TOP

Valentayini lwa kulaga mukwano eri abalala

Added 13th February 2017

PAMELA Musiimenta abeera Ntebe mu Kitooro. Musuubuzi, atimba ku mikolo, asiba abagole, muwandiisi wa bitabo, akola obulango ku ttivvi kw’agatta okusomesa eby’okwewunda.

PAMELA Musiimenta abeera Ntebe mu Kitooro. Musuubuzi, atimba ku mikolo, asiba abagole, muwandiisi wa bitabo, akola obulango ku ttivvi kw’agatta okusomesa eby’okwewunda.

Valentayini ekubye kkoodi erina amakulu gy’oli?

Olunaku olwo si lwa bulijjo gyendi kubanga lutegeeza kugabana mukwano eri abantu be nfaako mu bulamu bwange, omuli abo be nkola nabo, bazadde bange n’emikwano wabula si na mwagalwa wange ow’omunda ng’abamu bwe bakitwala.

Ku mulundi guno omwagalwa wo omutegedde ki mu mwezi guno ogw’omukwano?

Ebyo mbadde nsaba tubireke kubanga mu kiseera kino sirina muntu gwe ndaba.

Osuubira kumalako otya olunaku luno?

Olw’ensonga nti sirina muntu mu kiseera kino tekitegeeza nti sirina bantu banfaako era nsuubira nti nnyinza okumalako obudde ne mikwano gyange nsuubira n’okuntonera ebirabo eby’enjawulo.

Kale ssinga obadde n’omwagalwa wo wandibadde omusuubiramu ki eky’enjawulo ku valentayini eno?

Nandimusuubiddemu okumpa omukwano ogw’enjawulo engeri olunaku gye luli lwa njawulo.

Ani yakuyigiriza okuba omukakaalukanyi?

Nakula njagala nnyo okubeera nga neemaliridde ate ssaagala kusabiriza kyenva nfuba okutega ssente mu makubo ag’enjawulo. Natandika okukola emirimu gy’emikono nga nkyasoma mu yunivasite.

Ogabanya otya obudde buli mulimu n’ogutuukiriza?

Buli mulimu gulina obudde mwe ngukoleramu wadde ng’olumu bikwatagana. Nnina bannange bwe tukwataganya emirimu gino ne tugituukiriza.

Olwo ofuna ddi obudde obuwummula?

Emirimu egisinga ngikola ku wiikendi naddala egikwatagana n’ebyemikolo. Ennaku endala mbeera ku dduuka lyange. Wabula sitera kufuna budde buwummula naye ntandise okulowooza okuwummulanga buli Mmande.

Biki ebikufuula ow’enjawulo ku bakyala abalala?

Ndi mukyala mukakaalukanyi ate njagala nnyo okwemalirira ng’omukyala wabula ate eky’okukola ennyo tekinzigyako kulabika bulungi.

Biki by’okola ebikuuma olususu nga lunyirira?

Neewala situleesi ate ‘makeup’ gwe neesiiga ku lususu mwegendereza kubanga ebicupuli bingi. Ebiseera ebisinga mutumya okuva e Bulaaya ne neesiiga bye neekakasa.

Kika ki ekya ‘makeup’ gwe weesiiga?

Nkozesa nnyo ‘foundation’ ne pawuda wa ‘silk’ ne ‘mac original’.

Osinga kwettanira misono ki egy’engoye?

Ntera nnyo okwambala jjiini mpozzi n’ebiteeteeyi kuba emirimu gye nkola ginneetaagisa okutambula nnyo n’okukola ennyo.

Engoye z’oyambala ozironda otya?

Kisinziira ku kifo we ηηenda n’olugoye lwe nnyambala. Okugeza bwemba ηηenda ku mulimu ntera kwambala biteeteeyi.

Osinga kwettanira kwabala langi ki?

Nsinga kwambala langi ya maruuni n’emmyuufu.

Weekuba kawoowo ki?

Neekuba Thierry Mugler Pleasures.

Biki ebitayinza kubula mu nsawo yo?

Essimu yange ey’omu ngalo kuba emirimu gyange egisinga kwe ngitambuliza mpozzi n’akawoowo kange kubanga buli kiseera nnina kuba mupya.

Abakyala obawa magezi ki?

Buli mukyala mmuwa amagezi okukozesa ekitone ky’alina okusobola okugufuula omulimu oguyiza okuvaamu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...