TOP

Aba famire okwambala ebifaanagana kukutte akati

Added 18th February 2017

ENKOLA ya aba famire okwambala ebifaanagana yettaniddwa ensangi zino.

 Yudaaya Lulagala Ntambi n’abaana be nga bambadde ebitengi ebifaanagana.

Yudaaya Lulagala Ntambi n’abaana be nga bambadde ebitengi ebifaanagana.

Bya VICKY NABUKEERA

ENKOLA ya aba famire okwambala ebifaanagana yettaniddwa ensangi zino.

Mu biseera ebyayita enkola eno yali yakazibwako lya ‘maama yampa’ nga kiva ku kya kuba nti omukyala bwe baamuguliranga olugoye ng’ekiwero ekifikkako atungiramu abaana be obuteeteeyi, empale oba essaati.

 

Omukyala ne muwala we mu ngoye ezifaanagana.

 

Enkola eno yayambanga abazadde naddala mu byalo okukekkereza kuba engoye zaabanga za buseere, ate ng’engoye z’emivumba zaali tezinnayala mu ggwanga.

Wabula enkola eno yasanyusanga nnyo abaana kuba yabanga ayambadde ekifaanagana ne nnyina.

Abaagalana mu bifaananagana

 

Ennyambala eno ennaku zino yettaniddwa, era tekikyewuunyisa okusanga aba famire nga bagenda ku mukolo nga bonna bambadde bifaanagana.

Claire Namuddu atunga engoye ng’akolera mu Kampala agamba nti ennyambala eno esinga mu bakyala bafumbo n’abaazaalako wadde nga si bafumbo.

Taata ne muwala we mu bifaanagana

 

Agamba nti engoye ezifaanagana baasooka kuzitunga mu bitengi, wabula kati batunga mu matiiriyo yonna kasitoma gy’aba asiimye, omuli siriki, lineni, ppamba n’endala. Agamba nti omusono guno gwasooka kwettanira bakazi, nga bw’agula olugoye atungirako n’abaana be, wabula mu kiseera kino n’abasajja bagujjumbidde.

Agattako nti ennaku zino ennyambala eno tegendererwamu kukekkereza nga bwe kyali kubanga oluusi weesanga ng’olugoye lwe batunzeemu lwa bbeeyi nnyo era nga basasudde ssente eziwera okubatungira bonna nga famire.

Famire enekanekanye mu ngoye ezifaanagana

 

Namuddu agamba nti okutungira famire ey’abantu 8 kyetaagisa okugula olugoye olubamala n’okutunga mu misono egifaanagana oyinza okusaasaanya 600,000/-.

Agamba nti emirundi egisinga maama ayinza okutunga n’abawala ne batungisa mu musono gwe gumu, ate taata n’atunga omusono ogufaanana abalenzi.

Abettanidde omusono guno bagamba nti ennyambala eno eyongera obumu mu famire kubanga bwe bambala ebifaanagana bawulira nga ddala bali omuntu omu, ate nga kibaleetera n’okwegombebwa abalala.

Ba Lutaaya nga banyumidde mu bifaanagana

 

Oluusi abaagalana nabo bambala engoye ezifaanagana okwongera okunyweza omukwano gwabwe.

Engoye zino zisinga kwambalwa ku bubaga n’embaga. Waliwo n’abazambala nga bagendako ‘awutu’ oba nga bagenda mu ssinzizo.

Ennyambala eno yasooka kwettanirwa mu Nigeria ng’omuzannyi w’Ebinigeria omututumufu Ini Edo ye yasooka okulabikako n’abalongo be nga bambadde ebitengi ebifaanagana.

Omuyimbi Namatovu ne muwala we mu bifaananagana

 

Wano mu Uganda bassereebu omuli Irene Namatovu ne bba Lutaaya, Ba Bobi Wine, Rema Namakula n’abalala balabiddwaako ne famire zaabwe nga bambadde ebifaanagana.

Bobi Wine ne mukyala we nga bali mu bifaanagana

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...