TOP

By'olina okumanya ku wiigi ne wiivu eza langi

Added 5th August 2019

OMUSONO gwa wiivu ne wiigi eza langi gukutte bangi omubabiro. Gye buvuddeko, zaasibwanga bassereebu bokka era ng’abakulaba ng’osibye enviiri eza langi abamu bakwewuunya, kuba kyatwalibwanga nti za bayaaye.

Wabula ennaku zino bino byadiba. Abakyala n'abawala basiba wiigi ne wiivu mu langi ez'enjawulo ne banyuma. Era waliwo n'abakitwala nti omukazi oba omuwala asiba wiivu enzirugavu nga talina ka langi kalala k'agasseemu tamanyi biri ku mulembe.

Abamu abettanira wiivu ne wiigi eza langi bagamba nti zikola kinene ku kunyuma, era omukyala oba omuwala bw'agisiba oba okugyambala, ne bw'eteekuba nnyo meekaapu, ayaka, so nga bwe kiba ku ya langi enzirugavu, aba yeetaaga ebirala bingi ebimuggyayo.

Irene Tunde omukugu mu by'enviiri ng'akolera Wandegeya agamba nti nga tonnasiba nviiri za langi, kirungi osooke omanye langi egendera ku lususu lwo.

Si kirungi kulaba asibye kaviiri akaaka ng'anyumye naawe n'osalawo okukagula, kayinza obutakukolera. Kirungi osooke weebuuze ku mukugu mu by'enviiri akuwabule ku langi eneekunyumira.

Ekirala, buli lw'osiba enviiri eza langi oteekeddwa okwambala obulungi buli w'oba olaga kubanga jjukira nti abakulaba baba bangi engeri enviiri gye zibeera ez'enjawulo nga zirabika mangu.

Bw'oba mweru osobola okusiba oba okwambala wiigi ya ppinki, emmyuufu, kivuuvu ng'atabikiddwaamu langi endala ng'enzirugavu, zaabu n'enjeru ejja kukunyumira. Wabula bw'oba okola mu ofi isi, naye ng'owulira oyagala wiivu oba wiigi eza langi, weewale okusiba empanvu etuuka ku mugongo. Siba akampi nga mu musono gwa ‘Bob' oba ‘Nubian style', ojja kulabika bulungi.

Ow'olususu oluddugavu, langi omuli maluuni, kikuusikuusi, kakobe (9/50) zijja kukunyumira, naddala ng'oyambaliddeko ebikunyumira, ssaako meekaapu akugenderako.

Ow'akatakketakke tatera kuboola langi, ekitegeeza nti osobola okusiba langi yonna ebeera ekusanyusizza. Wabula olina okwekkaanya omusono gw'osiba okukakasa nga gukwatagana n'enkula y'ekyenyi kyo n'omutwe.

Hannah K nnannyini Hannah K beauty saloon mu Kampala agamba nti bw'osiba wiigi oba wiivu kirungi ogendeko mu saluuni oluvannyuma lw'ebbanga eggere bagiddaabirize. Basobola okugyozaamu n'okuteekamu tulitimenti. Kino kikola nnyo ku wiivu ne wiigi eza ‘human' ezitafa muliro n'amazzi.

Agattako nti bw'oba tosibye ka ‘human' ng'oggyeeko okukasiigamu ebizigo okukanyiriza n'okukuuma olususu lw'oku mutwe nga luweweera bulungi, si kirungi kaviiri kika kino kukamazaayo bbanga ddene ku banga kayinza okutandika okuwunya.

Ekirala bw'ogenda mu saluuni bajja kukumwa ekyenyi n'okukusala akasige oyongere okulabika obulungi, era ne wiivu gy'olaba ng'ekaddiye ojja kulaba ng'ezzeewo erabika bulungi, otwalirizeeyo ebbanga.

Ng'oggyeeko wiivu ne wiigi eza langi, osobola n'okusiba emiguwa (braids) egya langi era n'olabika bulungi, kasita olonda langi ekugenderako. Kino kye kimu ne ku musono gwa ‘ppenso'.

Ssinga olonda langi ekugenderako n'osiba ppenso, ojja kulabika bulungi. Justine Nakakande owa Justine Beauty saloon e Wandegeya agamba nti omukyala asibye ppenso owa langi ate nga wansi emiguwa gye gikoma nayo waliyo langi ndala anyuma nnyo.

Okugeza, omweru bw'asiba langi ya zaabu ate enviiri gye zikoma n'ateekayo ppinki, alabika bulungi.

Agattako nti emiguwa emiwanvu ginyumira nnyo abawala naye gisinga kunyumira abo abagisibye nga bagasse langi ez'enjawulo, okugeza kiragala n'enjeru, kikuusikuusi n'enzirugavu, enzirugavu ne maluuni n'endala nga bw'oba osiimye.

Agamba nti ng'oggyeeko enviiri ezisibwa, n'abakyala abatettanira kusiba nviiri ensangi zino bateeka ttinti mu nviiri okwongera okubalabisa obulungi.

Agamba nti ono naye nga tonnamuteeka mu nviiri kirungi omanye anaagendera ku lususu lwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampard

Lampard bamufuumudde ku gw'...

Omugagga wa Chelsea, Roman Abramovich afuumudde Frank Lampard ku butendesi n’amusikiza Thomas Tuchel eyagobwa mu...

Abantu bawanyisigannyizza e...

WABADDEWO okuwanyisiganya ebigambo ebisongovu mu bifo ebimu ebirondebwamu e Kira, nga  e Kireka rehabilitation...

Ente eyuzizza omulaalo n'em...

OMULAALO abadde abadde alunda ente akiguddeko, emu bw’emutomedde n’emuyuza olubuto ebyenda ne bivaayo.

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...