Kabineeti ya Buganda yasalawo okutandika leediyo n’oluvannyuma olupapula lw’amawulire okuyamba okukunga Abaganda. Eno ye yali entandikwa ya CBS.
Erinnya lya leediyo eyo eryasooka okuleetebwa lyali Leediyo Buganda, kyokka Mmengo n’ewabulwa bannamateeka okwali John Katende nti baali beebuuzizza mu Gavumenti ne bazuula nga Gavumenti yali tejja kukkiriza linnya eryo. Leediyo kwe kugiyita CBS.
Obwakabaka mu kiseera kino tebwalina nsimbi ze bussa mu leediyo, kwe kusalawo Baminisita abamu n’abantu abalala, bagule emigabo nga buli gumu guli ku 1,000,000/-.
Kituufu CBS ya Buganda?
Emigabo gy’Obwakabaka gyassibwa mu kkampuni ya BICUL, kyokka nga tegisasuliddwa (enkola eno mu lulimi lw’obusuubuzi eyitibwa (Shares in allotment).
Ekyo kitegeeza nti Obwakabaka obwannannyini bwabwo mu CBS bwasigala mu kugitandika; n’okugissa mu Bulange kyokka ng’emigabo tegisasuliddwa.
Kigambibwa nti CBS bwe yatandika okukola ssente tewaaliwo bwetaavu bwa kkampuni ya BICUL kusasulira migabo gyayo kubanga CBS yatandikirawo okukola amagoba.
Ensonda zaategeezezza nti wano Gavumenti w’eva okwagala CBS eve mu Bulange kubanga mu migabo omwava ensimbi ezaakola leediyo, gyo emigabo gya Buganda tegyasasulirwa ekitegeeza nti obwannannyini buli mu bantu kinnoomu abaagula emigabo sso si mu Bwakabaka.
Kyokka omu ku balina emigabo mu CBS yategeezezza Bukedde nti bo tebanoonya ssente wabula ekibasanyusa kwe kutuukiriza omulimu ogwabaweebwa Kabaka ogw’okussaawo leediyo ya Buganda.
N’agattako nti Kabaka okubeera mu leediyo tekimwetaagisa kugula migabo mu buliwo wabula akoze bingi ebisinga ne ssente –okugeza yawaayo ekizimbe kya Bulange, CBS ekoleremu ku bwereere mu ngeri y’emu CBS egaziye lwa kuyitibwa leediyo ya Buganda oba ya Kabaka. Ekyo kyokka tewali muwendo gwa nsimbi gukyenkanankana.
OKUTANDIKA LEEDIYO KWALIMU OBUZIBU
Omu ku balina emigabo mu CBS, Muky. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo yagambye nti Gavumenti yasooka kwekengera CBS kino ne kivaako okulwawo okugikkiriza n’etesobola kuggulawo mu 1995 ng’enteekateeka bwe yali.
Okweraliikirira kwa Gavumenti ebigendererwa bya CBS kweyongera abamu ku bangu b’e Mmengo okwali Robert Ssebunnya ne Dr. Duncan Kafeero bwe baawagira ennyo Kawanga Ssemogerere mu kampeyini z’okulonda pulezidenti ezaatandika mu 1995 ate okulonda ne kubaawo mu 1996. (Kafeero y’omu ku baakola ennyo okukola CBS ng’ali n’abaali ku kkaiiko akassibwawo Katikkiro okwali Ying. H. Kibuuka, Mustafa Mutyaba, Jolly Lutaaya)
GAVUMENTI YASSAAWO AKAKIIKO
Ensonga za CBS, Gavumenti yaziteerawo akakiiko kakolagane ne Mmengo. Ab’e Mmengo baakulirwa Kaaya Kavuma ate aba Gavumenti baakulirwa Minisita w’ebyamawulire Paul Etyang.
Muky. Ssebuggwawo yagambye nti baasanga obuzibu ne batuuka n’okulaba nga Etyang eyali abalemesa, kwe kusalawo okusisinkana Pulezidenti Museveni eyabagumya nti ensonga zaabwe zigenda kukolwako n’abasindika baddeyo ewa Etyang.
Bwe baddayo ewa Etyang ate naye yabajuliza baddeyo ewa Pulezidenti kubanga ebiragiro by’afuna okuva gy’ali birala. Enteeseganya, Ssebuggwawo agamba nti zaamala ekiseera nga buli kiseera babagamba okubaako bye bannyonnyola n’okussa mu nkola nga tebannaweebwa layisinsi.
GAVUMENTI YALAGA MMENGO BY’EYAGALA
Mu nteeseganya ne Gavumenti, ab’e Mmengo baalagirwa okunnyonnyola biki bye bagenda okwogerera ku leediyo n’okunnyonnyola, pulogulaamu emu ku emu nga Gavumenti egamba nti teyagala leediyo kwesigamizibwa ku mawanga kuleeta mitawaana ng’egyali e Rwanda.
Na kati, Gavumenti egamba nti CBS evudde ku mulamwa ne yeenyigira mu kutemaatema mu bantu batting’ane nga bwe kyali e Rwanda.
Mmengo yannyonnyola mu kiseera ekyo nti leediyo bagyagala kukunga bantu okukola nga Kabaka bwe yalagira abantu bakole nnyo ng’atikkirwa e Naggalabi era bagenda kugyeyambisa okusomesa abantu ebyobuwangwa n’ennono n’okubasanyusa, gattako okuwa abantu ba Kabaka emirimu.
OMULONGOOTI GWA CBS
 Mmengo yasaba CBS essibwe ku mulongooti gw’e Kololo, kyokka ne baweebwa lukusa ku gw’e Naguru.
Muky. Ssebugwawo yagambye nti ng’oggyeeko okuba nti omulongooti gw’e Naguru gwali mumpi ku gw’e Kololo, aba CBS baabawa ekifo ekya wansi ku mulongooti ogwo, ne beesanga ng’ebyuma bye baali baguze byali tebikola nga balina okugulayo ebirala.
KYokka Etyang yannyonnyola nti okulwawo okumaliriza ebya CBS baali baagala kwewala kukola nsobi era oluvannyuma lw’enjuyi zombie okukkaanya, leediyo yatandika.
OKWEMULUGUNYA KWA GAVT.
Okuva CBS lwe yajja ku mpewo, Gavumenti ebadde yeemulugunya nti ebiweerezebwa ebimu bikontana n’ebyo ebyasinziirwako okuwa leediyo layisisnsi.
Ekyo kitegeeza nti okuggalawo CBS, tekwava ku byaliwo nga Kabaka agaaniddwa okugenda e Bugerere mu September 2009, wabula eyo yali manduso kubanga okumala ekiseera abakungu ba CBS babadde bayitibwa ne basisinkana aba Broadcasting Council nga beemulugunya ku mpeereza ya leediyo eyo.
 Akulira Broadcasting Council Ying. Mutabazi agamba Gavumenti yali teyinza kulinda kittabantu ng’ekyali e Rwanda kubanga nakyo kyatandika bwe kityo olwa leediyo okukuma omuliro ku bantu.
Mutabazi agamba nti ebibadde biweerezebwa ku CBS bye byavuddeko obwegugungo omwafiira abantu n’agattako nti CBS erudde nge yeeyambisibwa okusiga obukyayi ku bantu ab’amawanga amalala , ekintu ky’agamba nti kimenya amateeka g’ebiweerezebwa ku mpewo.
Bannannyini CBS baatudde
Ensonga zaategeezezza nti abamu ku bakulira CBS baatudde ne bateesa ku bukwakkulizo Gavumenti bwe yataddewo ne bakkaanya obutakkiriza bukwakkulizo obwo kubanga tebusoboka kussibwa mu nkola.
Baakubye tooci mu bizze bibaawo bukya leediyo eyo etandikibwa ne basalawo nti ne bwe banaakola batya tebalabawo ngeri CBS gy’ejja kuggulwawo kubanga balowooza nti Pulezidenti Museveni alabika alina ebintu bingi by’avunaana Mmengo by’ayagala bitereezebwe ng’ekya CBS kiringa kyekwaso.
Ani mutuufu ku bya leediyo ya CBS?