
Bya HERBERT MUSOKE
ENVIIRI zo zaava ku mufu ki?’ Kino ky’ekibuuzo kye baabuuzanga abakazi ku mulembe gwa Idi Amin ng’enviiri abakazi ze bagula okwambala zaakatuuka mu Uganda.
Kubanga mu kiseera ekyo olugambo lwayita mangu nti enviiri z’ekizungu ezaabanga empanvu ng’ez’omusambwa ate nga nnyirivu baazisalanga ku mirambo, ne bazissaamu eddagala okwongera ku buwanvu bwazo olwo ne bazipaakinga ne baziweereza mu Afrika abakazi ne bambala!
Si kya nkiso nti na buli kati enviiri ezimu z’otadde ku mutwe ziyinza okuba nga zaava ku mulambo, oba nga nnyini zo gy’ali e Buyindi, China oba e Bangladesh yeetuulidde.
Wabula obadde okimanyi nti ssente zonna z’omala ng’ogula ‘akaviiri’ ogula bulwadde era kwe kuyinza okuva olunaakutta?
Ye obadde okimanyi nti kati gw’oyita omulembe gw’obuviiri, buwiivu n’ebika ebirala nti n’abakazi emyaka 2000 egiyise baabumanya, era si kipya n’olwekyo tekikunobesa mu ddya?
TWAWONA KAWEKE
Abakyala bangi b’obuuza ku buviiri bwe basibye boogera ku ngeri gye bwabawonya kaweke! Nti enviiri zaabwe olw’okuba nzirugavu nnyo, nnyimpi ate zeeranze nti tezibalabisa nga Bazungu, abali ku mulembe!
“Abakyala abasinga enviiri zaabwe za kiwaani. Omwaka ssente ze tufuna kimu kyakubiri ziggweera ku nviiri,” Hajati Nuulu Luswata ow’e Bwaise bw’agamba.
Enviiri zino zisinga kuba za bika bibiri. Waliwo ezisibwa ku nviiri z’olina ku mutwe okuzirabisa ng’empanvu ate n’abambala buwiigi nga buwedde okuluka olwo yenna n’alabika bulala nnyo ku mutwe.
Ebyafaayo biraga nti enviiri ’ogula okwambala si kipya era zibaddewo kumpi emyaka 2000.
Ekitabo ekirimu buli kalonda agudde mu nsi ekya ‘Encyclopaedia Brittanica’ kiraga nti abakazi n’abasajja Abamisiri be baaleeta tekinologiya ono.
Omukazi eyabanga n’ensekere ng’asalako enviiri ze n’assaako wiigi oba enviiri z’omulala z’akwasisa ku mutwe n’amasanda. Abaavu be baayambalanga enviiri enkolerere oba ggwe gy’oyita wiigi, abagagga nga basalako enviiri z’abaavu ne bazissaamu omubisi gw’enjuki okugonda n’okuwanvuwa ennyo olwo ne bazambala.
Eyasinga okunywa mu banne akendo ye nnaabakyala Isimkheb eyaliwo mu myaka 900 nga Yesu tannazaalibwa, eyalina wiigi enzito ennyo nga kimwetaagisa abayambi okumuyambako okutambula.
Wiigi eno ekyaliyo mu tterekero ly’ebyafaayo mu kibuga Cairo.
Enviiri ze weetimbye omanyi gye ziva?