TOP

Empale z'amadaala zettaniddwa abawala

Added 2nd December 2017

Empale z’amadaala zettaniddwa abawala

 Hindu Natalia ng’alaga omusono gwa ‘jump suit’ ey’amadaala.

Hindu Natalia ng’alaga omusono gwa ‘jump suit’ ey’amadaala.

HINDU Natalia ow’omu Kampala agamba nti 2017 tayinza kugumalako nga tayambadde musono guno kubanga gumukola ffi ga era nga gwe gumu ku misono ogumukutte omubabiro ennaku zino.

Omusono gw’empale ezigaziwa wansi ez’abakyala ezitiyitibwa ‘fl ared bell bottom’ zettaniddwa nnyo abawala abatambula n’omulembe.

Empale eno yakolebwa mu dizayini ng’egaziwa nnyo wansi mu magulu era nga wano abamu we basinziira okuziyita ‘fi sh’ naye ng’erinnya lya ‘fl ared bell bottom’. Omusono guno guli mu dizayini omuli empale ne ‘jump suit’ era mu matiiriyo ez’enjawulo omuli; ppamba, nayirooni, spandex, lace n’eya jjiini.

Okusinziira ku Medi Mubiru atunda n’okusuubuza engoye z’abakyala ku Grand Corner wano mu Kampala, omusono guno gwaliwo mu myaka gya 1990 era ng’abawala n’abakyala abatambula n’omulembe ebiseera ebyo bazettanira.

Kyokka engeri omulembe gye gutadiba era omusono guno gukomyewo ku katale. Abamu ku basinze okugwettanira mwe muli omuyimbi Sheebah Kalungi. Mubiru yagambye nti empale zino zigula okuva ku 40,000/- ne 60,000/- okusinziira ku kifo w’ogiguze. Ebirala ebikuumira Hindu ku mulembe mulimu;

ENJALA Olw’okuba eddiini tenzikiriza kusiiga cutekisi ku njala, nfuba okuzikuuma nga nnyonjo era nga zirabika bulungi. Nzikolako tulitimenti buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

FFIGA Eno njeewulira era engoye ntera kwabala eziraga omubiri gwange wabula ng’okugikuuma neewala nnyo okumala galya buli kyensanze ate nnettanira nnyo okunywa amazzi agabuguma.

ENGATTO Buli lwe nnyambala engatto empanvu mpulira nga nnyumye olugoye ne bwemba sambadde lwa bbeeyi. Ekirala engatto empavu zimpa entambula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...