TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Gaddafi: Abazungu balaze emisango 13 egimukubya

Gaddafi: Abazungu balaze emisango 13 egimukubya

Added 23rd March 2011

Ng’oggyeeko ensimbi ez’obuyambi Gaddafi z’awa amawanga gano, alina n’ekitongole kye yassaawo ekivunaanyizibwa ku kutondawo amakampuni g’ebyobusuubuzi n’okukolera bizinensi mu mawanga ga Afrika.

Ekitongole kino ekiyitibwa Libya Africa Portfolio Fund for Investment (LAP) buli mwa

Ng’oggyeeko ensimbi ez’obuyambi Gaddafi z’awa amawanga gano, alina n’ekitongole kye yassaawo ekivunaanyizibwa ku kutondawo amakampuni g’ebyobusuubuzi n’okukolera bizinensi mu mawanga ga Afrika.

Ekitongole kino ekiyitibwa Libya Africa Portfolio Fund for Investment (LAP) buli mwaka, gavumenti ya Gaddafi ekiteekamu ensimbi akawumbi ka ddoola 1 n’obukadde 500 buli mwaka; ssente zino kumpi zenkana ne bajeti ya Uganda ey’omwaka!

Gaddafi bw’avaako Uganda ejja kukosebwa nnyo!
Minisita avunaanyizibwa ku byempuliziganya, ebyekikugu ne kompyuta, Aggrey Awori yagambye nti: Bw’okuba eriiso, n’ennyindo efeesa; abantu mu Uganda tulina okulumirwa awamu ne Libya ku bigenda mu maaso kubanga ebyenfuna by’amakampuni ga Uganda agawerako birina akalandira ku Libya; n’anokolayo kkampuni y’eby’amasimu eya UTL / Mango.

Gavumenti ya Libya y’esinza emigabo mu UTL, erinamu  egiwerera ddala 69 ku 100. Mu mwaka gwa 2000, gavumenti ya Uganda yaguza LAP emigabo 18 ku 100  ate Ucom Consortium abaali basinza emigabo mu UTL nabo ne baguza ekitongole kya Libya kino emigabo 51 ku 100, okukkakkana nga Libya ewezezza emigabo 69 mu UTL.

Gavumenti ya Uganda yasigaza emigabo 31 gyokka ku 100. Ebizibu by’ensimbi ebigambibwa okubeera mu UTL okuli n’amabanja agagibanjibwa MTN ne Airtel agagambibwa okusukka mu buwumbi 10 kirowoozebwa nti birina akakwate n’olutalo oluli mu Libya.

Ekitongole kya Libya ekya LAP era kirina emigabo mu kkampuni enzimbi eya National Housing and Construction Company Ltd gye kyagula mu 2002! Kkampuni eno erina ebyobugagga ebibalirirwa mu bukadde bwa ddoola 70, buli mwaka ekola amagoba ga bukadde bwa ddoola 6.

Erina amayumba 610 e Naalya, e Bukoto 110, Ntinda 79, Lubowa ku lw’e Ntebe balinayo amayumba 33 ate e Mpummudde – Jinja balinayo amayumba 20. Kuno  kw’ossa amayumba amalala 1,300 agali e Kololo, Nakasero, Bugoloobi n’e Wandegeya.

Ebya bbanka
Gavumenti ya Libya erina emigabo 99.7 ku 100 mu Tropical Bank eyatandikibwa mu 1973 ng’eyitibwa Arab Libyan Bank ate mu 1994 n’ekyusa erinnya n’etuumwa Tropical African Bank kyokka mu 2006 n’efuulibwa Tropical Bank.

Okubalirira ebyobugagga bya bbanka za Uganda okwakolebwa mu April wa 2010 kwalaga nti bbanka eno ekwata ekifo kya 11 mu bbanka ezisinga obugagga. Ebyobugagga byayo biweza obukadde bwa ddoola 110. Emigabo emitono ennyo 0.3 ku buli 100 egisigaddewo gy’egya Gavumenti ya Uganda!

Ebyengoye
Ekitongole kino ekya LAP era kirina emigabo mu kkampuni ya TRI-Star Apparel e Bugoloobi emanyiddwa ennyo nga AGOA gye yafuna mu 2007 oluvannyuma lwa Gavumenti ya Uganda okugiteekamu obuwumbi 21 okugikulaakulanya.

House of Dawda, kkampuni ekola bisikwiti n’okukamula omubisi ogw’omu bucupa nayo eri wansi wa kitongole kya Libya ekya LAP.

Gavumenti ya Libya eguze n’okuzimba wooteeri eziwerako mu Uganda nga kati ziri wansi w’ekitongole kya LAP omuli ne Laico Windsor Lake Victoria Hotel e Ntebe gye baagula gye buvuddeko.

Amasundiro g’amafuta
Gavumenti ya Libya ng’eyita mu kkampuni yaayo ey’amafuta eya Tamoil yeeyama okuzimba payipu etambuza amafuta eyunga Kenya ne Uganda nga yaakumalawo obukadde bwa ddoola 300.

N’olwekyo tekikwewuunyisa bw’olaba nga bbeeyi y’amafuta erinnye mu Uganda, Libya ebadde etugabirira nnyo.

Kuno kw’ogatta obuyambi gavumenti ya Libya bw’ewa ekibiina ky’Obusiraamu ekya Islamic Call Society omuli n’okugaba sikaala abayizi Bannayuganda ne bagenda e Libya okusoma.

Gaddafi ayamba nnyo ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council e Kampalamukadde,  era ye yazimba n’omuzigiti gw’eggwanga ekyavaako okumubbulamu oluguudo edda olwayitibwanga Makerere Hill Road.

Obukama bwa Toro n’obukulembeze bw’ennono obulala mu Uganda nabwo bwakukaaba nga Gaddafi agenze. Gaddafi ye yazimba Olubiri lw’Omukama wa Toro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru olw’e Karuzika mu kibuga Fort Portal era kimanyiddwa nti Namasole waayo, Best Kemigisha baamukwano nnyo ne Gaddafi.

Abagagga b’omu Kampala abalina enkolagana y’ebyobusuubuzi ne gavumenti ya Libya aboolekedde okukosebwa singa olutalo mu Libya lunyinyitira kabekasinge ne Gaddafi okumaamulwako be basinga obungi.

Gavumenti ya Libya y’emu ku zissa ensimbi mu bajaasi ba Uganda ne Burundi aba AMISOM abakuuma emirembe e Somalia. Buli mujaasi asasulwa doola 1080 buli mwezi (2,538,000/- mu za Uganda). Kkampuni mmeka ezisasula ssente zino eri abakozi baazo, oba kale Gavumenti yaffe ssente zino ezisasula bakozi bameka?

Gaddafi asasula  ssente ku mbalirira y’olukiiko olugatta amawanga ga Afrika olwa AU, awaayo ebitundu 15 ku 100 ate nsi nnyingi z’asasulira okubeera mmemba mu lukiiko luno nga ne Uganda mweri!

Kati nno bw’oba olowooza nti Uganda yokka y’ekosebwa akanyoolagano akali e Libya gakulimbye. Amawanga amalala okuli Kenya, Rwanda, Burundi, Chad, Zambia, Sudan, Tanzania, Niger ne Somalia tegandyagadde Gaddafi aveeko.

Mu bukiikaddyo bwa Sudan, Libya erinayo omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa Gemtel gwe baagula mu 2009 ogukolagana ne UTL eya Uganda. Y’ensonga lwaki oli bw’aba e Juba n’akukubira omuwulira ng’ali wano e Jinja.

E Tanzania beewola ssente nnyingi ku Libya era mu 2005 Gaddafi yasonyiwa Tanzania ddoola 101,687,077 ze yali ababanja.

E Niger, Libya yassaayo amakampuni agabalirirwamu obukadde bwa ddoola 100 agabawa emirimu kubanga Niger y’emu ku mawanga agasinga obwavu mu nsi yonna. Kale Gaddafi bw’agenda nabo batya nti osanga n’amakampuni gano ganaagwa

E Chad, LAP erinayo kkampuni y’essimu eya Green Networks era bataddemu obukadde bwa ddoola 90 okutandikayo bizinensi endala nnyingi.

E Zambia ekitongole kya LAP gye buvuddeko kyaguze kkampuni y’essimu ebadde esinga amaanyi eya Zamtel ku bukadde bwa ddoola 394.

Ekiri e Libya wano kiyinza okutuukawo?
Kino ky’ekimu ku bibuuzo abantu bye beebuuza ensangi zino. Omusomi wange jjukira nti okwekalakaasa tekuli Libya yokka, kuli mu mawanga ga Buwarabu mangi okuli Libya, Tunisia, Misiri, Qatar, Bahrain, Saudi Arabia, Syria n’amalala.

Kwatandikira mu Tunisia mu December w’omwaka oguwedde, omuyizi omu bwe yeekumako omuliro n’afa nga poliisi emugaanye okutunda ennyaanya n’enva endiirwa ku mabbali g’ekkubo.

Olw’okuba abantu abatalina mirimu mu nsi zino bangi, okwekalakaasa kwasaasaana mangu. Ekibi nti ensi zino zisingamu bantu ba ggwanga limu- Bawarabu.

Mu Uganda abavubuka 80 ku buli 100 tebalina mirimu, naye okwekalakaasa nga kuno tekusobola kubaawo kubanga twawula amawanga. Omu bw’aneekalakaasa ab’eggwanga eddala tebamwegattako, kale kyangu okubaawula.

Ensonga endala nti bw’ogeraageranya Uganda ku nsi zino, abaayo balina ku ssente enkalira, kale bayinza okumala ebbanga eddene nga beekalakaasa okusinga ffe.

Ggwe bw’omala ennaku bbiri nga weekalakaasa ogenda okulaba ng’abaana bo baayuuya, ng’obivaako ng’odda ku mirimu gyo.

Ekibi nti Abazungu tebeebuuza, ate bamaze ebbanga nga balina akakuku ku Gaddafi. Baakumuwangula bamuggyeko, kabekasinge bamukwate bamuvunaane nga Saddam, naye ffe Abaddugavu batulese bubi! 

Gaddafi: Abazungu balaze emisango 13 egimukubya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev. Namwanja

▶️ Rev. Namwanja abuulirira...

Rev. Amos Namwanja abuulirira abazadde ku ngeri y'okukuza abaana aboobuvunanyizibwa.

Omuntu w'Abantu; Ssanyu akuleetedde Moses Matovu owa Afrigo.

▶️ OMUNTU W"ABANTU; Tukulee...

Moses Matovu owa Afrigo Band akubuulira ekimuwangaza n'akubiriza n'abantu okukola ennyo basobole okuva mu bwavu....

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...