TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Tuve mu kufulumya diguli ezigenda ku nguudo tusomese bayiiya'

'Tuve mu kufulumya diguli ezigenda ku nguudo tusomese bayiiya'

Added 17th August 2013

Asomye okubajja asinga akuguse mu byafaayo by’e Bulaaya

 

 

 

 

 

Bya HENRY NSUBUGA

ABAYIZI abali mu mitwalo be batikkirwa diguli, dipulooma ne diguli eyookubiri buli mwaka okuva mu yunivasite ez’enjawulo mu Uganda.

Abakugu mu byenjigiriza bya Uganda bakirambika bulungi nti ku nnamba eyo yonna, abafuna omukisa ne bafuna emirimu batono nnyo.

Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebyawaggulu, John C. Muyingo agamba nti Uganda bwe yafuna obwetwaze mu 1962, waaliwo obwetaavu bw’abayigirize
abalina obukugu obw’enjawulo bangi abaalina okusikira ebifo ebyali bikolamu Abazungu nga Uganda tenneefuga.

N’olwekyo, abaali bakyasoma mu biseera ebyo baakubirizibwa okusoma
okufuna diguli mu masomo ag’enjawulo okusobola okutwala ebifo. Kyokka ng’emyaka bwe gizze gyekulungula, emirimu egyo gyajjula olwo abayigirize ne batuuka nga tebakyalina we bakola.

“NGA Uganda yeefuze emyaka kati egisoba mu 50, ebyenjigiriza bya Uganda birina okukyuka tuve we twalabiranga ebintu mu kusoma kw’okufuna emirimu gya ofi isi tudde mu kusoma okwokufuna obumanyirivu obw’okwetandikirawo
emirimu”, Muyingo bw’agamba.

RDC w’e Mukono, Tom Fisher Kasenge ow’ettendekero ly’abasomesa e Nkozi ne Mubende NTC agamba nti Uganda erina okukyuka mu ngeri abaana gye basoma.

“Tulina okuva ku ky’okufulumya abayivu abadda ku nguudo okunoonya
emirimu essira tulizze ku ky’okuwa abayivu baffe obukugu obw’enjawulo mu mirimu egy’omu mutwe ekijja okubasobozesa okutandikawo emirimu.

Gavumenti erina okuzuula ebitone by’abayizi bakuguke mu byo.

Endowooza y’omwana atafuna 50 okuba omusiru nkyamu kuba bano babeera ne bye basobola ebirala okukola ate ne babikola bulungi.

Eky’abaana obutalondoolwakumanyabye basobola kye kibatuusa okumaliriza siniya eyomukaaga nga tamanyi ky’ayagala kusoma.

Eky’ennaku nti abamu bawanduka mu kusoma nga tebatuuse mu yunivasite ne basigala awo ng’abataasomerako ddala kuba tebaba na kye bayinza kwekolera
okweyimirizaawo.

Meeya w’e Mukono, Johnson Muyanja Ssennyonga omusomesa omutendeke era ali mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.

“Abayizi okuva wansi basoma ebintu bingi ebitabagasa. Omuyizi okugeza mu siniya n’asoma ebyafaayo omuli entalo ezaali mu nsi z’e Bulaaya, n’asoma amasomo ga ssaayansi ag’obuwaze nga n’oluusi talina ky’ajja kukola kimwetaagisa buyingirize obwo.

Kyandibadde kirungi singa Gavumenti ekyusa mu nsomesa, tewali nsonga lwaki omwana anabeera omusawo ate asooka okusoma ebyafaayo eby’ensi z’ebweru.
Omwana n’asoma amasomo agasoba mu 40 nga yandisomye amasomo ago gokka agali mu kkowe ly’ebyo by’ayagala okukola naddala ku mutendera ogwa siniya”,Meeya Muyanja bw’agamba.

Lilian Nakaweesi, mukulembeze w’abakyala ba NRM e Mukono: Agamba nti, Gavumenti kigyetaagisa essira okulissa ku byenjigiriza by’abaana abatandika okusoma kibayambe okufuna entandibwa ennungi.

“Abaganda bakirambika bulungi nti entamu ewulira muliro gusooka. Kyetaagisa
Gavumenti okuteekawo amasomero g’abayizi aba nnasale kuba ku mulembe guno omwana bw’atasoma nnassale tasobola kubeera ku mutindo.

Gavumenti terina ssomero wadde erimu eriri ku musingi gwa nnassale nga zino bazirekedde masomero ag’obwannannyini agamu agatalina bisaanyizo.

Abasomesa abamu tebabeera na butendeke ng’oli bw’atandika essomero anoonya bayizi abaatuukako mu siniya ne balemwa ng’abawa kusomesa baana.

Abaana ne bava mu nnasale nga bikonwa”!

Ate kansala wa Mukono Munisipaali atwala akakiiko k’ebyenjigiriza, Jimmy Kalinda agamba Gavumenti yeetaaga okukola enkyukakyuka mu masomo agasinga okugeza essomo ly’ebyafaayo by’ensi z’ebweru mu siniya abaana balibaggyeko.

Amasomo ag’ebyemikono okuva ku ntandikwa gassibweko essira. Abayizi basome ebyemikono ng’okubajja, okutunga nabyo babeere ng’ababisoma basobola okubifunamu diguli olwo bamanye nti nabyo bya mugaso.

‘AMASOMO GAAKENDEEZEBWA OKUVA KU 48 OKUTUUKA KU 8’
MINISITA Muyingo annyonnyola enkyukakyuka ze bakoze mu byenjigiriza ku mitendera egy’enjawulo n’ekigendererwa eky’okutereeza omutindo gw’ebyenjigiriza.

1 Tetukyayagala bayizi bakwata bukusu bibasomesebwa. Balina kuba bayiiya era abafuluma nga balina obukugu bw’ebikolebwa eby’omu mutwe. Ebisomesebwa twagala bifuuke bya kusoma ng’olabako.

2 Yunivasite nazo zaakukyusa mu nteekateeka yaazo okusobola okutuukana n’omulembe guno.

3 Ebigobererwa mu kusoma abayizi okuva ku S.1 okutuuka ku S.4 bigenda kukyusibwa ng’amasomo agabadde 48 gaakufuuka 8 gokka omuli: Okubala, ebya ssaayansi, tekinologiya n’ebya bizinensi, kompyuta, eddiini, Olungereza, Physical Education n’ennimi.

4 Abasomesa baakuddayo okusoma bategeere bye tuluubirira mu nkola empya era nga kwakukolebwa mu mitendera.

5 Gavumenti etaddewo ebinaagobererwa mu kusomesa kwa nnassale.
6 Tukyalina obunafu bw’okulambula amasomero okulaba oba bye gakola by’ebyo ebiri mu mateeka naye byonna tugenda kubitereeza.” Minisita Muyingo bw’amaliriza.

 

‘Tuve mu kufulumya diguli ezigenda ku nguudo tusomese bayiiya’

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....