TOP

Sylvia Namutebi

Added 20th January 2011

Maama Fiina ye mukyala asoose okukulira abasawo b’ekinnansi okuva 1942 bukya kibiina kya Uganda n’Eddagala Lyayo kitandikibwawo. Yalondebwa mu kifo kino mu January wa 2006 ng’asikira  omugenzi Ssaalongo Ben Ggulu eyali ssentebe waakyo era Ssentebe wa LC III e Kapeke.

 


Maama Fi

Maama Fiina ye mukyala asoose okukulira abasawo b’ekinnansi okuva 1942 bukya kibiina kya Uganda n’Eddagala Lyayo kitandikibwawo. Yalondebwa mu kifo kino mu January wa 2006 ng’asikira  omugenzi Ssaalongo Ben Ggulu eyali ssentebe waakyo era Ssentebe wa LC III e Kapeke.

 


Maama Fiina yasooka kuwakanyizibwa  ng’abamu ku basawo bagamba nti emisambwa tegikkiriza mukazi kugikulira. Era ekibbanabaana n’okubasaddaaka bwe kyanyiinyittira abamu kino kye baasongako nti ye kanaaluzaala, emisambwa giyinza gitya okuwulira omukazi!

Wabula okuva lwe yatuuzibwa nga March 15 2006 agamba nti agasse abasawo b’ekinnansi ku gavumenti eya wakati ne Mmengo.
“Tuli abasawo emitwalo 35 abalina layisinsi mu ggwanga lyonna era ne pulezidenti Museveni atumanyi nti gyetuli,” Maama Fiina bw’agamba.
Agamba nti atumbudde embeera y’abasawo b’ekinnansi, abaali batiibwa ennyo kati babeeyuna okujjanjaba endwadde zaabwe.

“Abasawo ensangi zino bambalako bulungi, balina emirimu gye bakola omuli n’egya ofiisi, tebakyakeera kwera masabo na kulinda balwadde,” bw’agamba.
Bwe yajja mu bukulembeze, Maama Fiina yassaawo ofiisi y’abasawo b’ekinnansi ku Mengo Social Centre. Ofiisi eno mulimu kompyuta, entebe ennungi era bakuuma n’ebiwandiiko.

Agamba nti mu disitulikiti zonna, bassentebe abakulira abasawo b’ekinnansi balina ofiisi. “Nkoze okugatta poliisi ku basawo b’ekinnansi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’okulwanyisa obufere mu basawo bano.

Obufere mu basawo
Ekimu ku binyiiza Bannayuganda bwe bufere obuyitiridde nga ne mu basawo b’ekinnansi mwebuli. Abasawo b’ekinnansi abamu bagaba eddagala effu, abalala balimbalimba abalwadde ne babaggyako ssente ate abandi babukolera ku ofiisi.
Maama Fiina agamba nti kumpi buli wiiki abadde asomesa ku bufere buno ku leediyo, amawulire ne ttivvi abantu bategeere omusawo omutuufu ku mukyamu.
Agamba nti abantu abalumbiddwa amayembe abaawo okugakwata nga bwe kyali e Kulambiro mu Mawokota mu July wa 2009 gye yakola emikolo ku ntaana z’abafudde ebigambibwa nti mayembe kyokka oluvannyuma ne kizuula nti baafa walagi!
Wabula Maama Fiina afubye okukolagana ne poliisi ku basawo abasaddaaka abaana. “Abo tebaba basawo ba kinnansi kuba edda ffe mu Buganda nga tetusaddaaka bantu. Abo bakozi ba bikolobero,” bw’agamba.

E Masaka
Ekimu ku bintu Maama Fiina bye yeenyumirizaamu kwe kumalawo enkaayana wakati w’abasawo b’ekinnansi e Masaka. Okumala emyaka 15 e Masaka wabaddewo enkaayana wakati wa Kayinga ne Nakayinga nga buli agamba nti y’akulira abasawo b’ekinnansi era ng’abafere bakozesa omukisa guno okubba abantu. Wabula mu September wa 2010, Maama Fiina yalondesa obukulembeze obuggya era Ssaalongo Kamulikansaze ye ssentebe.

Ekisaddaakabaana
Maama Fiina agamba:
Abasinga balowooza nti ekissaddaakabaana kyakatandika naye ng’enze okuyingira ku bukulembeze mu 2006 nga kyatandika dda. Omwana Shamim gwe baassaddaka e Njeru mu 1999, oba Kyazike ow’e Ntinda eyabuzibwawo byaliwo sinnajja.

Bwe baasaddaaka Muguluma e Masanafu nakola nnyo ne poliisi okuzuula ekituufu ne kizuula nti musawo muzungu ,Dr Nadomi eyakozesa Mapera okutta omwana ono. Yali musawo wange ye yaloopa ku poliisi okusobola okukwata abatemu.

Katereega eyassaddaka Kasirye e Masaka yali mufere, okukkakkana buli omu n’akimanya nti  omugagga Kajjubi kkooti gwe yejjeereza yabirimu.
Ebikolobero bibaawo naye abasawo bange be basinze okuyamba poliisi. Abatta abantu abalala bava Tanzania ne bajja muno okufera abantu.

Ababbi tebazze ku mulembe gwange. Pulezidenti yassaawo Brig Elly Kayanja okukulira  Operation Wembley dda nga sinnajja, abafere abamu ne baddukira e South Afrika, abalala ne bafa. Babadde bakozesa amannya nga Dokita Nzoinzoi, Mutuulakungo, Kabwakaganda, Jjajja Kikulukuto, Mutangirankula. Wabula olw’okuba amateeka manafu bwe bakwatibwa ate poliisi ebata.


Maama Fiina agamba nti ky’asigazza okukola kati kwe kutuuka e  Gulu, Arua, Kalamoja, Nakapiripiti ne disitulikiti endala okugatta abasamize bonna .

Sylvia Namutebi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...