Lwaki kyetaagisa okutegeeza ku nnannyini ttaka bwe mba ntunda ekibanja kyange nga ye yakinguza? (Mukasa Mawanda LC2 Mbuya)
Nnannyini ttaka y’alina okusooka okuweebwa omukisa ogweddiza ettaka lye bw’aba asobola okugula ekibanja ekyo. Kino kyakolebwa kuggyawo nkaayana wakati wa nnannyini ttaka n’owekibanja.
Kale okuva omwezi oguwedde, owekibanja k’ogeza n’otunda nga totegeezezza nnannyini ttaka oba ozzizza musango era osibwa emyaka ena oba okuwa engassi ya 1,920,000/- oba okusasula byombi ate ekibanja ne kiddira nnannyini ttaka.
Etteeka eryayisiddwa lyakukola mu disitulikiti za Uganda mmeka? (Ahmed Zzibu e Nakifuma)
Etteeka likola mu Uganda yonna lwakuba nti mu mu Buganda, Bunyolo, Tooro Ankole ne Bugisu mwe musinga abalina ebyapa by’ettaka n’ebibanja abangi.
Mu bitundu akakiiko k’ebyettaka gye kagabye ettaka nga lya nnanyini naye nga tekuli kyapa ( ettaka ly’ebika oba customery land) , bwe tunaavumbula ebyapa bwe bityo byakusazibwamu.
Okumanya etteeka lino likola wonna, buli disitulikiti erina okuba n’akakiiko k’ebyettaka.
Abantu ng’abe Kyanamukaaka mu Masaka abaagobwa ku ttaka ly’ebibira mubasalidde magezi ki era etteeka libayamba litya? (Dawudi Kikongoliro ow’e Mutungo)
 Etteeka lino terikwata ku bantu bagobwa mu bibira. Lyajja kukugira basenze abali ku ttaka eririko ebyapa. Bw’oba wasenga ku ttaka ly’ebibira, etteeka eppya teririna kye likwogerako, mulina kugendera ku mateeka agafuga ebibira bye galagira
   Â
 Gavumenti bw’eba eyagala kuyamba bantu, lwaki teteekawo abapunta abaayo abantu ne bawona bano be bagula obuguzi ne babbiramu ettaka ly’abalala?  (Robert Nnyanzi, Ssentebe wa bodaboda e Bbiina)
Gavumenti yassa obupunta mu mikono gy’obwannannyini era abapunta bonna balina okwewandiisa mu kakiiko kaabwe ku buli Disitulikiti. Omuntu yenna bw’amala okupunta ettaka, alina okwanjula by’apunse ku kitebe ky’obupunta ku Disitulikiti beekenneenye by’apunse.
 Bw’oba olina okwemulugunya kwonna ku bapunta nga ba batwaliddemu ettaka lyo, ensonga zitwale ku kitebe kya Disitulikiti bakuyambe.
Disitulikiti yo bw’eba terina kakiiko ka byattaka, osobola okugenda ku kitebe ekikulu eky’ebybupunta n’okukuba maapu ekisangibwa e Ntebe.
Singa nnannyini ttaka aba yawa jjajjange ekibanja nga tewali kiwandiiko, okugeza nga gwali mukago ate nga bonna baafa olwo nkola ntya? (Robert Ssenteza e Wakiso)
Bw’oba ng’omazeeko emyaka egiwera 40, ng’olinawo amalaalo g’abantu b’ozze oziikawo nnannyini ttaka talina kukugoba. Ate bwe kiba nti okuyingira ku kibanja waaliwo enzikiriziganya nga nnannyini ttaka awa owekibanja era tewali akugoba.
 Bwe mba ntunda ekibanja kyange obukadde 5, naye nga nnannyini ttaka ampaamu obukadde 3 ne ng’aana naye n’annemesa okukitunda, mpaaba mu kkooti oba mu minisitule y’ebyettaka? (Simon Baamundaga e Kawempe)
Mu kkooti tolina ky’okimayo yadde nga mulemaganye. Mulina kufuna mutabaganya yenna ow’obuvunaanyizibwa abatabaganye . Ensonga zonna ezikwata ku kutunda ekibanja nga nnannyini ttaka takkiriza, owekibanja ne nnannyini ttaka mulina kufuba kulaba nga muzimala mu kutegeeragana. Etteeka lino eppya lyazze kumalawo nkaayana wakati wa bombiriri.
 Ababalirizi ba Gavumenti (valuers) batuyambira wa nga tulaba ebintu by’abebibanja bigulibwa bannannyini ttaka mu ngeri ya kikumpanya? (Jimmy Tamale Makindye Barakisi zooni)
Gavumenti yassa obupunta mu mikono gy’obwannannyini era n’ababalirizi nabo bwe bali. Naye Gavumenti erina abaayo. Singa nnannyini ttaka agula owekibanja alina okuleeta omubalirizi owuwe , naawe owekibanja n’oleeta owuwo . Bonna bwebamala okubalirira ne wabaawo obutakkaanya olwo mulina okuleeta owa Gavumenti n’amaliriza .
Musaze magezi ki okubunyisa enjiri y’etteeka ly’ettaka empya mu byalo kuba abasinga tebannalitegeera?   (Nsamba Walumbe- Munnakatemba)
Tugenda kukuba ebipande ebinnyonnyola ensonga ezikwata ku by’ettaka mu nnimi 17 tuweereze ku buli ggombolola.
 Ebipapula bino binnyonnyola bulungi biki owekibanja by’alina okukola okwewala okugobwa ku ttaka era ne nnannyini ttaka by’akolera owekibanja. Ate bw’oba weemulugunya ku tteeka eppya ensonga zo zitwale ku ggombolola bakunnyonnyole. Oba kuba ku ssimu eno 0414373511 tukuyambe.
Singa emyezi 6 ginaayitawo okuva etteeka lwe lyayisibwa nga Disitulikiti terina kakiiko ka byattaka, minisita waaku-yingira mu nsonga z’okugereka busuulu okusinziira ku nkulaakulana y’ekitundu.
Nnannyini ttaka bw’aba ng’obusuulu yabugaana oba nga tafangayo kubusolooza, olwo owekibanja akola atya?(Jude Mbabaali, Lubya)
Etteeka wano likulagira muteese ne nnannyini ttaka era mukkaanye. Muyinza okuyingizaamu omutabaganya okuva ku ggombolola oba disitulikiti gwe mwesiga. Bw’aba tafangayo kusolooza busuulu, ggwe mumutwalire.
Bw’aba nga nnannyini ttaka taliiwo, oba nga yagenda bweru ate nga njagala kutunda kibanja kyange olw’ensonga ey’amangu. Olwo nkola ntya? (Jane Nakasagga, Bukoto)
Toyinza kutunda kibanja kyo nga nnannyini ttaka tategedde, kuba era alekawo omusigire. Ennaku zino oli bw’aba afuna ekyapa tumusaba akasanduuko kw’afunira amabaluwa, essimu ye ne email. Kale toyinza kwekwasa nti taliiwo. Ate bw’aba akubuze olina okumulinda okutuusa lw’alabika.
Bw’alabika tandika okusasula busuulu okuva mu kiseera ekyo w’alabikidde, ebikadde biba bifu.
Singa ogula ekibanja nga nnannyini ttaka tategedde oba oguze mpewo ate ggwe akitunze bajja kukunoonya bakusibe.
Singa nnyini ttaka ansaba Busuulu okuva lwe nasenga ku ttaka lye ne ng’aana nga njagala mmusasule kuva etteeka lwe lifulumye ekyo kiri kitya? Emmanuel Kisitu ow'e Kikuuta- Naggojje .  Â
Busuulu owekibanja gw’ateekeddwa okusasula alina kutandika kuva mu 2009 kugenda mu maaso. Etteeka eririwo lye likola. Mu 1998 baasooka kussaawo 1000/- bannannyini ttaka ne batazisiima, mu 2004 Gavumenti bwe yali erongoosa mu tteeka lya 1998 yalagira buli disitulikiti ebeere n’akakiiko k’ebyettaka akanaagereka busuulu kyokka ezisinga zibadde tezibulina. Kati ekiriwo ly’etteeka eryayisiddwa.
 Ndi ku ttaka eritaliiko nnyini lyo era nga mmazeeko emyaka 40 nga tewali alikaayanira. Kati ffe eteeka ly’ettaka litwogerako ki? Lwanyaaga e Kawolo.
Tekisoboka kuba nga e Kawolo eriyo ettaka eritaliiko nnyini lyo. Genda mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono obuuze nnannyini ttaka bamubuulire. Bajja kukuwa endagiriro ye oba akasanduuko ka bookisi kw’osobola okumuwandiikira N’e Ntebe mu bapunta ettaka nabo bayinza okukuyamba. Jjukira nti toyinza kwewozaako nti wali tomanyi nnannyini ttaka ow’okuwa busuulu kuba teri ttaka litaliiko nnyini lyo.
 Lwaki bagaana abantu okugula ettaka eririko abasenze ?   Omuntu atunda ekibanja nga tabuulidde nnyini ttaka akolebwa atya ? Mugwanya Robert e Buikwe
Teri gwe bagaana kutunda ttaka mu Uganda ne bwe kubaako abasenze oba nga tekuli.  Ggwe kasita oba n’ekyapa otunda ettaka lyo nga bw’oyagala naye oyo agula ettaka nga kuliko abasenze tajja kubagobangako. Etteeka ligamba nti nnannyini ttaka asooke awe owekibanja omukisa okwegula nga tannatunda ttaka lye. Abebibanja nabo basasula nnannyini ttaka omupya busuulu bwe baba balemeddwa okuligula.
Kati aba LC bakolagana n'abaguzi ne bazza endagaano emabega emyaka ebiri ne bw’eba nga yaakakolebwa olunaku olwo. Gavumenti eteeseteese kubakolako etya kuba mu tteeka tetubalabamu? Muddu e Buikwe
Bino tebiri mu tteeka lino. Bikwatagana ku kuwandiika byabulimba era kkooti ebikolako.
Busatifikeeti obugenda okuweebwa abebibanja bugenda kukola nga byapa bya ttaka? Vicent Kasozi ow’e Mpunga- Kasangombe mu Wakiso
Satifikeeti okugikuwa otandikira ku area land committe, kuba y’esooka okulambula ekibanja kyo ne bakuba maapu. Okwata ffoomu n’ogitwala nnannyini ttaka bw’assaako omukono nti akukkirizza okufuna ekyapa ku ttaka. Olwo n’okatwala mu kakiiko ka disitulikiti ak’ebyettaka, akalagira oweggombolola okukuwa satifikeeti. Satifikeeti eyo eraga bulazi nti ggwe nnannyini kibanja ekiri ku ttaka lya gundi era oyinza okwewolerako ensimbi.
  Â
Nnanyini ttaka anaasigaza atya obuyinza ku ttaka nga minisita awadde abebibanja busatifikeeti bw’obusenze? Nsereko Wakayima,West II zooni Nansana
Omuntu alina ekyapa ku ttaka y’aba n’obuyinza obwenkomneredde. Nnannyini kibanja aba musenze ku ttaka era aba amanyi nti waliwo nnannyini ttaka. Etteeka teriggyaawo bwannannyini, ku kibanja oba ettaka. Kye twagala abantu bagende nga beegula, ettaka eryaliko obwapa obungi lisigaleko omuntu omu nnannyini lyo.
Etteeka linakkiriza nnyini ttaka alina abasenze abawerako okwewola ensimbi mu bbanka nga tebamuwadde lukusa?
 Etteeka teryogera ku kwewola, wabula lyogera ku kugoba bantu ku ttaka. Waliwo ettaka lya famire, eryo liriko obukwakkulizo, waliwo n’amateeka amalala.
Gavumenti teewambe ettaka ly’abantu abanaalemererwa okusasula ensimbi z’eteekateeka okuwola abebibanja basobole okwegula? Robert Ssenyange, Busaabaga - Kawolo
Gavumenti teyinza kuwamba ttaka lya bantu, egezaako kuyamba bantu bafune ettaka. Ssente ezigenda okuwolwa abebibanja ziri ku kibanjampola. Ate oba Gavumenti erina ekirowoozo ky’okuyamba ku bannamwandu ne bamulekwa bafune ettaka.
Ababadde baleppuka n’emisango gy’ettaka nga n’abamu baafa nga teginnasalibwa etteeka linaabatunulamu? Kyobe Kaaso, Nsakya- NajjembeÂ
Etteeka lijja kukola ku bantu okuva mu kiseera we lyayisiddwa, terikola ku byaggwa kusalwa mu kkooti oba abaagobwa edda ku ttaka. Liva mu 2009.
Abantu b’e Mubende Pulezidenti be yakkiriza okusengulwa ekirindi bo etteeka eppya ligenda kubayamba litya ng’abasenze ababadde ku ttaka eryo okumala ebbanga? John Robert Nteza, Kasangombe
Abo beesenza mu bibira bya Gavumenti, nga baabipima dda. Gavumenti egezaako okulaba ng’ebibira ebitono by’erina ebikuuma, kale bano si basenze batuufu, beesenza ku ttaka ly’ebibira era ky’eva ebasengula.
Abantu banaakola batya okugabira abaana baabwe ebibanja kuba etteeka eppya terikkiriza muntu kukyusa bwannanyini kuva ku muntu omu okudda ku mulala okugyako ng ’omuntu amaze kufa ate nga kiri na mu kiraamo? (John Kalimiro, Wakiso)
Osobola okugabira omwana wo ekibanja. Etteeka ligamba nti oyinza okutunda, okugaba oba okusikira ettaka. Kale ekyo si kituufu nti etteeka likugaana okugabira omwana wo ekibanja. Etteeka likugaana kutunda kibanja kyo kuba awo kirina kuddira nnannyini.
Obwakabaka bwa Buganda n’eddiini ezirina abasenze ku ttaka lyazo zinaakola zitya mu tteeka lino kuba zirina obukiiko obw’enkomeredde obutuula ne busalawo ku ttaka lyazo? Ramadhan Wayaba, Nseenya
Obukiiko bw’ettaka ly’ekkanisa oba Obwakabaka bateekwa okusooka okuwandiisa abasenze baabwe bonna babamanye. Abasenze bano balina okutandika okusasula busuulu obukiiko buno bubawe lisiiti. Oli bw’aba ayagala okutunda ekibanja kye alina kutuukirira bukiiko buno, bwe bulina okulabirira ettaka eryo n’okuloopa abo ababa batasasudde busuulu, abazze okwesenza nga tebabamanyi oba abatunze ebibanja nga tebakkiriziddwa. Bano babaloopa mu kkooti.
Singa omusenze afuna obuzibu nga nnyini ttaka talina nsimbi zimugula kyokka n’afuna omuguzi omulala ate n’amugaana owekibanja akola atya mu tteeka eppya? Margaret Namagembe, Nabweru
Mufune omutabaganya.
Obukiiko bwa disitulikitu obw’ebyettaka bunaasobola butya okugereka busuulu ow’amazima ng’abantu babulumiriza okulya enguzi n’okuyambako abalala okubba ettaka? Zziwa Lwanga, Kira
Obukiiko buliwo kugereka busuulu, olwo buweereze ewa Minisita ayise ebigerekeddwa. N’olwekyo busuulu ajja kugerekebwa mu mitendera.
Etteeka linaasobola okuziba omuwaatwa abantu gwe babadde beeyambisa okubba ebyapa by’abantu ne babikyusakyusa okuva ku nnyini lyo okutuusa ku muntu owookusatu etteeka ekkadde gwe libadde terisobola kuvunaana? Ronald Nsubuga, East I zooni- Nansana
Kino tekiri mu tteeka eppya. Ekijja okukyusa ekintu kino y’enkozesa y’ettaka Gavumenti gy’egenda okuyisa (National Land Policy.)
Etteeka linaasobola okusolooza busuulu ow’amazima bannanyini ttaka ne batatunda nga bwe kibadde oluvannyuma lwa Gavumenti okulagira abebibanja okuwa busuulu owa 1,000/-? John Kalimiro, Kkona mu Wakiso
Busuulu owa 1,000/- yavaawo mu 2004, mu tteeka eppya akakiiko k’ebyettaka ke kajja okugereka busuulu mu myezi mukaaga. Bwe ginaayitawo olwo nga Minisita agereka busuulu. Naye Gavumenti tesobola kugaana nnannyini ttaka kutunda ttaka lye, wabula nnannyini ttaka omupya alina okwanjulirwa abasenze, talina kugoba bantu ku ttaka ate nabo gwe balina okusasula busuulu.
Abantu baweerezza minisita w’ebyettaka ebibuuzo ku tteeka eppya