuma olusussu lwaabwe nga lugonvu,luweweevu,ate nga lunyirira okufananako n’olwomwana omuto.

 

Ate era waliwo woyiro akolebwa ng’akola ku balina enkanyanya omuli abakuliridde mu myaka.Ono ebirungo ebimuberamu bibeera tebyawukana nnyo ku w’abaana abato.Aberamu ebibala omuli Enkenene,Q Kamba saako n’ekigagi.

Wabula woyiro alina amateeka agamufuga agalina okugebererwa okusobola okukola obulungi.Okugeza woyiro akola ku kweyerusa ,olina okumwesiiga mungeri eyefananyirizaako ey’okukola masaagi ku mubiri asobole okuyingira mu mubiri.Kino bwoyakikola kisobola okuvirako ebitundu by’omubiri

Woyiro w’abaana y’akuuma olususu lwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....