TOP

Ebintu 9 by'olina okwekkaanya bw'oyambala mmini

Added 13th August 2016

JULIE Mulungi abeera Bunnamwaya. Muwala alabika bulungi era y’omu ku basinga okwaka mu kitundu gy’abeera. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA n’amubuulira ekyama kye yazuula mu mmini ezongera okumunyiriza.

JULIE Mulungi abeera Bunnamwaya. Muwala alabika bulungi era y’omu ku basinga okwaka mu kitundu gy’abeera. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA n’amubuulira ekyama kye yazuula mu mmini ezongera okumunyiriza.

OKWAMBALA n’onyuma ebiseera ebisinga tekiva ku kwambala bya bbeeyi, wabula okumanya ebyo ebikunyumira.

Nze okuva lwe nazuula nti omusono gwa mmini gunnyumira ne nsalawo okutandika okuzambala.

Mmini zinyumira abeekakasa entumbwe, era nze eyange kye nnava ngikubako ne ttattu okwongera okugirabisa obulungi.

Mmini ze nnyambala za bika bya njawulo. Waliwo ebiteeteeyi ebimpi nga byetooloovu, sso ng’oluusi nnyambala ezinkwata ku mubiri era nga nazo zinnyumira.

Okwambala mmini n’onyuma, oteekeddwa okuba nga wekkiririzaamu ate ng’ogyambadde mu langi egendera ku lususu lwo.

Ekirala, mmini enyuma nnyo ssinga ogyambalirako engatto y’akakondo akawanvu, kubanga oyongera okwawuka ku bantu abalala.

Ekirala engatto bw’eba mpanvu ekuwa entambula ekikwongera okwekkiririzaamu. Omusono guno gunyumira ku mikolo emitongole naddala ssinga obeera ogwambadde mu kasuuti. Wabula osobola n’okugwambalira mu kifo ekisanyukirwamu naddala mu budde bw’ekiro.

Omusono gwa mmini gwe gumu ku giruddewo era egitava ku mulembe. Omukyala ne bw’aba mumpi, muwanvu, mutono oba munene bw’ayambala mmini kizibu obutavaayo era abamulaba bamukooneramu nti eby’okwambala abitegeera.

Wabula wadde guli gutyo, bw’oba oli mwambazi wa mmini, waliwo by’otolina kubuusa maaso.

1 Yambalirako engatto y’akakondo akawanvu. Ekimu ku binyumira amaaso okutunuulira ge magulu amawanvu era nga ganyirira. Buli lw’oyambala engatto y’akakondo akawanvu ne bw’oba mumpi kalina engeri gye kalaga amagulu go nga mawanvu ekikwongera okunyuma. Bw’oba otya okwambala obukondo obuwanvu oba nga bukukaluubiriza okutambuza, yambala ez’ebikondo ebinene naddala ekika kya ‘wedge’.

2 Bw’oyambala mmini, tekikwetaagisa kwetonaatona nnyo. Jjukira nti ekigendererwa ky’okwambala mmini ekisinga obukulu kulaga nkula y’amagulu go amalungi. Kino kitegeeza nti bw’oba ogyambadde, ebitundu by’omubiri ebirala oteekeddwa okubibikka obulungi. Ekirala weewale okwetonaatona ennyo kuba abakulaba amaaso bajja kugaggya ku magulu bagazze ku birala, olwo ekigendererwa kife.

3 Bw’oba osazeewo kwambala mmini, oteekwa okufaayo ennyo okulabiririra amagulu go. Gasiige bulungi ebizigo ganyirire. Waliwo n’abagasiigako ‘meekaapu’ na ganyirira.

4 Oyinza okwambala mmini nga ngazi wansi n’olabika bulungi. Oluusi bw’oyambala mmini ekukutte ennyo naddala ng’oli munene eyinza okukutippa n’ekubuzaako emirembe.

5 Faayo ku buwanvu bwa mmini gy’oyambadde okukakasa nga ddala ekunyumidde. Jjukira nti ebika bya mmini eby’enjawulo binyumira ffiga ez’enjawulo. Okugeza bw’oba munene waggulu ate nga wansi oli mutono, weewale okwambala mmini ekukutte ennyo, so nga bw’oba weekakasa ffi ga yo, naddala nga wayawula bulungi, ate mmini ekukwata y’ejja okukunyumira okusinga ennene wansi.

6 Kakasa nti obugoye bw’oyambalidde munda bulabika bulungi ate nga tebuyise mu lugoye. Okugeza bw’oba oyambaliddemu ppeti kakasa nga teyiseemu.

7 Manya mmini egendera ku myaka gyo. Okugeza bw’oba mukulu kirungi oyambala langi enkwafu, ojja kulabika bulungi, ate omuwala omuto bw’oyambala langi ezaaka ojja kuvaayo bulungi.

8 Bw’oba teweekakasa bulungi magulu go, oyinza okwambaliramu sitookisi, nazo zongera okulaga nti eby’okwambala obitegeera.

9 N’ekisembayo, bw’oyambala mmini, oteekeddwa okwekkiririzaamu. Kino kitegeeza nti bw’oba ogyambadde, weewale okutambula ng’olugoye olusika lwongere okuwanvuwa.

EBIRALA EBIKUUMIRA MULUNGI KU MULEMBE: OLUSUSU:

Luno okulukuuma neesiiga ekika kimu eky’ebizigo, kuno kwe ngatta woyiro alukuuma nga lugonvu.

ENVIIRI:

Okusinga nsinga kusiba akaviiri ka ‘Brazillian’ naddala ak’amayengo. Enviiri ez’engeri eno zindabisa bulungi ate zimpa emirembe mu nkola yaazo.

ENGATTO:

Okusinga nnyambala za kakondo kuba zindabisa bulungi ate zimpa ‘hayiti’ ne kinnyamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...