TOP

Guno omusono gw'ekiwojjolo tegwambalwa alina ntengereze

Added 1st April 2019

SPICE Diana bwe yabadde ku mukolo ogwategekeddwa okusiima abayimbi ne bannakatemba ogwa Zzina Awards ogwabadde ku Labonita, yayambadde omusono ogwalese abalabi nga bamunyeenyeza mutwe.

Ekiteeteeyi kino kye yayambadde ekyatungiddwa mu ngeri y'ekiwojjolo kyasooka kwambalwa Hennessy Carolina ng'ono mukozi ku ttivvi emu mu Bulaaya.

Ono muganda w'omuyimbi Cardi B. Carolina yali ku mukolo gwa Grammy Awards ezaali ku Staples Center nga February 10, 2019 mu Los Angeles, California.

Ono y'omu ku bassereebu abaayambala langi ya kipaapaali ku mukolo guno.

ENDABIKA YAALWO

Ekiteeteeyi kino kitungibwa nga kimpi ddala, okuggyako emabega awalinga olukira olufaanana ekkooti z'abasajja ekika kya Tuxedo.

Emikono gyakyo gitungibwa nga minene ddala era munda batungiramu sitiifu okugiyamba obutevungavunga engeri gye gitungibwa nga minene, ate mu matiiriyi eteri ngumu nnyo.

Spice Diana yagambye nti yatungisizza ekiteeteeyi kino kubanga atera okwagala okwambala ekintu ekitasuubirwa oba ekitayambalwayambalwa, kwe kusalawo okukitungisa ng'akakasa nti teri muntu mulala ajja kukyambala kubanga tekyambalwa batiitiizi oba abalina entengereze.

Ekiteeteeyi kino kyatungiddwa Dyna Vence Ruvuza ng'ono mutunzi wa misono wa DynaVence Couture esangibwa ku City Complex, Luwum Street.

Yagambye nti Spice Diana ye yamusaba okukimutungira era yakitunga kuva kw'ekyo Carilona kye yayambala.

"Nagatta obwongo okusobola okulaba nga nzigyayo ekiteeteeyi kino okusinziira ku ngeri gye nnali nkirabamu oba enkula yaakyo.

Era olwamala okukikolako ne ndyoka nteekako amapeesa akyambadde g'alina okusiba kisobole okunywera ku mubiri.

Okutunga ekiteeteeyi kino nakozesa matiiriyo ya ‘Silk Charmeuse" era nga matiiriyo eno teseerera omuntu bw'abeera agyambadde wabula nga munda talina kantu konna ke yateekamu kyova olaba Spice bwe yali akyambadde yali talina buzibu kubanga matiiriyo teseerera ku mubiri.

Okusinziira ku Marvin Kabunga Marvin (Mavo Kampala) ng'ono ayambaza abakyala wamu n'abaami, olugoye luno luyitibwa "Vogue".

Ekiteeteeyi kino osobola okukyambala ng'omanyi nti wasibye enviiri ezeeta nga tezigenda kubikka dizayini ya lugoye luno oba bwe zibeera nga zikugwako osobola okuziddaabiriza mu ngeri ey'enjawulo ne zibeera wamu.

Ekiteeteeyi kino kinyumirako engatto y'akakondo akawanvu kubanga ekuwanika bulungi, dizayini yaalwo n'esobola okuvaayo obulungi.

ANI AKYAMBALA

Ekiteeteeyi kino kisosola mu myaka, anti omuntu akuze tasobola kukyambala olw'engeri gye kitungibwamu.

Bw'oba otya okulaga ebitundu by'omubiri omuli ebisambi n'entumbwe, kino kyesonyiwe. Ky'ova olaba kyambalwa bassereebu kubanga tebalina ntengereze mu nsonga zino.

Noolwekyo ggwe omuntu waabulijjo bw'oba waakulwambala oteekeddwa okusooka okweteesa.

Wabula osobola okwambaliramu ‘body stockings' naddala mu langi enzirigavu oba ez'ebimuli, ojja kulabika bulungi.

Ekiteeteeyi kino kyambalibwa omuntu nga alina omukolo gw'emisono gwagendako oba ng'agenda okulya kaasi, naddala ng'ali n'abantu abatamukwasa nsonyi.

Dyna Vence agamba olugoye luno lutwala obudde okusobola okuluggyayo wamu n'okulukomola obulungi luleme kufa. Luno lwamalawo 800,000/-.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...