TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lwaki ogula essimu y’omu ngalo ng’awaka tolina kaabuyonjo?

Lwaki ogula essimu y’omu ngalo ng’awaka tolina kaabuyonjo?

Added 16th March 2011

Kyewuunyisa nti ekintu ekyayigirizibwanga abaana mu maka okuva nga bato, kati twetaaga bagabi ba buyambi okutukubiriza okukuuma obuyonjo.

Obumu ku bubaka obuweebwa y’engeri y’okukozesaamu kaabuyonjo. Kyokka weebuuze nti abantu be bagamba okukozesa obulungi kaabuyonjo zo bazirina?

Lwaki

Kyewuunyisa nti ekintu ekyayigirizibwanga abaana mu maka okuva nga bato, kati twetaaga bagabi ba buyambi okutukubiriza okukuuma obuyonjo.

Obumu ku bubaka obuweebwa y’engeri y’okukozesaamu kaabuyonjo. Kyokka weebuuze nti abantu be bagamba okukozesa obulungi kaabuyonjo zo bazirina?

Lwaki buli nkuba lw’etonnya mu Kampala nga bwe kyabadde wiiki eno, ekibuga kicuuma nnyo? Si lwakuba bannannyini bizimbe olwo lwe bafuna akakisa okuta kazambi ne bamuyiwa mu luguudo nga tebafuddeeyo oba abantu balwala? Lwaki buli ndwadde nga kkolera lwe zituzinda zitta nnyo abantu mu Kampala n’awalala awali omugotteko?

Wadde etteeka erirung’amya okuzimba ebizimbe mu ggwanga eryayisibwa mu 2000 likirambika bulungi nti buli muntu azimba ennyumba alina okuteekako kaabuyonjo, abasinga naddala mu bibuga tebaligenderako. Ye bw’afuna w’assa akayumba ak’okusulamu, ebya kaabuyonjo tobimunyumiza!

Ekivuddemu: Kati mu maka abantu balina essimu okusinga kaabuyonjo! Mu Kampala n’ebibuga ebirala, oli bw’azimba ennyumba ku poloti ne wasigalawo akatundu, ky’asooka okulowoozaako kwe kuzimba ennyumba z’abapangisa!

Bw’aba wa nsonyi nnyo, ayinza okuzimba kaabuyonjo emu entonotono nga gy’akozesa n’abapangisa be abasoba mu 10! Kale endwadde buli kiseera zisaasaana. Wooteeri mu Kampala n’ebibuga bingi zifumbisa mazzi ga myala n’ebitaba, sso nga muno mulimu kazambi ava mu bizimbe oba asuulwamu mu buveera!

Omuwendo gwa kaabuyonjo
Ku muwendo gw’abantu  32,301,470  abali mu Uganda okusinziira ku kubala abantu okwakaggwa, abalina amasimu baagala kukununkiriza obukadde 20!

Anti aba MTN bagamba nti balinako 5,600.000; Airtel  egamba eriba obukadde nga 4; Warid beewa obukadde 6; olyoke ogatteko n’emikutu emirala nga Utl, Orange ne Smile.

Mw. John Justin Otai, omukugu mu byobulamu n’obutonde bw’ensi mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti okunoonyereza kwe bakoledde emyaka okumaaga okuva mu 2004 okutuuka omwaka oguwedde kulaga nti disitulikkti z’omu Buganda, ez’omu bugwanjuba bwa Uganda n’entonotono mu bukiikakkono amaka 70 ku buli 100 galina kaabuyonjo.

Wabula enkozesa yaazo y’ebulamu, kubanga oli aleka kaabuyonjo n’agenda yeeyamba mu nsiko oba okukozesa akaveera!

“Disitulikiti y’e Mpigi mu Buganda y’esinga okuswaza kuba twakizudde nti amaka agali wakati wa  20-39 gokka ku 100 ge galina kaabuyonjo,” Mw. Otai bw’agamba.

Disitulikiti nga Kyenjojo, Hoima, Mbale, Masindi, Apac n’entonotono ezisangibwa mu buvanjuba zo amaka agali wakati wa 40-59 ge galina kaabuyonjo. Ate mu bukiikakkono amaka  20-39 mwe muli kaabuyonjo!
Disitulikiti ezisinga okubeera obubi mu kaabuyonjo mulimu Nakapiripiriti, Moroto, Kotido, Kabong n’endala eziziriraanye, nga amaka 20 ku buli 100 gwe galimu kaabuyonjo.

Abazirina bazijjumbira?
Mw. Otai mwennyamivu nti empisa y’okukozesa kaabuyonjo n’okunaaba mu ngalo ng’ovuddeyo egenda esereba era kino ky’ekisinze okulwaza abantu.

“Abantu bagenda bajjumbira okuzimba kaabuyonjo, naye ndowooza lwakuba amateeka makakali bwe bakusanga nga togirina. Ekikwasa ennaku abantu tebamanyi kuzikozesa.

Abamu bazoonoona kungulu olwo omugaso gwazo ne gufa. Abalala  bwe bafubutuka mu kaabuyonjo bagenda bugenzi , tebanaaba mu ngalo ate batuukira ku byakulya,” Mw. Otai bw’agamba!

Okunaaba mu ngalo
Okunoonyereza Minisitule y’ebyokulamu kw’ekoze kuzudde nti abantu 21 ku buli 100 bokka be bajjumbira okunaaba mu ngalo nga bavudde emmanju!

Otai agamba nti singa balina entambula emala singa balondoola enzimba n’enkozesa ya kaabuyonjo mu ggwanga lyonna. Wabula weebuuze nti lwaki tebakozesa ba RDC abangi n’obukiiko bwa LC okulondoola kaabuyonjo?

Otai annyonnyola nti ne we bandisobodde okutuuka, ebitongole bya Gavumenti ebirala binafu okussa amateeka mu nkola.

“Okugeza, etteeka weeriri nti omuntu tayingira nnyumba nga tekuli kaabuyonjo naye mu Kampala kino tekissibwa mu nkola. Bwe kiba kiremye mu Kampala olwo ate mu byalo?,” bw’abuuza.

Mu Kampala
Mw. John Lule, atwala ebyobulamu mu Kampala agamba nti amaka mangi naddala mu ntobazzi tegalina kaabuyonjo, beeyambisa za lukale .

“Ate n’abandizikozesezza tebalina 200/- bya kusasulayo okuzikozesa buli mulundi ekivaamu kweyamba mu buveera,” bw’agamba. Kampala ayawulwamu ebitundu bibiri, ekitundu eky’entobazzi n’ekitali mu ntobazzi . Abazimbye mu ntobazzi, amaka 30 ku buli 100 ge gokka agalina kaabuyonjo.

Mu kitundu ekirala , amaka 80 ku buli 100 balina kaabuyonjo. Wabula Mw. Lule yeewuunya engeri mu kibuga ky’eggwanga gye muyinza okubaamu amaka omutali kaabuyonjo. Awa ensonga ezivaako amaka n’ebizimbe mu Kampala obutabaamu kaabuyonjo:

Ebitundu ebisinga mu Kampala ebiri mu ntobazi birina amazzi mangi, kizibu okusima kaabuyonjo!
Mu Kampala ebitundu bitono ebyatuukibwamu emidumu gya kazambi, kale kizibu abantu okuzimba kaabuyonjo ez’amazzi.

lOlw’abantu abangi mu kibuga,  alina poloti ebeera ntono, bw’omala okuzimbawo ennyumba w’onossa kaabuyonjo wakubula.

Twandibadde tukwasisa abantu amateeka babe ne kaabuyonjo naye gw’okwata bannabyabufuzi bamweyimirira.

Olw’okuba abantu abasinga bakozesa kaabuyonjo ez’olukale, kiwaliriza abazikulira okusumulula kazambi buli lwe balaba ng’enkuba etonnya kubanga ebinnya bya kazambi bijjula mangu.

KCC etegese okuzimba kaabuyonjo ez’olukale, okusomesa abantu okuzimba kaabuyonjo ezomulembe n’okukubiriza abantu okuyitanga be kikwatako nga waliwo omudumu ogwabise.

Abantu bye bagamba

Tonny Kavuma (Ssentebe wa zooni ya Kaggo mu Mbuya(1))

Ekizibu ky’obutaba na kaabuyonjo kisinga kukosa  babeera mu ntobazzi olw’omugotteko omungi. Ekisinga okuvaako abantu bano obutazimba kaabuyonjo lwa bbula ly’ettaka lye baseera ennyo.

Oli bw’aba agula agulako katono mw’azimba ennyumba ne waggwaawo. Abantu abamu bakozesa obuveera ne babukanyuga ku mayumba g’abantu era ewaffe abantu tebakyalembeka mazzi ku mayumba.

 E Mbuya waliwo ekibiina ky’obwannakyewa ekyali kyewaddeyo  okuzimbira abantu kaabuyonjo ezomulembe ku bwereere naye abasinga baagaana okuwaayo ebitundu ku poloti zaabwe!

Nsubuga Ganga ( Ssentebe wa school View zone- Kisenyi)

Ekisinga okuleeta obuzibu abantu obutabeera na kaabuyonjo  kwe kulemwa okuyimirizaawo naddala mu bifo eby’entobazzi. Abamu bazimba kaabuyonjo naye bwe zijjula bannanyini zo balemererwa okuzinuunamu ate nga tebasobola kusima ndala. Nze mu zooni yange  tulina kaabuyonjo z’olukale 18.

Ssaalongo Abdu Kasule ( Ssentebe wa Kizito- Najjanankumbi)

Mu zooni yaffe kaabuyonjo ezirimu tezimala. Tuli mu kikko, amazzi gakulukuta okuva mu Makindye South ate ng’eyo y’eri abasinza omuze  gw’okuta kazambi mu nkuba n’ajjula mu myala.

Twali tufunye omukisa ekitongole kya PAPSCA ne kituzimbira kaabuyonjo 20 ate ekitongole ekirala okuva mu Girimaani  ne kituwa kaabuyonjo 10 naye zijjula mangu olw’ettaka erikulukuta okuva mu bitundu ebirala.
   


 

 

Lwaki ogula essimu y’omu ngalo ng’awaka tolina kaabuyonjo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...