
Ekigagi kiyooyoota enviiri.
Wabula ng’oggyeeko okuvumula endwadde omuli omusujja, ekigagi kirina emigaso emirala mingi, ate nga kyangu ddala okukozesa ssinga obeera okifunye.
Ekimu ku bye kikola mwe muli okuyooyoota enviiri.
Eno y’ensonga lwaki ebizigo by’enviiri bingi ebitundibwa ensangi zino bw’osoma ku kikebe okubeera ebirungo ebiteereddwa mu bizigo bino, ojja kwesanga nga mulimu ekigagi (Aloe Vera).
Era waliwo ne tulitimenti w’enviiri alimu ekirungo ky’ekigagi era ng’akola bulungi.
ENGERI GYE KINYIRIZA ENVIIRI
Bw’osiiga ekigagi mu nviiri zo, kiteekamu ekirungo ekirongoosa olususu lw’omu mutwe okuluwonya situka, so ng’ebirungo bya vitamiini, eminnyo n’olusavusavu, bikuuma enviiri nga mpeweevu ate nga zirabika bulungi.
Ssinga okisiiga wansi ku mirandika gy’enviiri kiziyamba okukula obulungi nga ngumu ate ng’era kiyamba okuzibikira obutuli ku lususu lw’omu mutwe obwandibadde butuuyanya enviiri n’ofuna situka.
Kiyamba enviiri okukula ennyo. Ssinga okisiiga ku mirandira gy’enviiri kiziyamba okukula amangu ate nga zirabika bulungi, kubanga mulimu ekirungo ekigumya enviiri ate ne kizijimusa ne zikulira ku sipiidi eya waggulu.
Kiyamba enviiri obutakutuka ate nga zibeera zitemagana. Kino kibaawo kuba ekigagi bw’okisiiga mu nviiri kizirekamu otuzzi otuziyamba obutakalambala.
ENGERI GY’OKIKOZESAAMU
Funa ekigagi okisalemu wakati. Ojja kulaba amazzi gaakyo nga ganaanuuka ng’eminyira. Osobola okugakolokotako n’ogateeka mu kakopo akatonotono.
Bw’ofuna agawera, ddira enviiri osooke ozaawulemu ebitundu bina ng’okozesa akasanirizo.
Tandika okusiiga emazzi g’ekigagi ng’ova wansi ku mirandira gy’enviiri nga bw’odda waggulu.
Bw’omaliriza ekitundu ekimu, osobola okusibamu ekituttwa.
Bw’omaliriza, teekako akaveera olinde okumala eddakiika 30.
Bwe ziggwaako akaveera kaggyeeko osanirire, ojja kulaba ng’enviiri zo zinyirira.