TOP

Weesiige lipusitiiki agendera ku nkula y'emimwa gyo

Added 13th March 2017

ABAWALA bangi ensangi zino beesiiga lipusitiiki n’ebigendererwa ebyenjawulo.

Abamu bamwesiiga basobole okwongera ku ndabika yaabwe, ate abalala bamwesiiga okufaanana bannaabwe kyokka ne batamanya nti oluusi lipusitiiki okukunyumira kiva ku nkula ya mimwa gyo.

1 Ow’emimwa eminene siiga lipusitiiki atali mukwafu nnyo ate nga langi zitangaala. Engeri emimwa gyo gye giba girabika amangu kubanga omuntu kw’atuukiza amaaso, bw’onoogisiiga langi enkwafu gijja kwongera okulabika nga minene. Weesiige langi omuli ppinka ow’amazzi, emmyuukirivu, ate bw’oba weesiiga fuba okulaba nga tasaasaana ku mimwa gyonna.

2 Owemimwa emitono siiga lipusitiiki nga mukwafu nnyo ate omukomole bulungi ng’oyisaako ekkalaamu okulaga emimwa we gikoma. Kino kiyamba emimwa okwongera okugejjamu. Bw’osiigako lipusitiiki atalabika ojja kufaanana atalina ky’asiizeeko. Siiga langi emmyuufu ennyo, kakobe ne ppinka omukwafu.

3 Owemimwa emisongovu ojja kunyuma ssinga langi esukka mwemu omulundi gumu. Bw’osiiga bw’otyo, kirina engeri gye kibuzaabuza ekikula ky’emimwa gyo era abakulaba tebajja kumanya nti misongovu. Okugeza oyinza okusiiga langi emu waggulu ate wansi n’osiigayo bbiri, ng’emu efaanana ne gy’osiize ku mumwa gwa waggulu.

4 Ow’emimwa emigazi siiga kalipusitiiki katono ddala ate nga ka langi ezaaka. Bw’oba osobola genda mu bakugu basooke bakulage langi ezigendera ku mimwa gyo.

 5 Ow’emimwa egirebera, kiba kirungi ne weesiiga lipusitiiki nga mukwafu kyokka nga wamusiize ku mumwa gumu gwokka naddala ogwa wansi. Bw’ogisiiga gyombi gyongera okulebera.

Wabula bwe weesiiga lipusitiiki tokomberera mimwa kuba oluusi aggwaako naddala ebika ebitawangaala.

Ekirala bwe weesiiga lipusitiiki tambula n’akalabirwamu osobole okumukeberako oluvannyuma lw’ekiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...