TOP

Engatto z'akakondo zipaapaaza akabina

Added 28th April 2017

Engatto z'akakondo zipaapaaza akabina

 Omukyala mu ngatto y'akakondo.

Omukyala mu ngatto y'akakondo.

Abakugu bazudde nga akabina  k'omukazi keeyongera okusagala bw’aba ayambadde engatto y’akakondo.

Kino kiyiisa nnyo abasajja endusu. Eri abawala abakyanoonya, kyandibadde kirungi bwe baba bagenda ku bubaga nga balina be baagala okusikiriza bandibadde bambala nnyo engatto bwe zityo. Ate ne bwe batuuka kukabaga  ne bafuba nnyo okwetala, akabina kasagale babalabe.

Mu Bungereza eyo, abawala bwe bakyala ewa baganzi baabwe, ne bwe baba mu nayiti,  bambalirako ngatto za kakondo, ne balyoka batambula okuteekateeka emmeeza ng’omulenzi bw’atunudde, wamma n'agwa amatu. Kuba bw’atunuulira ky’aleese n'afuukira ddala nga bano abayimba nti, '..tteeka ssente w'olaba...!' Weekanga oluusi n'emmere babuuse mbuuke ate ne basooka akaboozi omusajja asobole okuweweerako.

Abakugu bano ab'omu kkampuni y'Abachina eri mu Bungereza eyitibwa  Jimmy Choo - nga baakuguka mu kukola ngatto za bakyala, bazuudde nti n'abo abalina omukwano nga gukyali mupya  kyandibadde kirungi nabo bambalenga engatto z’akakondo. Ate nga ne bwe muba nga mugenzeeko awutu, ggwe omuwala ofube okulaba ng’okulemberamu ye omusajja n'avaako emabega asobole okukulaba bw’opaapaaza akabina, nkulayirira tajja kusigala kye kimu.

We kinyumira ate be bawala abamu abassaamu effujjo nga banyeenya akabina! Bonna ne basajala ng’ennyana! Bambi abasajja abamu kye bava batandika okusala amagezi bave ku bubaga amangu badde awaka. Nga bawulira ekibali mu mpale kitabuse, kyokka ne beekwasa ensongasonga endala ng’okutegeeza bannaabwe nti tebeewulira bulungi; so ng’ekyamazima ekimutengudde y’engeri omukazi gy’anyeenyeezzaamu akabina.

Abakugu bano kye bava balabula nti mu mawanga agalina ennyo obuko, abawala beewaale okwambalanga kakondo nga bagenda okukyala mu bassezaala baabwe. Kubanga nabo bayinza okubayigula ettama.

Noolwekyo, bw’olaba ng’omuwala alina akabina akasagala tosookanga kumutenda nga bwe yakula n’abala, sooka olabe engatto gy'ayambadde, kubanga engatto eyinza okuba nga yeeyongedde okukalabisa ng’akanene naye nga mu butuufu si ndoddo nga bw’olowooza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...