TOP

Okuzimba ennyumba kulinga kuzaala mwana

Added 4th February 2017

KITUUFU okooye obupangisa olwa landiroodi okukukonkonanga n’okukuvuma olutatadde olw’okulwisaayo ssente ze. Kyokka wadde ssente ozirina, si kirungi kupapa kiyitiridde ng’ozimba kuba kikyayinza okukosa obuwangaazi bw’ennyumba gy’ozimbidde ekiseera.

 Okusiiga langi ku nnyumba ng’eno, olina okukakasa nti ebisenge bikaze bulungi.

Okusiiga langi ku nnyumba ng’eno, olina okukakasa nti ebisenge bikaze bulungi.

Elvis Ssenkeeto, yinginiya wa KAM Builders and Contractors agamba nti omuntu okuva lw’asalawo okutandika okuzimba ennyumba n’okugimaliriza kyandibadde kimutwalira emyezi egitakka wansi wa musanvu nga buli kimu kiwedde.

Wakati w’emyezi esatu ku ena, gimala bulungi okufuniramu pulaani y’enju, okugoba ku kyapa ettaka bwe liba lya mayiro wamu n’okuguliramu ebyetaagisa mu kuzimba ng’omaze n’okubiteeka mu kifo ky’ogenda okuzimbamu.

Omulimu gw’okuzimba ennyumba y’amaka erimu ekisenge ky’abakulu, ebisenge by’abaana bibiri, eddiiro omuliirwa n’omutuulwa, effumbiro n’ebinaabiro byandibadde biggweera mu myezi egitakka wansi w’esatu.

Ebizimbisibwa bwe bitabeerawo osobola okwongerayo ebbanga mw’ozimbira. Senkeeto yagasseeko nti kyokka ennyumba bw’ebeera ya kalina, esobola okutwala emyezi mwenda, naddala nga tewali bintu bingi ebiyingiddemu eby’okukyusaamu nga bazimba.

“Okuzimba kulinga kuzaala mwana kubanga ne bw’obeera n’obuwumbi bwa ssente, tosobola kuzaala mwana mulungi atawezezza myezi mwenda’’.

Ne mu kuzimba kimanye nti kwetaagisaamu ekiseera ennyumba esobole okukala n’okuwangaala, wadde obusobozi oyinza okuba ng’obulina obugimala mu mwezi gumu”, Senkeeto bwe yagambye.

BY’OTALINA KUBUUSA MAASO OLW’OBWANGU

  • Ennyumba yonna ey’obuwangaazi yeetaaga okuba ng’etudde ku musingi omugumu ddala kubanga kino si kye kintu ky’opapirako. Kyetaagisaamu ekiseera okwekenneenya ekika ky’ettaka era ssinga kibeera kizuuliddwa nga lya musenyu oba ebbumba olina okusiba omusingi ne bbiimu wansi.
  • Bwe kituuka mu kusitula ebisenge, obwangu busobola okukozesebwa naddala nga mweyambisizza ebipimo ebituufu era nga byeyambisiddwa abakugu mu by’okuzimba. Ebipimo bwe bitabeera birungi, kyangu ekisenge okuggyamu enjatika. Tewali nsonga lwaki ozimba kkoosi 20 mu lunaku lumu ng’okimanyi nti wamaze gatabula seminti.
  • Bwe kituuka mu kukomerera osaanidde okugoberera pulaani y’ennyumba gye mwafulumya nga tonnaba kuzimba. Leka kumala gakyusa pulaani olw’okuba olina akasolya akakunyumidde ke walabye. Emiti si kirungi kulwa waggulu kiseera kiwanvu nga tonnaba kusereka. Embeera y’obudde kyangu okukosa emiti, era bwe giba nga tegyali mikalu bulungi gisobola n’okukyama.
  • Bw’obeera ng’ozimba nnyumba ya kalina, waliwo ebintu by’otalina kwekkiriranya ng’obikola. Bw’omala okuyiwa siraabu olina okugirinda n’ekala bulungi. Omutindo gw’ebizimbisibwa awamu n’obuwangaazi bwabyo, tolina kubizannyiramu ng’olowooza nti okekkereza. Bw’ogezaako okukekkereza ekimu ku byo, kimanye nti ekizimbe okikosa.
  • Mu mateeka okuyiwa siraabu n’okukala obulungi kitwala ennaku 21. Kyokka zisobola obutawera ne mweyongerayo okuzimba ssinga obeera weeyambisa abakugu nga be bakuwabudde nga bwe kitakyali kya bulabe. Bwe kiba kisoboka, wandibadde ofuna omukugu ow’enjawulo n’ayita mu bye bazimba nga bw’akakasa nti tebirina bulabe ku buwangaazi bw’ennyumba.
  • Okunyiriza ennyumba. Kino kye kimu ku bintu ebitalina kupapirwa ku nnyumba, kuba kwetaagisa obwegendereza. Azimba bwonaamuteeka ku puleesa tajja kukukolera mulimu mulungi. Ne bwe kibeera kyetaagisa okuyisa mu budde bwe wali oyagadde okumaliramu, wandibadde okikkiriza kuba guno omutendera gwe guggyayo obunyirivu n’ekitiibwa ky’ennyumba ye.
  • Ying. Moses Mugagga owa 3M Design Construction Company yategeezezza nti seminti alina ekiseera ky’alina okutwala okukwatagana obulungi n’ebirungo ebirala. Ekiseera ekigambibwa nti abeera akwatidde ddala bulungi zibeera ennaku 28. Yawabudde nti omuntu okuzimba ennyumba n’agimaliriza bulungi yonna ng’amaze okugiyooyoota mu bbanga eritaweza myezi ebiri, kibeera kiteeka obuwangaazi bw’ennyumba mu lusuubo.

BY’OLINA OKUSINZIIRAKO OKUMANYA OBUDDE ENNYUMBA BW’ENAAMALA

  • Okubaawo kwa ssente. Azimba ssinga abeera ne ssente, ebintu bingi byanguwa kuba ayanguyirwa okufuna pulaani y’ennyumba n’okukola ku miziziko gy’ebigwa bitalaze n’ebirala. Kyokka atalina ssente, abeera alina okusooka okuyimiriza omulimu okumala ekiseera n’alyoka addamu okwongerako.
  • Okulambula ennyumba: Abantu abasinga bakozesa bazimbi oba abooluganda. Kino si kibi, kyokka babeera balungi mu kukuuma ebintu obutanyagibwa, nga tebafuddeeyo ku buwangaazi kubanga tebaabisomerera era tebamanya wa awali obuzibu.
  • Akasoobo mu bakozi ba ofiisi: Oluusi omuntu ayinza okubeera ne ssente kyokka ne kimutwalira ekiseera ekiwanvu okukakasa pulaani y’ennyumba wadde nga buli kimu abeera akirina. Waliwo n’okusumbuyibwa mu bakuwa ebikozesebwa oba abazimbi obutabafuna mu budde woobeetaagira.
  • Okulwawo okusasula: Ekimu ku kisiba ennyumba kwe kulwawo okusasula abakozi, anti abaali bateekamu amaanyi batandika okutuusa oluwalo. Okulinnya kw’ebintu awamu n’obutawuliriza magezi ga bakugu nakyo kireeta obuzibu kuba ensobi nnyingi zikolebwa.
  • Siraabu y’ennyumba eya kalina mu mateeka erina okumala ennaku 28 okuba ng’enywedde bulungi. Kyokka omukugu ayinza okukuwabula ne batandika okuzimba ekitundu ekiddako nga tezinnawera naddala ng’amaze okukyekenneenya nga tekirina bulabe.
  • Okusiiga langi ku nnyumba: Kirungi okukikola nga wayiseewo ennaku 14 okuva ng’omaze okukuba pulasita ku bisenge. Bwoyanguyiriza ennyo esobola obutanywerako oba n’egenda ng’evaako mpola.
  • Enkula y’ennyumba ezimbibwa. Waliwo ennyumba gy’osanga ng’erimu obungodeera obungi okuviira ddala mu musingi. Waliwo n’emisono egitwala obudde nga girimu okwetooloola era nga girina okukwatibwa empola ennyumba okuguma n’okulabika obulungi.

EBIKULU EBIRALA MU KUZIMBA

  1. Faayo okulambula bye bazimba n’okusisinkana abazimbi, kikuyambe okumanya ensobi ezimu nga bukyali muzisalire amagezi.
  2. Weewale okumala galonderera bazimbi olw’okuba bakusabye ssente ntono. Funa omukugu alina obumanyirivu. Bw’oba tomwekakasa mugambe akulage bye yali azimbyeko. Bw’obeera ng’okozesezza kkampuni eyeewandiisa mu mateeka, oyinza n’okubawawaabira nga bakoze ensobi.
  3. Funa omukubi wa pulaani akubalire ssente ezeetaagisa ennyumba okuggwa. Kino kikuyamba okumanya ssente z’olina ne we zisobola okukutuusa. Bw’oba tomalaako osobola okukyusaamu. Ssinga omukugu akuwabula ku kika ky’ebintu eby’okukozesa, by’oba ogula. Ojja kwagala okukekkereza ate ofiirwe ekinene.
  4. Abantu abamu balina ekikwate nga bwe basoma ku kasawo ka seminti nga bawandiseeko nti katabula obusawo bw’omusenyu busatu, balowooza nti balina okutabula eggaali ssatu. Eggaali ezimu zibeera nnene n’okusinga akasawo ka seminti. Olina okufuna ekigero ekyenkana akasawo ka seminti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...