TOP

J.C Kiwanuka

Added 16th June 2010

Kiwanuka ye musomesa eyasooka okufuna diguli y’ebyenjigiriza mu Uganda era alina likodi y’omusomesa asinze okusomesa emyaka emingi mu ssomero erimu nga takyusiddwa n’agobererwa Fred Bamutalira eyasomesa mu St. Henry’s College Kitovu okuva mu 1965.

 

Kiwanuka asomesezza mu St. Maryâ€

Kiwanuka ye musomesa eyasooka okufuna diguli y’ebyenjigiriza mu Uganda era alina likodi y’omusomesa asinze okusomesa emyaka emingi mu ssomero erimu nga takyusiddwa n’agobererwa Fred Bamutalira eyasomesa mu St. Henry’s College Kitovu okuva mu 1965.

 

Kiwanuka asomesezza mu St. Mary’s College Kisubi okuva mu September wa 1951 okutuuka mu 2001 (gy’emyaka 50) lwe yawummula obusomesa n’adda mu maka ge e Kawuku ku luguudo lw’e Ntebe gye yafiiridde oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’atawaanyizibwa obulwadde.

Ying. Walusimbi agamba nti talyerabira lwe baawa J C Kiwanuka obwaminisita w’ebyenjigiriza ku mulembe gwa Benedicto Kiwanuka wakati wa 1960 ne 1961 kyokka nga bw’annyuka egy’obwaminisita ng’avuga mmotoka n’agenda e Kisubi n’asomesa abayizi essomo ly’okubala.

Ayogerwako ng’omusomesa eyakugiranga ennyo abayizi okukozesa obuuma obweyambisibwa mu kubala obumanyiddwa nga “Culculator”(soma kaliculeeta)  era ng’abakubiriza okukozesa obwongo balowooze mangu bakubise emiwendo bafune eky’okuddamu nga tebakozesezza kyuma oba ekitabo ky’emyeso.

Mu be yasomesa mwe muli n’omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya ne badokita abalala bangi omuli n’eyali akulira eddwaaliro ly’e Mulago Dr. Lawrence Kaggwa, bayinginiya n’abaakuguka mu masomo ga ssaayansi abalala bangi nga baayita mu St. Mary’s College Kisubi, baaloza ku magezi ga Kiwanuka.

Joseph Kitamirike akulira kkampuni ya National Housing Construction Company Ltd bwe yali atontoma ku Kiwanuka ku mukolo Kisubi kwe yajaguliza emyaka 100 mu 2006 yagamba nti “Omusajja ono (Kiwanuka) tetumuwadde kitiibwa kimala. Yeefiiriza bingi okutusomesa era singa teyali ye, osanga tetwandibadde kino kye tuli kati.”

Lwe nasisinkana Kiwanuka mu 2006 nga ng’enzeeyo okuwandiika ku byafaayo bya Kisubi mu nteekateeka z’okujaguza emyaka 100 bukya essomero litandikibwawo mu 1906, yalabika ng’amaanyi gamuwedde wabula ng’obwongo bujjukira kumpi buli kintu.

Yannyumiza ekyekango kye baafuna ky’atalyerabira ekyagwawo mu 1964 ttiimu y’essomero ey’omupiira bwe yagwa ku kabenje mu kifo kati awali Kisubi High ku mayiro 12 ku luguudo lw’e Ntebe abayizi 12 ne bafiirawo.

Yantegeeza nti kino kyaliwo oluvannyuma lwa ttiimu eyalimu John Baptist Ssemanobe ne H.E Tomusange okuwangula St. Henry’s College Kitovu ku ggoolo 1 ku 0 mu mpaka ez’akamalirizo ez’ekikopo kya Buganda Senior Cup.

Abayizi bajja bajaganya mu kkubo nga badda ku ssomero, wabula abajaasi ba Gavumenti olw’akagugulano akaaliwo wakati wa Milton Obote ne Mmengo ne balowooza nti bano baali bawagizi ba Mmengo abawakanya Obote, kwe kubatekaako agamotoka g’amagye agaabawondera era akavuyo akaaliwo ke kaavaako akabenje.

We nneewuunyiza obwongo bwa J C Kiwanuka kwe kutandika okummenyera abayizi abaafa omu ku omu  okuli; Ladislaus Kamya, Micheal Owot, Francis Bbosa, Egidio Obela, Philip Kirumira, Maurice Kitimbo, Roman Nsobya, Joseph Yawe, Vincent Oryem, Victor Kagaba, Remigius Ssemakula ne John Kayiira.

Yantegeeza nti Katikkiro wa Buganda mu kiseera ekyo eyali Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa St. Mary’s College Kisubi  y’omu ku baasimattuka akabenje ako. Nnavaawo nkakasizza nti Kiwanuka yakaddiwa mutwe naye obwongo bubadde tebukaddiwanga.

William Kituuka Kiwanuka mu katabo ke yawandiika akakwata ku byafaayo bya Kisubi ayogera ku Kiwanuka ng’omusomesa eyalina ekitone eky’enjawulo; awuliriza ensonga z’abayizi, atakalubya by’asomesa era atatera kuva mu mbeera.

Amutendereza nti we yabeerera ssentebe w’ekibiina ky’abaasomerako e Kisubi mu 1956 yakola ennyo okumatiza Gavana eyaliko mu kiseera ekyo Andrew Cohen okussaawo Haaya ku St. Mary’s Kisubi era n’etandikibwawo.
Ying. Walusimbi agamba nti J C Kiwanuka ajja kulwawo ng’ajjukirwa olw’obunyiikivu bw’abadde nabwo wamu n’okwagala okugunjula abaana b’eggwanga nga takulembezza nkola ya “Nfunira wa?”.

Obudde bwe bwonna abadde abuwaayo okusaasaanya amagezi ge yafuna era abagagabanyeko mu myaka 50 gy’amaze ng’asomesa, ababala y’akoowa.

Kiwanuka afudde abuzaayo ennaku 43 okuweza emyaka 91. Yasomera Kisubi wakati wa 1937 ne 1940 era oluvannyuma yaweebwa sikaala y’okusoma diguli mu yunivaasite y’e Nottingham mu Bungereza gye baamutikkirira diguli mu busomesa  mu 1951 ng’akuguse mu ssomo ly’okubala; n’afuuka Munnayuganda eyasooka okufuna ddiguli y’Obusomesa.

Olw’obumanyirivu bw’abadde nabwo mu byenjigiriza, abadde atuula ku bukiiko obufuzi obw’amaosomero okuli Nsambya Girls, St. Savio Kisubi, Kabojja Junior School, St. Andrew’s Kasaala, St. Henry’s Girls’ SS Buyege, Uganda Martyrs High School Lubaga n’amasomero amalala. Waakuziikibwa leero e Bukusu mu disitulikiti y’e Luweero gy’azaalwa.

J.C Kiwanuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...