TOP

Engoye empanvu okusukka amaviivi tezinkolera

Added 15th September 2018

OMUWALA omulungi bw’agattako okwambala ebirungi awo amakulu g’ekigambo kunyirira obeera ogafunye. Merisha Nakanjakko 23, ow’e Mengo nga muyizi ku yunivasite emu mu Kampala bw’omusanga mu kkubo ng’atambula akwerabiza ebizibu by’olina awaka olw’endabika ye n’ennyambala. Yanyumizzaamu ne LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola by’akola ebimukuumira ku mulembe buli sizoni.

 Nakanjakko mu musono gw’olugoye olumunyumira.

Nakanjakko mu musono gw’olugoye olumunyumira.

BWE kituuka mu kwambala obubonero nkukumba bukukumbe kuba nze siva mu kibuga nga nnoonya ebiri ku mulembe.

Obuteeteeyi obumpi nga bulina dizayini eziyisa empewo mu langi enzikivu bunkolera nnyo. Siri muntu wa kwambala biwanvu kuba bimmalako emirembe ate nga bindeeta n’ebbugumu.

Ng’oggyeeko okunkaluubiriza, ebiwanvu tebinnyumira engeri gyendi omuwala omumpi. Engoye empanvu zisinga kunyumira bawanvu. Ekirala nakizuula nti engoye za mmini, zinyumira nnyo abawala abampi nga batonotono nga nze. Engoye ntera kuzigula ku Grand Corner house mu Kampala nga ngula okutandikira ku 60,000/- okudda waggulu.

OLUSUSU

Bw’oyogera ku muwala omulungi nga tosoose kutunula ku lususu lwe oyinza obutamunnyonnyola muntu n’amutegeera. Nakanjakko alina akasusu ng’aka bbebi era bw’omukwatako toyagala kumuta.

Ono agamba nti yazaalibwa nga mulungi era teyeetaaga kweyongera awo waali amala. Ku lususu lwe asiigako kazigo ka baana ke bayita Baby Vaseline era nga kano yava buto nga k’akozesa.

Ayongerako nti zino ‘lotion’ abawala ze basinga okwettanira tazaagala kuba omusana bwe gukwakako otandika okuvaamu akasu, olw’obuwoowo obuzibeeramu.

Akazigo kano akagula 20,000/- mu Kikuubo nga kamutwaliriza ebbanga eriwerako.

ENVIIRI

Obulungi bw’omuwala obusinga buva ku kika ky’enviiri z’asiba.

 

Abantu batenda nnyo obulungi bwange nga basinziira ku nviiri ze mba nsibye. Njagala buwiivu bwa ‘human’ ne ‘braids’ kubanga ebyo tebiva ku mulembe.

Ekirungi kya wiivu ne ‘braids’ teziboola bifo, teziboola ngoye ne ku gomesi zinyumirako ate nga ne ku mikolo gyonna zituuka.

Enviiri zange nzisibira ku Johnson Street mu Kampala nga zino nzisiba okusinziira ku mikolo gyemba nagyo. Nsiba okuva ku 100,000/- okudda waggulu.

FFIGA

Omuwala omulungi ate ng’atambula n’omulembe talina kusuulirira ffi ga ye. Olina okwegendereza ebintu by’olya ne bitagyonoona.

Ensangi zino ffi ga ze baakazaako erya potebo ze ziriko kubanga zino zinyumira engoye.

Omuwala ng’oli mutonotono ate ng’olina n’akabina akanene teri lugoye lw’oyambala n’otonyuma.

Nze ffi ga eyange ngikuumira mu kifo kimu nga ndya emmere ensdaamusaamu, kwe ngatta ovakkedo akola olususu ssaako omubisi ogukamuddwa mu bibala ng’emiyembe, amapaapaali n’ebirala.

ENGATTO

Ntera kwambala engatto z’obukondo obuwanvu, olwo ne ntambula nga nange mpulira nnyumye okukamala.

Waliwo abawala abamu n’ayambala olugoye olw’ebbeeyi kyokka n’ayambalirako obugatto bwa fulaati.

Kino kifaananako okwoza n’oyanika mu ttaka, kuba tosobola kunyuma. Engatto nzigula ku Nana Arcade okuva ku 70,000/ n’okudda waggulu.

EBYOKWEWUNDA

Waliwo abawala abalungi b’otuukako n’osoberwa, nga yenna emimwa gimukaze alinga omulwadde naye ng’ekizibu kiva mu buteefaako.

Nze ku mimwa nsiigako lipusitiiki ekika kya ‘Huda’ nga mmutobese mu langi ez’enjawulo ng’emmyuufu, kakobe ne kipaapaali.

Eby’omu bulago ne ku matu, mbyambala okusinziira ku lugoye lwemba ηηenda okwambala.

Olugoye bweruba lwaka nnyo oba nga luliko amajolobera, siruteekako kintu kirala kuba luba lweyogerera.

Naye waliwo abawala abatakifaako n’atambula mu kkubo ng’ayaka okukamala.

Ekirala sitera kwekuba mekaapu okuggyako nga nnina omukolo gyendaga ne ndyoka nneekuba omusaamusaamu.

ENJALA

Enjala kintu kikulu ku buyonjo bw’omuwala ate ne ku ndabika ye mu bantu. Enjala zino ziyiwayo nnyo abawala nga tebazifuddeeko kuba zo omuntu kyangu kya kuziraba nti si nkoleko.

Ezange nzisiigako cutekisi mu langi eteboola nnyo ngoye ng’emmyuufu n’enzirugavu era ono musiigira mu kibuga wakati ng’ammalako wakati wa 20,000/- ne 30,000/- okusinziira ku kifo we nsiigidde.

ENSAWO

Nettanira bu ‘cross bags’ kubanga bunnyanguyira okukwata ate nga tebuboola ngoye n’ebifo gy’olaga. Buno mbugula mu maduuka agatunda ensawo mu Kampala era nga mbugula okutandikira 80,000/- .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...